Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Ensaasaana ya COVID-19 mu Afrika

Luganda translation summary of DOI: 10.1101/2020.04.21.20074435

Published onDec 29, 2022
Ensaasaana ya COVID-19 mu Afrika
1 of 2
key-enterThis Pub is a Translation of
The spatio-temporal epidemic dynamics of COVID-19 outbreak in Africa
Description

AbstractThe novel coronavirus (COVID-19) caused by severe acute respiratory syndrome coronavirus 2 (SARS-CoV-2), emerged in the city of Wuhan, China in December 2019. Although, the disease appears on the African continent late, it has spread to virtually all the countries. We provide early spatio-temporal dynamics of COVID-19 within the first 62 days of the disease’s appearance on the African continent. We used a two-parameter hurdle Poisson model to simultaneously analyze the zero counts and the frequency of occurrence. We investigate the effects of important healthcare capacities including hospital beds and number of medical doctors in the different countries. The results show that cases of the pandemic vary geographically across Africa with notable high incidence in neighboring countries particularly in West and North Africa. The burden of the disease (per 100,000) was most felt in Djibouti Tunisia, Morocco and Algeria. Temporally, during the first 4 weeks, the burden was highest in Senegal, Egypt and Mauritania, but by mid-April it shifted to Somalia, Chad, Guinea, Tanzania, Gabon, Sudan, and Zimbabwe. Currently, Namibia, Angola, South Sudan, Burundi and Uganda have the least burden. The findings could be useful in implementing epidemiological intervention and allocation of scarce resources based on heterogeneity of the disease patterns.

Ekifunze: Obulwadde bw’akawuka ka corona akapya (COVID-19), obuleetebwa akawuka ka corona ak’amaanyi akakwata omussizo (SARS-Cov-2), bwatandikira mu kibuga ky’e Wuhan, mu China mu Deesemba wa 2019. Newankubadde ng’obulwadde buno bwajja luvannyuma ku ssemazinga Afrika, busaasaanidde kyenkana amawanga gonna. Tulaga ensaasaana ya COVID-19 mu nnaku 62 ezaasooka ng’obulwadde buno bwakalabika ku ssemazinga Afrika. Tukozesa enkola ya Poisson ey’okubala emirundi ebiri okwekenneenya mu kiseera kyekimu awo awatali muntu alwadde n’omuwendo gw’abafunye obulwadde. Tunoonyereza ku bukulu bw’ebikozesebwa mu bujjanjabi omuli ebitanda by’omu malwaliro n’omuwendo gw’abasawo mu mawanga ag’enjawulo. Ebyavaamu biraga nti omuwendo gw’abalina obuwadde gukyukakyuka okwetooloola Afrika ng’omuwendo omunene gusangibwa mu mawanga agaliraanaganye naddala mu Bugwanjuba n’Obukiikakkono bwa Afrika. Omuwendo gw’abalwadde abakwatibwa omunene (ku buli bantu 100,000) gwali mu Djibouti, Tunisia, Morocco ne Algeria. Mu wiiki 4 ezaasooka, omuwendo gw’abakwatibwa gwali gusinga kuba munene mu Senegal, Egypt ne Mauritania, naye wakati w’Ogwokuna embeera eno yakyuka n’egenda mu Somalia, Chad, Guinea, Tanzania, Gabon, Sudan, ne Zimbabwe. Mu kiseera kino, Namibia, Angola, South Sudan, Burundi ne Uganda ge gasinga okuba n’abantu abatono abafuna obulwadde. Ebyavaamu bisobola okuyamba mu kukola ku bwetaavu bw’obujjanjabi n’okugabanya ebikozesebwa mu bujjanjabi eby’ebbula okusinziira ku bifo obulwadde gye businga.

Olupapula: Ensaasaana ya COVID-19 mu Afrika (https://doi.org/10.1101/2020.04.21.20074435)

Ekifunze ekigonzeddwa

Engeri COVID-19 gye yasaasaanamu mu Afrika mu bifo n’obudde obw’enjawulo

Abanoonyereza baakozesa ennyinyonnyolero ez’ebibalo okubala wa mu Afrika obulwadde bwa COVID-19 gye bwasinga okukwata abantu, n’emisinde akawuka kwe kaatambulira mu bitundu bya ssemazinga ono eby’enjawulo.

Baakizuula nti ebitundu by’Obugwanjuba n’Obukiikakkono bwa Afrika bye byasinga okukosebwa okutwaliza awamu, so ng’obulwadde buno bwasinga okwanguwa okusaasaana mu bitundu by’Obukiikakkono bwa Afrika era ne buwaguza okugenda mu masekkati n’obukiikaddyo bwa Afrika. Baakizuula nti okukugira entambula kikola kya maanyi mu kukendeeza ku kusaasaana kwa COVID-19 era n’okukozesa obulungi ebyobujjanjabi ebitono.

Obulwadde bw’akawuka ka corona akapya (COVID-19), obuleetebwa akawuka ka corona ak’amaanyi akakwata omussizo (SARS-Cov-2) bwatandikira mu kibuga ky’e Wuhan, mu China mu Deesemba wa 2019, era nga bwatuuka luvannyumako mu Afrika naye nga bwasaasaana mangu mu mawanga gonna ku ssemazinga ono.

Abanoonyereza baagenderera okufuna ekifaananyi ekituufu eky’engeri okubeerawo kw’abasawo n’ebikozesebwa ebirala mu bujjanjabi gye bisalawo ebifo n’emisinde COVID-19 gye yasaasaanirako. Ebyavaamu bisobola okuyamba zi-gavumenti okuteeka ebikozesebwa mu bujjanjabi eby’ebbula mu bifo gye bisinga okwetaagibwa.

Okutegeera engeri kino gye kyakolebwa, abanoonyereza baakozesa enkola ya Poisson ey’ebibalo okubala ddi na wa buli muntu eyakwatibwa COVID-19 gye yali mu Afrika okumala ennaku 62, okuva nga 14 Ogwokubiri 2020 okutuuka nga 15 Ogwokuna 2020. Baakozesa obubaka obw’olukale obwafulumizibwa World Health Organization, obw’amawanga 47.

Ebyavaamu byalaga nti Senegal, Egypt, ne Mauritania ze zaasooka okulumbibwa ennyo n’omuwendo gw’abantu abangi ennyo abakwatibwa mu wiiki ezo ennya. Baakizuula nti Djibouti, Tunisia, Morocco, ne Algeria, ge mawanga agaalimu abantu abangi abaakwatibwa ku buli bantu 100 000 mu nnaku 62.

Enkola z’okunoonyereza zino ez’ebibalo zaategeeza nti abanoonyereza balina okugabanya ekiseera ky’okunoonyereza mu biseera ebyenkanankana mukaaga. Okunoonyereza kwazibuwazibwa ebbula ly’obubaka mu wiiki ennya ezisooka, noolwekyo abanoonyereza baatwala wiiki ennya ezisooka nga wiiki emu, ne benkanyankanya wiiki eno ey’omwezi omulamba ne wiiki endala.

Okunoonyereza kulaga nti abatambuze abava ebweru wa ssemazinga be baasooka okuyingiza COVID-19 mu ssemazinga, naye era nti okukwata obubi ensalo n’obutakugira ntambula ku ssemazinga kyayongera okutambuza akawuka.

Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?