Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2020.08.31.275867
Luganda translation of DOI: DOI: 10.1101/2020.08.31.275867
Ng’ekinyuunyunsi ekiyitibwa plasmodium tekinnaleetera muntu kufuna musujja gwa nsiri ogutandika obutandisi, kisooka ne kisiiga akataffaali k’ekibumba era ne kivaamu ebinyuunyunsi ebirala nkumi nga kiyita mu kuyigga ebiriisa ebiri mu mubiri gw’omuntu mwe kiba.
Tulaga nti enseke z’obutaffaali zeekuŋŋaanya okwetooloola ekinyuunyunsi ekikyali ekito (LS).
Nga tukozesa olutimbe lwa CRISPR-Cas9, twazuula obususu obukuuma obutaffaali okuba nga buli mu kikula kyabwo ekisaanidde n’entambula y’ebiriisa mu butaffaali ebifuga enkula y’ekinyuunyunsi kya plasmodium.
Ebifugandwadde bino ebiggya omuli Centromere Protein J (CENPJ) byatuleetera okunoonyereza engeri ebifo enseke z’obutaffaali we zikuŋŋaanira (MTOCS) bwe zifugibwamu mu kiseera ky’obulwadde.
Okukendeera kwa puloteyini ya CENPJ kwasajjula embeera era ne kwongeza obulwadde.
Twongera nate okulaga nti akasawo k’obusuwa kakola ng’ekkuŋŋaaniro ly’obusuwa bw’obutaffaali nga kayita mu kutegeka y-tubulin wamu n’okuyambako enseke z’obutaffaali okwekubisaamu ku nkingizzi z’ekinyuunyunsi.
Okutwaliza awamu, tulaga nti ekinyuunyunsi kya plasmodium kyezza akasawo k’obusuwa ak’omuntu mwe kiri okusobola okukola omukutu gw’enseke z’obutaffaali okuwanirira omutendera ogusooka mu nkula y’ekinyuunyunsi.
Bye tuzudde biraga ebintu bingi eby’okukola ebiyinza okukugira obulwadde obuleetebwa ekinyuunyunsi kya plasmodium.
Ebinyuunyunsi bingi bikozesa ebiriisa n’obutaffaali obusangibwa mu mubiri gw’omuntu oba ensolo mwe bibeera okusobola okwezaalukanya.
Mu kunoonyereza kuno abanoonyereza baazuula endagabutonde ezaanyigira mu kulwaza obutaffaali bw’ekibumba omusujja gw’ensiri ekiyinza okuleetawo ebitundu ebipya ebitakubwako ddagala ly’omusujja gw’ensiri gye bujja.
Omusujja gw’ensiri bulwadde obusaasaanye mu bitundu ebiwera era obuyinza okuba obw’obulabe eri obulamu. Guleetebwa ekinyuunyunsi ekiyitibwa Plasmodium era nga gutambulira mu nsiri nga zirumye omuntu.
Omutendera guno ogusookerwako guba mulungi okujjanjabirako omusujja gw’ensiri kubanga mu kiseera ekyo tewabaawo bubonero bwonna era nga n’obulwadde buba tebusobola kusiigibwa.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baali baagala kuzuula ekyukakyuka ezituukawo ku ndagabutonde ne puloteyini ezibeera mu butaffaali bw’ekibumba ekirwadde eziyinza okukyusa engeri obulwadde gye bugenda nga bukula.
Nga bakozesa tekinologiya wa CRISPR-Cas9, abanoonyereza baasobola okuzikiza oba okuwandula endagabutonde ezimu okusobola okulaba ekikyuka ng’endagabutonde ezo tezikola.
Oluvannyuma baddira obutaffaali bw’ekibumba obuli mu mbeera yaabwo ey’obutonde n’obwo obuwanduddwa ne babuteekamu ebinyuunyunsi by’omusujja gw’ensiri.
In particular, they were interested in changes to the formation of microtubules (MT).
Obuntu obwo obwefaanaanyirizaamu enseke byenyigira mu bintu bingi gamba nga mu ntambula y’ebiriisa n’ebintu ebirala mu butaffaali ate era nga bitera okukola obusuwa obubugiriza enjuba y’obutaffaali.
Mu kifo ky’enseke z’obutaffaali okwetooloola enjuba zitambuze ebiriisa n’ebintu ebirala obutaffaali we buba bubyetaaga, enseke z’obutaffaali zeebungulula ekinyuunyunsi ne zikituusaako ekiriisa n’ebintu ebirala okusobola okukiyambako okuzaalukana.
Abanoonyereza baalaba nti bwe baawandula puloteyini eyitibwa CENPJ, ekinyuunyunsi kyasobola okusembeza enseke z’obutaffaali ne zikyetooloola era ebinyuunyunsi byakula ne bigejja ne bisobola n’okwekubisaamu emirundi mingi.
Bannassaayansi era baazuula endagabutonde endala ezikosa engeri obulwadde bwa plasmodium gye busajjukamu.
Abanoonyereza gye buvuddeko baalaga nti ebinyuunyunsi ebirala bisengeka nate enseke z’obutaffaali okusobola okuwugula ebiriisa ebibeera mu butaffaali ne bidda ewaabyo.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baakakasa nti ebinyuunyunsi ebiyitibwa plasmodium era bisobola okukozesa enkola eno okuwugula ebiriisa n’ebintu ebirala ne bibiyambako okukula.
Mu biseera ebijja, bannassaayansi basuubira okukozesa okutegeera kwabwe ku ngeri endagabutonde n’ebinyuunyunsi gye bikwataganamu mu butaffaali munda okusobola okuzuula enzijanjaba endala ey’omusujja gw’ensiri.
Wadde ng’abanoonyereza baazuulayo enkyukakyuka ennyuvu mu puloteyini z’obutaffaali bw’ekibumba mu kiseera ng’omusujja gwe nsiri gutandika butandisi, omulimu munene ogwetaagibwa okukolebwa okusobola okutegeerera ddala engeri ekinyuunyunsi ekiyitibwa plasmodium gye kikyusaamu enkola y’obutaffaali okusobola okulaba ng’ebitundu by’eddagala ebirala ebiruubirirwa.
Abantu bangi nnyo bakyafa buli mwaka olw’omusujja gw’ensiri, ng’omuwendo ogusinga mu bano gubeera mu Afrika.
Okusinziira ku Kitongole ky’Ensi yonna eky’Ebyobulamu, ebitundu ebisoba mu 90% eby’abantu abaalwala omusujja gw’ensiri mu nsi yonna mu mwaka gwa 2019 byali mu Afrika, ekikifuula okuba ensonga ey’omuwendo eyeetaaga enteekateeka ezikwajja okusobola okubutangira n’okubulwanyisa.
Amharic translations of DOI: 10.1101/2020.08.31.275867
Hausa translation of DOI: DOI: 10.1101/2020.08.31.275867
Northern Sotho translation of DOI: 10.1101/2020.08.31.275867
Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.08.31.275867
Zulu translation of DOI: DOI: 10.1101/2020.08.31.275867