Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Ensalo ezirina ebiragiro ebikakali zaalina okutangira omusujja gw’omu biwonvu mu ŋŋamiya z’omu Bukiikakkono bwa Nigeria

Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.01.10.901470

Published onJul 16, 2023
Ensalo ezirina ebiragiro ebikakali zaalina okutangira omusujja gw’omu biwonvu mu ŋŋamiya z’omu Bukiikakkono bwa Nigeria
·

Ebiraga obulwadde bw’Omusujja gw’omu biwonvu (Rif Valley fever) wamu n’ensonga z’obulabe mu ŋŋamiya (Camelus dromedarius) mu Bukiikakkono bwa Nigeria 

Ebyafaayo

 Obulwadde bwa RVF bulabika nga bubeera mu nsolo ezimu era nga bulabiddwa nga bweyoleka ate ne bubula era ne bulabika mu bitundu by’ensi eby’enjawulo, nga bukosa ensolo n’abantu.

Eŋŋamiya ez’ebbango erimu za mugaso nnyo mu byenfuna mu Afirika mu kwetikka, mu ntambula ate era ziriibwa.

Ebyobusuubuzi by’omu kitundu ne mu nsi yonna byayongera ku bulabe bw’obulwadde, nga bubuna wangi era nga buleetera okukosa ebyenfuna okw’amaanyi mu bitundu ebikosebwa.

Wadde nga waliwo obulabe obw’engeri eyo, tewaliiwo bubaka bumala ku mbeera y’obulwadde bwa RVF mu ŋŋamiya mu Nigeria.

Okunoonyereza kuno kwakolebwa okuzuula obusaasaane bw’akawuka k’obulwadde bwa RVF mu ŋŋamiya ez’ebbango erimu mu Nigeria era n’okuzuula ensonga ez’obulabe ezeekwanya ku bulwadde obwo.

Obukodyo

 Okunoonyereza okwalimu okulondoba okwangu kwakolebwa mu Gavumenti z’ebitundu eziwera eza Jigawa ne Katsina States.

Olusaayisaayi okuva mu ŋŋamiya lwakeberebwa okulaba oba nga mulimu RVFV IgG.

Bannannyini b’eŋŋamiya baaweebwa olukalala lw’ebibuuzo okwanukula okuzuula obumanyi bwabwe, entwala ne bye bakola.

Ebyavaamu

 Okutwaliza awamu, kyazuulibwa nti ebitundu 19.9% (95% CI; 17.07-22.90) byalimu obulwadde.

Okusinziira ku kibinja ky’emyaka kimu, ewaasinga okuzuulibwa obulwadde byali ebitundu 20.9% (95% CI; 17.00-25.31) mu ŋŋamiya enkuluko (ezirina emyaka 6-10), ate ng’eŋŋamiya enduusi ze zaasinga okuzuulibwamu obulwadde n’ebitundu 20.4% (95%CI; 15.71-25.80).

Sule Tankar-kar kye kyasinga n’ebitundu 33% (95%CI; 1.31-4.72, p= 0.007) ne OR 2.47 mu kitundu ky’e Jigawa so ng’ate ekitundu ky’e Mai’adua kyalina ebitundu 24.7% (95%CI; 0.97-2.73, p=0.030) ne OR 1.62 mu kitundu ky’e Katsina mu buddiriŋŋanyi obwo.

Okusinziira ku maapu y’obulabe, ebitundu bya Gavumenti ez’ebitundu ebigabana ensalo ne Nigeria bye byali mu bulabe obusinga obungi ku bulwadde bwa RVF.

Enkuba yokka ennyingi y’etaalabibwa ng’erina akakwate n’obulwadde bwa RVF mu balunsi b’eŋŋamiya abatambulatambula (95%CI 0.93-5.20; p=0.070).


