Luganda translation of DOI: 10.21203/rs.2.13949/v1
Okunoonyereza kuno kwagenerera okumanya endya, okwekaliriza Embeera y’emmere eriibwa nga yeesigamiziddwa ku Obugabize bw’obuzito n’obuwanvu bw’omubiri wamu n’obukwatane wakati w’emmere eriibwa n’embeera y’ebiriisa egirimu abayizi ab’obuwala abaddiguli esooka gye balya ku Ssettendekero wa Kenyatta, Kenya.
Okunoonyereza kwakozesa enseetuka y’okunoonyereza okw’ekiseera ekimpi omwali sampolo y’abayizi ab’obuwala ku ddiguli esooka 422 era nga baalondebwa mu ngeri ya kulabiraawo ku Ssettendekero wa Kenyatta.
Emmere ey’enjawulo Esookerwako – Abakyala n’Ebibuuzo ebikwata ku Mirundi gy’okulya byakozesebwa okwekaliriza endya y’abayizi ab’obuwala.
Obuzito n’obuwanvu byapimibwa okwekaliriza Embeera y’endya y’abayizi ab’obuwala.
Ebyakuŋŋaanyizibwa byekalirizibwa ku kompyuta ne pulogulaamu ya Kompyuta ey'ebibalo ekozesebwa mu kisaawe ky'ensonga ezikwata ku bantu (Statistical Package for Social Sciences, SPSS) olufulumya 22.
Ebyavaamu byalaga nti abeetabi ebitundu 64.0% baalya ebibinja by’emmere ≥ 5 ate ebitundu 36% baali balidde ebibinja by’emmere <5 mu kiseera ekisukka ku ssaawa 24.
Bw’otunuulira Embeera y’ebiriisa, ebitundu 68.4% eby’abeetabi baalina Obugabize bw’obuzito n’obuwanvu bw’omubiri obwa bulijjo, ate ebitundu 23.9% baali basusse ku buzito bwe balina okuba nabwo, ebitundu 5.55% baali tebaweza buzito bwe balina kuba nabwo n’ebitundu 2.3% baalina omugejjo.
Emmere ey’enjawulo Esookerwako – mu Bakyala yali yeekwanya n’embeera y’ebiriisa (p=0.044).
Ebyavaamu byalaga endya etali nnungi era ng’endya eyo tetuuka ku kigero kisookerwako mu bayizi ab’obuwala abawerera ddala.
Abateeka amateeka balina okussaawo enteekateeka eziyamba okutumbula endya y’abakyala abali mu myaka egy’okuzaala, naddala abayizi ba ssettendekero.
Emmere erimu ebiriisa eri ku Ssettendekero ya Kenyatta temala bayizi ba buwala.
Abanoonyereza bagamba nti ennonda y’emmere embi n’obutaba na mmere ya njawulo kye kiviirako obulwadde n’omugejjo ogulabikira mu bayizi ab’obuwala abaddiguli esooka ku Ssettendekero ya Kenyatta mu Kenya.
Okutwaliza awamu, enkyukakyuka mu mbeera y’obulamu n’empisa z’abantu mu Kenya bireetedde omugejjo okweyongera, ate naddala mu bayizi, era ennonda y’emmere ey’enyengeri eyo eyinza okukosa obulamu bwabwe ebbanga lyonna lye banaamala ku nsi.
Okunoonyereza okwakolebwa mu bayizi abaddiguli esooka mu Nairobi kwalaga nti abayizi ebitundu 22.9% baalina obuzito obususse ku bwe balina okuba nabwo era nga balina omugejjo, ate ng’ebitundu 5.5% baali tebaweza buzito bwe balina kuba nabwo.
Okunoonyereza kuno kwekaliriza emmere n’obulamu bw’abayizi ab’obuwala ku Ssettendekero ya Kenyatta.
Abanoonyereza baayagala okumanya emmere eyinza okusinga okuleeta omugejjo n’okulwala.
Abanoonyereza baakola okunoonyereza o’w'ekiseera ekimpi ku bayizi baddiguli esooka 422 nga balondeddwa mu ngeri ya kulabiraawo okuva mu Ssettendero kya Kenyatta.
Baabuuza abayizi ku bika by’emmere mu mmere gye balya n’emirundi gye balya.
Okunoonyereza kwakizuula nti abayizi ab’obuwala ebitundu 64.0% baalya ebika by’emmere 5 ate ebitundu 36% bo nga tebaweza bika 5 mu kiseera eky’essaawa 24.
Ebika by’emmere abeetabi bye baasinga okulya mwalimu emmere ey’empeke 92%, n’enva endiirwa ebitundu 78.4%.
Ebinyeebwa n’empeke endala bye byasinga okuliibwa mu butono ku bitundu 18.4%.
Okunoonyereza kwazuula nti abeetabi ebitundu 68.4% baalina Obugabize bw’obuzito n’obuwanvu bw’omubiri obwa bulijjo ate ebitundu 23.9% baali basusse ku buzito bwe balina okuba nabwo, ebitundu 5.55% baali tebaweza buzito bwe balina kuba nabwo n’ebitundu 2.3% baalina omugejjo.
Abaanoonyereza baakirengera nti abayizi abasinga obungi (68.4%) baali balamu bulungi.
Abanoonyereza tebannyonnyola nsonga yabaleetera kutunuulira bayizi babuwala bokka.
Tebalina kintu kyonna kye boogera ku mbeera ya byanfuna oba obuzibu abakazi bwe bayinza okusanga gamba ng’okufuna ebintu ebimu oba emmere ennungi ey’ebbeeyi n’ebirala.
Abanoonyereza basemba nti abateeka amateeka balina okussaawo enteekateeka eziyamba okutumbula endya y’abakyala abali mu myaka egy’okuzaala, naddala abayizi ba ssettendekero.
Okunoonyereza kwasemba nti ebifo ebiriirwamu ku ssettendekero birina okubeeramu emmere erimu ebiriisa ey’enjawulo ate ng’eyanguyira abayizi.
Kino kyandibyambyeko abayizi obuteesigulira ku mmere etaliimu biriisa.