Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Emmese enkolerere ziyamba bannassaayansi okutegeera obulwadde bwa E. coli mu baana abawere.

Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.06.12.148593

Published onJul 16, 2023
Emmese enkolerere ziyamba bannassaayansi okutegeera obulwadde bwa E. coli mu baana abawere.
·

Obulwadde bw’omu lubuto mu baana abato obumanyiddwa nga Enteropathogenic Escherichia coli (EPEC) buleeta ekidumusi, bwonoona ebyenda, enkyukakyuka mu nsengejja y’emmere mu mubiri n’okwongera okunafuya obusobozi bw’ebyenda okusiba ebintu mu mmese enkolerere

Obuwuka bwa Enteropathogenic E. coli (EPEC) bumanyiddwa ng’ekimu ku biviirako obulwadde bw’ekidumusi mu baana abawere okwetooloola ensi yonna.

Emmese ez’ekika kya C57BL/6 ezaagemebwa n’eddagala eritta obuwuka zaasoomoozebwa akawuka ka EPEC oba ak’ekika kya escN akakyufu (akatalina kika 3 eky’omuyungo ogutambuza ebintu mu mubiri) okusalawo okusaasaana, ebiva mu kwonooneka kw’obusuwa mu mubiri n’ebiva mu bujjanjabi mu kiseera ky’obulwadde.

Okukyankalanya obuwuka obutinniinya mu byenda nga bakozesa eddagala erigema obuwuka kwayambako mu nsaasaana y’akawuka ka EPEC akatali ka bulijjo ne kivaamu okufuna obulemu n’ekidumusi.

Okweyongera kw’obubonero obulanga obulwadde, puloteyini ezitambuza obutaffaali n’okuwa obutaffaali emirimu egy’okukola mu mubiri byazuulwa mu busuwa bw’ebyenda.

Enkyukakyuka mu butaffaali obussa emmere okusobola okufuna amaanyi nazo zaalabwa mu mmese ezaakubwa akawuka ka EPEC era ng’okufulumya asidi atambuza ebinywa mu mubiri kweyongera n’omukyuko mu mitendera egissa eddagala eritta obuwuka mu lubuto.

Mu kwongerako, ennaku 7 nga ziyiseewo oluvannyuma lw’obulwadde, wadde ng’obuzito bwali bugenda budda, emmese ezaakubwa akawuka ka EPEC zaali ziyitamu mangu ebintu mu byendaera ng’ekyenda kikendedde ku mitendera gya claudin-1.

Akawuka ka escN kaasaasaana mu mmese naye teyakyuka mu buzito oba okwongera okufuna obubonero obulanga obulwadde, ne kiraga omugaso gwa T3SS mu bulabe bw’akawuka ka EPEC mu mmese eno.

Mu kuwunzika, emmese enkolerere n’oluvannyuma n’egemebwa n’eddagala eritta obuwuka ekoleddwa okukoppa ebiva mu bujjanjabi ebyeyolekera mu baana abalina obulwadde bwa EPEC n’okwekaliriza omugaso enkalira ezimu ezirondeddwa gwe ziyinza okuba nagwo.

Ekiyiiye kino kisobola okuyamba mu kwongera okutegeera emitendera egiyitibwamu mu nkula y’obulwadde bwa EPEC n’ebiyinza okuvaamu kisobozese okuyamba mu kukulaakulanya enteekateeka ez’okwewala oba ez’okubujjanjaba.


Emmese enkolerere ziyamba bannassaayansi okutegeera obulwadde bwa E. coli mu baana abawere.

 Mu baana abawere n’abaana abato, akawuka ka Escherichia coli kaleeta obulwadde obw’amaanyi omuli ekidumusi, omusujja, okusesema, obutaba na mazzi mu mubiri wamu n’okufa.

Bannassaayansi kaakano bazudde engeri y’okuzaalukanya obubonero bw’obulwadde obulinga obwa E. coli mu mmese endwadde okusobola okwekaliriza engeri obulwadde gye bukulamu.

