Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2021.02.08.21251393)
Luganda translation of DOI: 10.1101/2021.02.08.21251393
Obulondoozi bwa SARS-CoV-2 mu Uganda butuwa omukisa okunnyonnyola obulungi akawuka ako mu nsi ya Afirika Buvanjuba mu Afirika.
Wano, tulaga enneeyubula y’akawuka ka nawookeera akabuluseewo mu luse lwa A.23 nga kafuuse A.23.1 era kati kabuutikidde mu Uganda era nga kabunye mu mawanga amalala 26.
Newankubadde ng’enkyukakyuka mu A.23.1 nga bwe keefudde za njawulo ku nkyukakyuka mu njawulo za VOC, enfuukafuuka eyo eraga nti puloteyini ze zimu.
Ekika kya puloteyini ya A.23.1 kikuŋŋaanyizza enkyukakyuka ezifaanagana n’enkyukakyuka mu VIC omwo nga mwe muli n’enkyukakyuka mu position 613, enkyukakyuka mu furin cleavage site eyongezaayo basic amino acid motif n’enkyukakyuka endala nnyingi mu immunogenic N-terminal domain.
Ekirala, A.23.1 lineage ereetawo enkyukakyuka mu non-spike proteins eziragibwa VOC endala (nsp6, ORF8 and ORF9).
Ekintu A.23.1 ky’ekola tekinnaba kutegeerekeka bulungi, wabula, kikulu okugenda mu maaso n’okulondoola mu bwegendereza akawuka ako, wamu n’okukebera okw’amangu okw’ebyo ebiva mu puloteyini eyo kisobozese eddagala erigema okukola obulungi.
Mu 2021 abanoonyereza baategeeza nti ekika kya SARS-CoV-2, akawuka akaleeta Covid-19 kaabalukawo mu Uganda era ne kasaasaanira ensi 26.
Akawuka ako baakatuuma “A.23.1”, era ne bagamba nti kalina enkyukyuka eziwera ezifaanagana mu puloteyini abanoonyereza ze baali beetegerezza mu bika ebirala okwetoolola ensi mu kiseera ekyo.
Abanoonyereza balondoola engeri ebika by’akawuka ka kolona gye bikyukakyuka basobole okutegeera obulungi eddagala erigema gye likola ku bika by’obuwuka obulala.
Covid-19 asse abantu bangi mu nsi.
Mu nkola emanyiddwa nga okulondoola ebikola endagabutonde, bannassaayansi balondoola engeri endagabutonde ne puloteyini z’akawuka nga bwe bikyukyukakyuka ng’akawuka kasaasaana.
Bakozesa obubaka obwo okukola ku bulwadde era ne baluŋŋamya enkulaakulana y’eddagala erigema.
Okugeza, okutegeera enkula ya puloteyini y’akawuka, abanoonyereza basobola okukukola eddagala erigema eriruubirira puloteyini ezo okuyamba okuziyiza akawuka obutayingira mu butaffaali bwa muntu.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baatunuulira naddala engeri akawuka ka SARS-CoV-2 gye kaali kakyukakyukamu mu Uganda.
Abanooneyreza baalaba ensengeka y’akawuka mu sampolo ezirimu COVID-19 mu Uganda yonna.
Baakozesa software wa kompyuta okulondoola olunyiriri (obujjajja) bw’akawuka akapya ke baazuula mu ngeri eyo (akayitibwa A.23.1), era nga baasobola okulaba akawuka ako we keeyunga mu lunyiriri n’obujjajja bwa SARS-CoV-2.
Bye baazuula birala nti A.23.1 kaava mu kalala A.23, era nga baakakenga mu sampolo ezirimu obulwadde eziwera 90%.
Kwe kugamba, kaali kabnye mu sampolo z’omu Uganda okuva mu Gwekkumi 2020.
Era baakizuula nti ekika kya A.23.1 kaalimu enkyukakyuka nnyingi mu puloteyini (spike protein) okufaananako ng’enkyukakyuka ezaalabikira mu bika ebirala ebyogerwako.
Enkyukakyuka ezo ziraka nti zifuula ekika ekyo okuba nga zisaasaana (kasaasaana mangu), era nga kagumira eddagala erigema n’obujjanjabi obulala.
Okunoonyereza kuno kwongereza kaweefube w’okusengeka ebika bya SARS-CoV-2 mu nsi yonna.
Ebyazuulibwa byongereza ku bubaka obweyongera okufunibwa nga bulaga nti SARS-CoV-2 akyukakyuka mu bwangu nga bw’asaasaana n’okukwata abantu abawera ate n’okwewoma eddagala erigema.
Wabula, okunoonyereza okulala kwetaagisa okusobozesa okutegeera okukosebwa kwennyini n’omulimu gw’enkyukakyuka ya spike protein mu A.23.1.
Abanooneyereza basemba okulondoola okulala ku nsengeka y’ebikola endagabutonde okuyamba mu kutegeera engeri ebika by’akawuka gye bikolebwako eddagala erigeam eriri mu Uganda ne mu mawanga amalala.
Era bagamba nti okulondoola entambula y’abantu mu nsi yonna kukulu kisobozese abanoonyereza okutegeera obulungi engeri akawuka gye kasaasaanamu mu kitundu ekimu.
Zulu translation of DOI: 10.1101/2021.02.08.21251393
Northern Sotho (Sepedi) translation of DOI: 10.1101/2021.02.08.21251393
Yoruba translations of DOI: 10.1101/2021.02.08.21251393
Hausa translation of DOI: 10.1101/2021.02.08.21251393