Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Okusoma kw’oku mutimbagano okulongooseddwa okw’abayizi b’obusawo bw’ebisolo mu kiseera kya nawookeera wa Covid-19

Luganda translation of DOI: 10.20944/preprints202006.0130.v2

Published onOct 02, 2023
Okusoma kw’oku mutimbagano okulongooseddwa okw’abayizi b’obusawo bw’ebisolo mu kiseera kya nawookeera wa Covid-19
·

Nawookeera wa COVID-19 bye yatuusa ku Nsoma y’Abayizi b’Obusawo bw’Ebisolo

Abstract

Yunivaasite ne kkolegi nnyingi okwetooloola ensi zaayimiriza okusomesa mu bibiina olwa nawookeera w’akawuka akapya aka coronavirus ne zikyusa okudda ku nsomesa y’oku mutimbagano.

Okunoonyereza kuno okwetegereza ebikwata ku bantu kwakolebwa okwekenneenya ebyaleetebwa omuggalo gwa nawookeera w’obulwadde bwa kolona 2019 (COVID-19) ku nsoma y’abayizi b’obusawo bw’ebisolo n’abanoonyereza.

Abayizi b’obusawo bw’ebisolo n’abanoonyereza baasabibwa okwanukula ebibuuzo by’oku mutimbagano.

Abeetabi abawerera ddala 1398 baali bava mu mawanga ag’enjawulo 92 baayanukula ebibuuzo ng’ebitundu 94.52% baayanukula.

Ebyafunibwa byalaga nti omuggalo gwa nawookeera wa COVID-19 gwakosa ensoma y’abeetabi abasinga obungi (96.7%) mu ngeri ez’enjawulo.

Obubonero bw’okwekenneenya obugabanye obw’okusoma kw’oku mutimbagano okutwaliza awamu bwali 5.06 ± 2.43 so ng’ebitundu eby’okukwatirako ddala byali 3.62± 2.56.

Newankubadde okusomera ku mutimbagano kuwa omukisa gw’okwesomesa.

Okusoomoozebwa okusinga okw’okusoma kw’oku mutimbagano mu busawo bw’ebisolo kwe kusomesa amasomo g’okukwatirako ddala.

Olw’okuba ng’amasomo agasinga ga kukwatirako ddala; noolwekyo, si kyangu kugasomera ku mutimbagano.

Abayizi balowooza nti kizibu okukuguka mu busawo bw’ebisolo okuyita mu nsoma y’oku mutimbagano yokka.

Okusomera ku mutimbagano kusobola okulongoosebwa nga kwongerwamu enkolagana, okulaga emitendera gy’ekisawo mu bulamu obwa bulijjo, okuwa obubaka obutuukira ku nsonga, n’okuwa ebikozesebwa bya 3D ebigeegeenyeza ddala embeera y’obulamu obwa bulijjo.


Okusoma kw’oku mutimbagano okulongooseddwa okw’abayizi b’obusawo bw’ebisolo mu kiseera kya nawookeera wa Covid-19

Okusoma kw’oku mutimbagano mu kiseera kya nawookeera wa Covid-19 kwali kuzibu eri abayizi b’obusawo bw’ebisolo n’abanoonyereza, olw’okubanga essomo lino lya kukwatirako ddala nga lyetaaga okutendeka okw’okukwatako.

Okunoonyereza kuno kwazuula ebimu ku bisoomoozo eby’enjawulo eby’omutimbagano bye baafuna, n’ezimu ku ngeri z’okubigonjoola.

Yunivaasite zonna okwetooloola ensi zadda ku kusomeseza ku mutimbagano okwewala okusaasaana kwa Covid-19 mu kiseera kya nawookeera ono.

Abayizi bangi, naddala abo abatafuna bulungi yintaneeti, baakosebwa.

Okunoonyereza kuno kwayagala okumanya, okuyita mu bibuuzo, engeri okusomera ku mutimbagano gye kwakosaamu ensoma y’abayizi b’obubasawo bw’ebisolo okwetooloola ensi.

Abanoonyereza era baayagala okumanya ekiyinza okukolebwa okugonjoola okusoomoozebwa kuno okw’okusomera ku mutimbagano.

Baategeka ebibuuzo by’oku mutimbagano, nga bibuuza ku bikwata ku beetabi, n’ebyo okusomera ku mutimbagano bye kwatuusa ku nsoma yaabwe.

Omunoonyereza yabuuza ku byakozesebwa mu kusomesa, obudde okusoma bwe kwatuulanga buli lunaku, engeri okusomera ku mutimbagano gye kwakosaamu amasomo ag’okukwatako n’ag’okwefumiitiriza, awamu n’ebizibu ebyasangibwa mu kusomera ku mutimbagano.

Abeetabi era baateesa ebiyinza okukolebwa okugonjoola ebizibu ebyo.

Kyenkana kimu kyakubiri eky’abeetabi 1398, okuva mu mawanga ag’enjawulo 92, baalaga nti ensoma yaabwe yakosebwa nnyo nawookeera ono.

Omunoonyereza yakizuula nti waaliwo ebirungi by’okusomera ku mutimbagano eri abayizi b’obusawo bw’ebisolo, naye waliwo ebibi bingi ebyekuusa ku kufuna yintaneeti, okubeera n’ebikozesebwa mu kusomera ku mutimbagano, n’okuba nti amasomo agamu galina kuba ga kukwatako.

Okunoonyereza kuno kulaga nti abayizi beetaaga ebikozesebwa ebibayamba okwongera okukolagana, awamu n’okwongera okukolagana wakati w’abayizi n’abasomesa mu masomo ag’okukwatako.

Okunoonyereza okulala kulaga nawookeera ono gye yataataaganyaamu ebyensoma y’abayizi b’obusawo abalala, n’engeri abakola egy’obusawo bw’ebisolo bwe baakosebwamu.

Ebiyinza okukolebwa okugonjoola obuzibu ebiragiddwa wano byongereza ku kunoonyereza okwo okulala nga kuteesa engeri okusomera ku mutimbagano gye kuyinza okulongoosebwamu gye bujja, naddala mu masomo ageetaaga okukwatako mu bisaawe byonna.

Wabula omunoonyereza agamba nti okunoonyereza tekwali kugazi kimala, ekyaleetera amawanga agamu obutakiikirirwa kimala.

Omunoonyereza eyali emabega w’okunoonyereza kuno yali asinziira mu Egypt.


Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?