Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1007/978-3-319-76222-7_5
Luganda translation of DOI: 10.1007/978-3-319-76222-7_5
Abakazi bakola omulimu gwa maanyi mu kulima n’okubeera n’emmere mu maka.
Wabula, abakazi babadde tebeenyigidde kimala mu kugezesa tekinologiya w’ebyobulimi ku nnimiro.
Mu kunoonyereza kuno, ebyetegerezebwa byakuŋŋaanyizibwa nga bakozesa ebibuuzo ebitegekeddwa obulungi ne bibuuzibwa abalimi abakazi 80 mu kugezesa okw’oku nnimiro okwa kasooli agumira ekyeya mu kitundu kya Savannah eky’Obukiikaddyo bwa Guinea mu Nigeria.
Okunoonyereza kwalaga nti abakazi abalimi bonna bafumbo, nga ebitundu 23% ku bo tebaasoma mu masomero so ng’okutwaliza awamu balina emyaka 43 egy’obukulu.
Abakazi abalimi baalaga nti ekika kya kasooli ekya DT agumira ekyeya y’asinga mu bitundu byonna.
Noolwekyo kiteesebwa nti abakazi abalimi basaanye beetabe mu kukulaakulanya n’okugezesa ebivumbulwa mu byobulimi okusobola okubeera n’emmere emala n’okutuuka ku nkulaakulana ey’olubeerera okuyita mu kwongera ku biva mu bulimi.
Abakyala abalimi mu Nigeria, abatera okulekebwa ebbali mu kusalawo ku byobulimi, baateekebwa mu kugezesa kw’oku nnimiro okumanya ebika bya Kasooli Agumira Ekyeya (DT) abasingira obulungi, nga noolwekyo y’asinga okuvaamu amagoba.
Abalimi abatonotono bafulumya ebitundu ebisoba mu 70% eby’ebirime mu Nigeria.
Abakyala abalimi, abakola kyenkana ebitundu 50% eby’ekibinja kino, tebatera kuteekebwamu ssente, era tebateekebwa mu bisalibwawo mu kukulaakulanya ebyobulimi, newankubadde nga bakola omulimu gwa maanyi okulaba nga wabaawo emmere emala mu bantu.
Abakyala abalimi basobola okwongera ku bye balima singa balima kasooli agumira ekyeya, olw’okuba nga kasooli agumira ekyeya asobola okukula mu biseera by’ekyeya oba mu mbeera enkalu ennyo.
Noolwekyo, abanoonyereza baayagala okumanya ebika bya kasooli DT agumira ekyeya abakyala abalimi bye baali basinga okwagala, nga bateekebwa mu kugezesa kw’oku nnimiro okulonda kasooli DT agumira ekyeya.
Ebibinja by’abakyala abalimi okuva mu byalo 7 mu Kitundu kya Savana eky’Obukiikaddyo bwa Guinea mu Nigeria, baaweebwa ebibanja ebitonotono okulima ebika 2 ebya kasooli DT agumira ekyeya n’ekika 1 ekya bulijjo.
Omugatte, abakyala abalimi 80 be beetabamu.
Abanoonyereza baagenda ku bibanja bino ng’ebimera bikyakula, ne baddayo nga bimulisa, basobola okwekenneenya enzisa yaabyo.
Abanoonyereza baakuŋŋaanya obubaka obukwata ku myaka, obufumbo n’okusoma kw’abalimi nga bakozesa ebibuuzo, era baatunuulira n’embalirira n’amagoba g’ennimiro.
Abakyala abalimi, nga bonna baali bafumbo era nga bali mu myaka nga 43 egy’obukulu okutwaliza awamu, baali basinga kwagala bika bya kasooli DT agumira ekyeya okusinga ku oyo owa bulijjo.
Wabula, ebika bya kasooli DT agumira ekyeya byali byagalwa mu bitundu eby’enjawulo.
Abakyala abalimi era baasanga nga kasooli DT agumira ekyeya aleeta amagoba okusinga ku mulala.
Abanoonyereza n’abalimi baali bamanyi nti kasooli DT agumira ekyeya yeetaagibwa okuyamba ku kubeera n’emmere emala, era tukimanyi nti abakazi bakola kya maanyi mu kulima ebimera n’okubeera n’emmere mu maka.
Okunoonyereza kuno kwakwanaganya ensonga zino ebbiri nga bateeka abakyala mu kugezesa kasooli DT agumira ekyeya mu kugezesa kw’oku nnimiro.
Abanoonyereza bagamba nti wasaanye okubaawo enkola ne pulogulaamu ezissibwawo okuteeka abakazi mu nkulaakulanya y’ebyobulimi n’okugezesa; wabula, kiri eri zi-gavumenti okulaba nga kino kibaawo.
Kasooli kye kirime ekisinga okulimwa era kye kirime ky’emmere ekisinga obukulu mu Afrika eya wansi w’eddungu Sahara.
Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde ekosa obungi bw’emmere, nga noolwekyo okukulaakulanya kasooli DT agumira ekyeya kikulu mu kubeera n’emmere ekola amagoba.
Abanoonyereza bonna abeetaba mu kunoonyereza kuno babeera mu Nayijeeriya, era n’abakyala abalimi abeetabamu bonna baali Banayijeeriya.
Amharic translation of DOI: 10.1007/978-3-319-76222-7_5
Hausa translation of DOI: 10.1007/978-3-319-76222-7_5
Northern Sotho translation of DOI: 10.1007/978-3-319-76222-7_5
Yoruba translation of DOI: 10.1007/978-3-319-76222-7_5
Zulu translation of DOI: 10.1007/978-3-319-76222-7_5