Description
Lay summary of the research article published under the DOI: http://medrxiv.org/content/10.1101/2020.05.12.20099424v2
This is Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.05.12.20099424
Kookolo w’omumwa gwa nabaana y’endwadde namutta ekyasinze eri abakyala okwetooloola ensi yonna era nga yatta abantu abasukka mu mitwalo abiri mu etaano (250,000) mu mwaka gwa 2019.
Kumpi abantu ebitundu kyenda mu bitaano ku buli kikumi abalina kookolo w’omumwa gwa nabaana balina akawuka ka HPV ak’obulabe era nga ku bano, ebitundu nsanvu ku buli kikumi balina obuwuka obw’enjawulo mu butaffaali bwabwe.
Akawuka ka HPV kaleetawo enkyukakyuka ezibaguliza, ez’okuteebereza era ez’omugaso mu muyungo gw’obutaffaali obulumbiddwa kookolo.
Wano, twakola okwekaliriza kinnamuyungo ku nkyukakyuka z’omuyungo ne puloteyini zaazo mu kookolo w’omumwa gwa nabaana mu bantu abalina akawuka ka HPV.
Twakozesa enneekaliriza namugaso ey’oluwenda okulaga nti kookolo w’omumwa gwa nabaana alimu akawuka ka HPV abeeramu enkyukakyuka ez’enjawulo mu nkwajja z’obutaffaali, n’okusingira ddala ezo ezeekuusa ku mwetooloolo gw’obutaffaali, engabanyabibirye, puloteyini z’obutaffaali obulwanyisa endwadde n’obusobozi bw’obutaffaali okutambuza obubaka.
Nga tukozesa ebiteeberezo kinnabibalo, twalaga nti kookolo w’omumwa gwa nabaana mu bantu abalina akawuka ka HPV afugibwa puloteyini omuli, SOX2, E2F, NANOG, OCT4, ne MYC ebifuga enkwajja ez’enjawulo gamba ng’okuzza obuggya obutaffaali bwa kookolo wamu n’okuzaalukana n’okukonziba kw’obutaffaali.
Nga twekaliriza emitambuzo kinnamubiri egy’oku ntikko, twazuula emitambuzo kinnamubiri egireetebwa ekirungo ky’engabanyabibirye omuli, MAPK1, MAPK3 ne MAPK8 n’ebirala n’emitambuzo kinnamubiri egyesigama ku puloteyini ebizaalukanya obutaffaali omuli CDK1, CDK2, CDK4 n’emirala ng’emitambuzo kinnamubiri egy’enkizo egifuga enkwajja kannabulamu mu kookolo w’omumwa gwa nabaana mu bantu abalina akawuka ka HPV.
Okutwaliza awamu, tuzuula ekitundu ky’empenda ez’enkizo ne puloteyini mu kookolo w’omumwa gwa nabaana mu bantu abalina akawuka ka HPV ebisobola okusonga ku bitundu ebiyinza okujjanjabwa eri abajjanjabi b’omu biseera eby’omu maaso.
Abanoonyereza bazudde obutaffaali n’empenda ng’ebitundu ebiruubirirwa eddagala ly’okujjanjaba abakyala abalina kookolo w’omumwa gwa nabaana aleetebwa akawuka ka HPV.
Okusinziira ku bifa ku balwadde n’okuteebereza okw’ebibalo, bateesa nti puloteyini ez’enjawulo ezifuga enkola gamba ng’enkula n’enzaalukanya y’obutaffaali bisobola okutunuulirwa abasawo abajjanjaba endwadde z’obwongo.
Kumpi ebitundu kyenda ku buli kikumi (90%) eby’abantu abalina kookolo w’omumwa gwa nabaana biri mu mawanga agakuze ekitono, ekirwadde mwe kyegiriisiza ennyo.
Ye kookolo asinga okuba namutta eri abakyala, ng’atta abakyala abasukka mu 300,000 mu nsi yonna buli mwaka.
Ng’okunoonyereza kuno tekunnabaawo aba Cancer Genome Atlas Project wamu n’abalala baalambika obutaffaali ne puloteyini ezeenyigira mu kookolo w’omumwa gwa nabaana.
Ku mutendera gw’obutaffaali, baalambulula engeri omumwa gwa nabaana ogulwadde kookolo gye gwawukana ku mumwa gwa nabaana omulamu obulungi.
Okunoonyereza kuno kwagenderera kuzuulira ddala engeri enjawukana ezo gye zijjamu; mu bufunze, engeri puloteyini n’obutaffaali obwenyigira mu kookolo w’omumwa gwa nabaana gye butandikamu okukola, gye bulekera awo okukola, gye busituka oba gye bukka.
Mu kuzuula obutaffaali obw’enkizo obwenyigira mu muyungo ogufuga obutaffaali ne puloteyini zino, abanoonyereza basobola okukola eddagala eriziba empenda zaabwo.
Okusobola okuzuula obutaffaali n’empenda zino, abanoonyereza okuva e Zambia n’e South Africa baageraageranya obubaka bw’obutaffaali okuva mu balwadde ba kookolo w’omumwa gwa nabaana abaalina akawuka ka HPV, abalwadde ba kookolo abataalina kawuka ka HPV wamu n’obubaka okuva mu balwadde abatalina kookolo w’oku mumwa gwa nabaana.
Bwe baazuula enjawulo ey’amaanyi mu kibinja ky’abalwadde abaalina akawuka ka HPV, baakozesa enviisirizo ey’amaaanyi okuteebereza empenda n’obutaffaali obwenyigiramu.
Ekyazuulibwa ekikulu kyali nti akawuka ka HPV kakosa empenda ezeenyigira mu nkula n’enzaalukanya y’obutaffaali, olwo abanoonyereza ne bateesa nti kookolo w’omumwa gwa nabaana ayinza okwanukula eri eddagala eriruubirira empenda zino.
Kino kiwagira ebyazuulo by’ekisawo ebiriwo ebyoleka nti kookolo w’omumwa gwa nabaana ayanukula nnyo eri eddagala erikugira enzaalukanya y’obutaffaali.
Empenda ezeenyigira mu lwekiika n’obusobozi bw’omubiri okulwanyisa endwadde nabyo byafiibwako mu kunoonyereza kuno.
Abanoonyereza bagamba nti okunoonyereza okulala kukyetaagibwa okukolebwa okuzuula enjawulo mu mpenda z’obutaffaali ezeenyigira mu bika bya kookolo ow’enjawulo.
Engeri gye kiri nti kumpi ebitundu kyenda mu bitaano ku buli kikumi (95%) eby’abalwadde ba kookolo w’omumwa gwa nabaana balina akakwate n’akawuka ka HPV ak’obulabe, okuzuula engeri endwadde gy’ekwataganamu n’obutaffaali bw’omu mubiri kikulu nnyo mu kuzuula enzijanjaba esingako eri abakyala mu Afrika ne mu nsi yonna.
This is Amharic translation of DOI: 10.1101/2020.05.12.20099424
This is a Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.05.12.20099424
This is a Zulu translation of DOI: 10.1101/2020.05.12.20099424