Ensalo ezirina ebiragiro ebikakali zaalina okutangira omusujja gw’omu biwonvu mu ŋŋamiya z’omu Bukiikakkono bwa Nigeria

 Omusujja gw’omu biwonvu (RVF) gusobolera ddala okuttattana ebyenfuna bya Bannayigeria abeesigame ku ŋŋamiya.

Abanoonyereza baateeka ku lutiba ensaasaana y’obulwadde buno mu kitundu, era bagamba nti okusazisa ensolo ensalo kivaamu obulabe bwamaanyi obw’okusaasaanya obulwadde obwo.

Eŋŋamiya ez’ebbango erimu kika kya nsolo ezivaamu ensimu mu Afirika era nga zikozesebwa okwetikka, entambula, ate era ziriibwa, naye era ng abwe kiri ne ku bantu, zikosebwa RVF, obulwadde obw’akawuka k’omusujja kattira.

 Ebyobusuubizi bw’ensi yonna n’eby’omu kitundu omuva okusaasaanya obulwadde obwo bivuddemu obuzibu bwa maanyi ku byobulamu bw’abantu mu ŋŋamiya mu Nigeria.

Ebyembi, okulondoola obulwadde bwa RVF mu mawanga ga Afirika agasinga obungi kutono ddala, era busobola okubalukawo ne butamanyika era bwe kityo ne butakeberwa bulungi era abakwatibwako ne batategeezebwa.

Mu mazima, Nigeria tetegeezangako nti obulwadde bw’Omusujja gw’Omu biwonvu gubaluseewo newankubadde ng’akawuka ako kakengebwa mu sampolo z’olusaayisaayi mu bika by’ensolo ez’enjawulo. Wabula, tebunnaba kukengebwa mu ŋŋamiya; awo nno okunoonyereza kuno kwagenderera okuzuula oba ng’obulwadde bwa RVF buli mu ŋŋamiya ez’ebbango erimu mu Nigeria era n’okulengera ensonga ez’obulabe ezeekwanya ku bulwadde obwo.

 Abanoonyereza baakola okunoonyereza okulondoozi mu bitundu bya gavumenti ez’ebitundu mu Jigawa ne Katsina.

Baakuŋŋaanya olusaayisaayi okuva ku ŋŋamiya era ne balukebera okulaba oba mulimu abasirikale b’omubiri abalaga nti ensolo zirimu RVF.

 Baakizuula nti abasirikale abalwanyisa obulwadde bwa RVF baali mu ŋŋamiya ebitundu 19.9% mu bitundu by’omu Nigeria eby’obukiikakkono bibiri.

Ebitundu ebyo bigabana ensalo ne Niger Republic, ate ng’eggwanga eryo lyategeeza nti obulwadde obwo bwagwa mu ggwanga eryo.

Okunoonyereza kuno kwalaga nti eŋŋamiya enkuluko, eziri wakati w’emyaka 6 okutuuka ku 10 ze zaasinga okukwatibwa, nga ebitundu 20.9% zaalina abasirikale ba RVF mu sampolo z’olusaayisaayi ezaaziggyibwako.

 Abanoonyereza baalaga nti eŋŋamiya ez’omu Sule Tankar-kar ziri mu bulabe bwa bitundu 2.47 okukwatibwa obulwadde bwa RVF era ng’ebitundu 33% byakwatibwa.

Okunoonyereza era kwalaga nti obulabe obusinga amaanyi bw’okutambuza eŋŋamiya okuva mu Nigeria okugenda mu mawanga ageetoolodde ensi eno ate era ne bazizza mu Nigeria.

Emiwendo gino mitonoko ku egyo egy’okunoonyereza okwakolebwa okusooka mu mawanga amalala, gamba nga Niger Republic (47.5%), Mauritania (45%), ne Tanzania (38.5%).

Ebyo nga biri awo, abanoonyereza bagamba nti Nigeria esaana okuteekawo ebitundu bya kalantiini ku nsalo zaayo kibe nti ensolo eziva mu mawanga ageetooloddewo zisobola okukeberwa okulaba nga zirina endwadde nga RVF.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?