 Mu biseera ebiyise, bannassaayansi abanoonyereza ku E. coli bakozesezza ensolo endwadde gamba ng’embizzi n’emmese okugezaako okutegeera obulwadde buno.

Singa obubonero obulabiddwa mu bantu busobola okufunibwa bulungi mu nsolo, eno eyinza okuba emmanduso y’okukola eddagala eppya oba okuyiiya enzijanjaba empya.

Ebyembi, bannassaayansi bakisanze nga kizibu okutonda nate obubonero bwonna obw’obulwadde nga bwe bweyolekera mu bantu.

 Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baayagala okufuna obubonero bwa E. coli mu mmese obulabikira mu baana abalina obulwadde bwa Enteropathogenic Escherichia coli.

Obumu ku bubonero bwe baali baagala okulaba kye kidumusi, okukula empola, okulungula omubiri n’ebyenda okwonooneka.

Era baali baagala okugezesa engeri enkyukakyuka mu ndagabutonde y’akawuka gy’enaakosaamu obubonero emmese bwe zaafuna.

 Mu kusooka, abanoonyereza baakuba emmese eddagala erirwanyisa obuwuka okusobola okutta obumu ku buwuka bwe zaalina mu lubuto, ne kisobozesa akawuka ka E. coli okukula amangu.

Oluvannyuma emmese baazikuba akawuka ka EPEC aka bulijjo akatakyusiddwako yadde oba akawuka ka EPEC akaali kakyusiddwa mu ndagabutonde zaako okubeera nga kanafuyiziddwa mu kulwaza obutaffaali bw’ebyenda.

Baageraageranya emmese zino ku kibinja ky’emmese ennamu ezitalina kawuka.

Ng’emmese zigabanyiziddwa mu bibinja byazo, abanoonyereza baaziteekako amaaso okulaba enkula yaazo n’obubonero bw’obulwadde.

 Emmese ezaakubwa akawuka ka EPEC aka bulijjo zaakula mpola nnyo okusinga ku ezo ezitaakakuba era ezitaakalina era zaafuna ekidumusi mu ngeri y’emu ng’abaana abawere bwe bandikifunye.

Abanoonyereza era baazuula obubonero bw’obulwadde mu mmese obufaanana n’obwo obulabibwa mu baana.

Emmese ezaasiigibwa akawuka era zaalina obuvune ku byenda byazo era ne ziraga obubonero nti zaali tezisobola kukola maanyi agamala okutuukiriza ebyetaago byazo – ekintu abanoonyereza kye bakkiriza nti kimu ku biviirako okukogga ng’omuntu alina obulwadde bwa E. coli.

Mu buufu obwo, emmese ezaakubwa akawuka ka EPEC akalongooseemu zaakogga kitono, zaalina obubonero butono ku obwo obwoleka obulwadde ate era ebyenda byazo tebyayonooneka wadde nga zaali zikyalina akawuka ako.

 Mu kunoonyereza okwakolebwa mu biseera eby’emabega, bannassaayansi baalina obuzibu bw’okufuna obubonero obumu mu mmese gamba ng’ekidumusi.

Okusobola okufuna nate obubonero buno obwa EPEC mu mbeera ey’obutonde mu byenda, buwanguzi bwa maanyi obutuukiddwako.

Emmese eno enkolerere esobola okuyamba abanoonyereza okutegeera engeri entuufu obubonero gye bujjamu mu bulwadde bwa EPEC, ekiyinza okuyamba bannassaayansi okuyiiya enkola/amagezi ag’okwewala oba okujjanjaba obubonero buno.

 Ekiseera nga kiyiseewo, kino kiyinza okuyambako mu kukulaakulanya enzijanjaba esingako oba n’okufuna eddagala erisobola okutumbula embeera y’obulamu bw’abaana mu mawanga agakyakula.

Okunoonyereza kuno kwakolebwa omukago gw’banoonyereza okuva mu South Africa, Brazil, Bungereza ne Amerika.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?