Description
Lay summary for the research article published under the DOI: 10.1007/978-3-030-36540-0_72
This is Luganda translation of DOI: DOI: 10.1007/978-3-030-36540-0_72
Obutamanya bikwata ku birungo n’ebyuma ebibeera mu biyinja bya manganiizi kitera okuba ekizibu mu kukola alooyi alimu manganiizi omungi.
Omulimu guno gujja kwekaliriza ebireetebwa obubonero obw’enjawulo ku kubaluka ebiyinja bwe biba nga bisoose kwokerwa mu kyokero ekyetooloovu.
Obubonero buno mulimu emisinde gy’okwetooloola, obungi bw’omuliro, ebbugumu, n’ebirungo ebirimu.
Ebiyinja by’e South Africa bisatu, okuva mu kirombe kimu, bye bijja okukozesebwa mu kunoonyereza kuno. Ekigendererwa ky’olupapula luno kwe kutegeeza ku nkulaakulanya y’enkola.
Abanoonyereza bayiiyizza okugezesa okupya okwanukula ebibuuzo ebikwata ku bukole bw’ekyobugagga kya manganiizi ekisimibwa mu South Africa.
Abanoonyereza bayiiyizza okugezesa okupya okw’okuzuula ebintu ebirina okubeera mu kyokero ebiyinza okukendeeza okumementulwa kwa manganiizi mu kukola ebyuma.
Ogumu ku mitendera emikulu mu kukola ebyuma kwe kwawula manganiizi ku kyuma ky’alimu okuyita mu kukyokya mu kyokero ky’amasannyalaze.
Ebyembi, mu kwokya kuno manganiizi atera okubaluka, oba okwamerenguka n’afuuka olufuufu, ekisobola okutabula omulimu guno oba okuleetawo okubwatuka, olw’okwekuŋŋaanya kw’omukka.
Okunoonyereza kuno kuyiiyizza enkola y’okugezesa empya okulaba ebintu ebirina okubaawo okusobola okukendeeza okubaluka kwa manganiizi.
Abanoonyereza baagala okugezesa kino nga bakozesa ekyokero eky’omudumu, nga kino kibeera kyetooloovu, okusooka okwokya ekyobugagga kino nga tekinnaba kussibwa mu kyokero ky’amasannyalaze.
Abanoonyereza bajja kukozesa ebiyinja bya manganiizi okuva mu birombe bya manganiizi eby’e Kalahari mu South Africa, bagezese engeri gye bibalukamu mu ggezeserezo nga bakozesa akookero k’omudumu akatono.
Okunoonyereza kuno kujja kupima okubaluka nga okusinziira ku misinde gy’okwetoolola, ebbugumu, emisinde gy’okubuguma, obunene bw’ebiyinja bya manganiizi, n’ebirungo ebiri mu biyinja bya manganiizi.
Abanoonyereza baamala okukola okunoonyereza okusooka okulaba oba ng’okugezesa kuno kunaavaamu ebigasa.
Baazuula ebisanyusa ebyalaga nti ebiyinja bya manganiizi eby’enjawulo bwe byokebwa, bibaluka mu ngeri ez’enjawulo okusinziira ku birungo ebibirimu.
This is Amharic translation of DOI: DOI: 10.1007/978-3-030-36540-0_72
This is Yoruba translation of DOI: DOI: 10.1007/978-3-030-36540-0_72
This is a Zulu translation of DOI: DOI: 10.1007/978-3-030-36540-0_72
This is a Northern Sotho translation of DOI: DOI: 10.1007/978-3-030-36540-0_72
This is Hausa translation of DOI: DOI: 10.1007/978-3-030-36540-0_72