Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Bannakenya bangi bayinza okuba nga baalina COVID-19 nga tebamanyi mu 2021

Luganda translation of DOI: 10.1101/2021.02.05.21250735

Published onAug 12, 2023
Bannakenya bangi bayinza okuba nga baalina COVID-19 nga tebamanyi mu 2021
·

Okupima amaanyi ga antibody za IgG ezirwanyisa SARS-CoV-2 mu malwaliro g’ab’embuto mu malwaliro amakulu abiri mu Kenya

Omuwendo omunene ogw’abalwadde ba SARS-CoV-2 abasigala nga tebamanyiddwa guleetawo okusoomoozebwa mu kulondoola nawookeera ono w’aba atuuse n’okussa mu nkola ebikolebwa okumulwanyisa mu Kenya.

Twapima omuwendo gwa IgG ezirwanyisa SARS-CoV-2 mu sampolo z’omusaayi oguggyibwa ku bamaama abanywa eddagala ly’embuto mu malwaliro amakulu 2 mu Kenya.

Twakozesa enkebera ya IgG eya ELISA eyakkirizibwa okukozesebwa ku puloteni ya SARS-Cov-2 ne tutuukanya ebyavaamu n’obusobozi bw’obujjanjabi n’ekyo kyennyini obujjanjabi kye bukolako.

Mu Kenyatta National Hospital, Nairobi, omuwendo gw’obuwuka mu Gwomunaana 2020 gwali ebitundu 49.9% (95% CI 42.7-58.0).

Mu Kilifi County Hospital omuwendo gw’obuwuka gweyongera okuva ku 1.3% (95% CI 0.04-4.7) mu Gwomwenda okutuuka ku 11.0% (95% CI 6.2-16.7) mu Noovemba 2020.

Wabaddewo okusiiga akawuka ka SARS-CoV-2 okutalabiddwa kwa maanyi mu bitundu by’Amagombololola g’e Nairobi ne Kilifi.


Bannakenya bangi bayinza okuba nga baalina COVID-19 nga tebamanyi mu 2021

Abanoonyereza bagamba nti mu 2021, sampolo okuva mu bakazi b’embuto bangi mu Kenya zaalaga nti zaalimu antibody z’akawuka akaleeta COVID-19.

Kino kitegeeza nti baali bafunye ku kawuka kano emabega, oba baakalina mu kiseera ekyo, naye ng’abasinga ku bano baali tebalabiddwa mu kukozesa okukebera kwa polymerase chain reaction (PCR).

Abanoonyereza bagamba nti omuwendo gw’abalwadde ba COVID-19 guyinza okuba nga gwalagibwa ng’omutono mu Kenya mu kiseera ekyo.

Okutwaliza awamu, gavumenti zeetaaga obubaka obutuufu ku bantu bameka abayinza okuba n’obulwadde okusobola okussaawo enkola z’okutangira n’okujjanjaba.

Wabula, mu Kenya, abantu bangi tebaagenda kukeberwa COVID-19.

Kino kiyinza okuba bwekityo kubanga abantu abasinga obungi bato, so nga bangi tebaafuna bubonero oba baafuna obubonero butono.

Bannassaayansi bagamba nti okupima omuwendo gwa antibody za SARS-CoV-2 y’emu ku ngeri z’okugeraageranya obulungi omuwendo gw’abantu abalwadde.

Antibody zibeera puloteni ezikolebwa mu mubiri okulwanyisa obulwadde obw’engeri emu, era bwe zibeera mu mubiri kiba kitegeeza nti omuntu yali afunye ku bulwadde obwo.

Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baapima omuwendo gwa antibody za SARS-CoV-2 mu bakyala ab’embuto mu malwaliro 2 mu Nairobi ne Kilifi, Kenya.

Baakebera antibody za SARS-CoV-2 mu sampolo z’omusaayi gw’abakazi.

Baageraageranya omuwendo gwa sampolo ezaalimu antibody ze baafuna n’omuwendo gw’abalwadde ba SARS-CoV-2 abaazuulwa nga bakozesa PCR okuva mu Minisitule y’Ebyobulamu mu bitundu byebimu.

Abanoonyereza era beekenneenya ebiwandiiko by’ekisawo ne balaba ddi sampolo lwe zaggyibwa ku bantu, awamu n’emyaka gyabwe, gye babeera, ekiseera ky’embuto zaabwe n’okulaba oba baalina obubonero bwa COVID-19 oba nedda.

Baakizuula nti kimu kyakubiri ekya sampolo mu Nairobi zaalimu antibody za SARS-CoV-2, so nga wakati w’ebitundu 1.3% ne 10% mu Kilifi bye byalimu antibody.

Abalwadde abaakakasibwa PCR baali tebawera kitundu 1% mu bitundu byombi, ekitegeeza nti omuwendo omutuufu ogw’abalwadde abaazuulibwa gwali wansi.

Era baakizuula nti abakazi ebitundu 7% bokka be baalina obubonero obwekuusa ku COVID-19, ekitegeeza nti abalwadde bangi tebaalina bubonero.

Abanoonyereza balowooza nti kiyinza okuba ekirungi okukozesa okukebera kwa antibody za SARS-CoV-2 okubala omuwendo omutuufu ogw’abantu abalwadde mu Kenya.

Wabula balabula nti baakozesa ebikwata ku balwadde abatamanyiddwa, noolwekyo tebaasobola kugeraageranya na birala okukakasa bye baazuula.

Abanoonyereza era baagamba nti tebaafuna bikwata ku kuggwaawo kwa antibody, so nga kino kikulu mu kubala omuwendo gw’abalwadde ogw’awamu.

Okunoonyereza kuno kuli wansi wa pulogulaamu ennene ey’okulondoola SARS-CoV-2 nga bakozesa zi-antibody mu Kenya, era nga kwakulemberwamu KEMRI Wellcome Trust Research programme.


Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?