Description
This is a lay summary of the article published under the DOI:
Luganda translation of DOI:
Boulwadde bw’akawuka k’Ebola (EBV) kizibu kya byabulamu ekimanyiddwa mu nsi yonna ekyetaaga okukolako ng’ekizibu ekikosa ekitundu ekirina okukolebwako amangu mu Bugwanjubwa ne mu bitundu bya yikweta mu Afirika.
Okusobola okutegeera ebikwata ku bulwadde bwa EBV naddala enfaanana yaabwo, twekaliriza ebyakuŋŋaanyizibwa ebitemyako ku bulwadde bw’Ebola n’okufa mu Kongo wakati wa 2018 ne 2019, era ne twekenneenya okukosa ebikolwa eby’obukwambwe kwe bikola ku nsaasaana y’akawuka.
Twakozesa ebibalo bya Baye okwekaliriza ebibalo mu ngeri y’okulabiraawo (SPDE) ebitusobozesa okubaza ensaasaana mu kitundu.
Okuteebereza okusinziira ku bigererwako mu bwangu obutuufu (INLA).
Bye twazuula biraga obukwatane bwamaanyi wakati w’ebikolwa ebyobukambwe mu bitundu ebikosebwa wamu n’obulwadde bwa EBV n’okufa wamu n’ebibinja by’obulwadde n’okufa ate n’ebyo byombi bisaasaanira mu bitundu ebiriraanyeewo mu ngeri y’emu ddala.
Kale nno ebyazuulibwa mu kunooneyereza kuno byamugaso mu kukenga ebifo ebigenda okubalukamu obulwadde, obulwadde obwekwanya ku kitundu ekirondoddwa wamu n’ebikoleddwa okubuziyiza.
Okukosebwa mu 2018, Kongo (DRC) yakakasa obulwadde obusaasaana amangu mu ggwanga lino omulundi ogwekkumi mu myaka 40.
Okubalukawo kuno kwe kukyasinze obunene mu bulwadde bw’Ebola obwali bubaluseewo mu Bugwanjuba bwa Afirika mu 2014-2016.
Kyategeezebwa nti okubalukawo kw’obulwadde buno kwagwawo mu kitundu ekirudde nga kirimu okulwanagana, okunoonyereza kuno kwemaliza ku kunoonyereza ku busaasaane bw’Ebola mu Kongo wamu n’ebyo ebiva mu bikolwa eby’obukambwe.
Ebikolwa eby’obukambwe mu bitundu ebikoseddwa byazuulibwa okubeera nga birina akakwate n’obulwadde bw’Ebola ate kino kyamugaso nnyo mu kukenga ebitundu ebigenda okugwamu obulwadde n’ebyinza okukolebwa okubuziyiza. Mu ngeri y’emu era tebaasobola kufuna bubaka ku bikolwa eby’obukambwe mu ngeri esobola okuteebereka nga balaga ekiseera Ebola w’asobolera okubalukirawo.
Obukambwe bulaga okubalukawo kw’Ebola mu Kongo.
Akawuka k’obulwadde bw’Ebola (EBV) kasiigibwa nnyo, katta nnyo era keeyongera okusaasaana olw’obukambwe obuli mu Kongo (DRC).
Mu kiseera kino, abanoonyereza basobola okuteebereza obulwadde bwa EBV we busobola okubalukawo nga bakozesa ebyakuŋŋaanyizibwa mu biseera eby’obukambwe.
Ebola amanyiddwa ng’ekizibu ekikosa ekitundu ekyetaaga okukolebwako amangu mu Bugwanjubwa ne mu bitundu bya yikweta mu Afirika.
Okubalukawo kw’ekirwadde kino mu DRC kwe kwokubiri mu bunene bw’obulwadde obwali bubaluseewo mu Bugwanjuba bwa Afirika.
Mu ggwanga lino, okulwanagana kubandusa okusaasaana kw’obulwadde buno kubanga ebikozesebwa n’amalwaliro byonoonebwa, ate n’abantu abawerako ne bava mu bituntu mwe babeera.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baawenja obukwatane wakati w’obulwade bw’Ebola n’ebitundu ebikolwa eby’obukambwe we biri mu DRC mu 2018 ne 2019.
Baakozesa obukodyo bw’ebibalo obwesigamiziddwa ku nnyinyonnyolero ya Baye, ennyinyonnyolero eno ekozesa ebimu ku bikuŋŋaanyizibwa okuteebereza ekiseera n’ekifo ekizibu ekirala we kinaagwa.
Baasinga kukozesa ebyakuŋŋaanyizibwa ku kubalukawo kw’obukambwe mu bitundu ebimu ne bateebereza ekifo Ebola w’anaddako okugwa.
Okunoonyereza kuno kwazuula nti ebitundu ebibeeramu ebikolwa eby’obukambwe byali byekwanya nnyo n’ebyo ebyategeezebwanga nti bibaluseemu obulwadde bw’Ebola n’okufa, ate ne busaasaanira mu bitundu ebiriraanyeewo.
Abanoonyereza era bannyonnyola obulwadde bw’Ebola n’okufa mu bitundu ebyali tebinnafunikamu bubaka olw’ebikolwa ebyobukambwe ebyalimu.
Nga omulundi ogusookedde ddala mu DRC, okunoonyereza kuno kulaze nti ennamba bitundu ya Baye esobola okukozesebwa okukenga ebitundu ebirimu obulwadde bw’Ebola ne bwe kiba nti obubaka obukwata ku bulwadde obwo tebunnafunika.
Wabula, abanoonyereza baali tebasobola kwawula bika bya bikolwa eby’obukambwe n’engeri gye bikosa obutereevu enteekateeka y’obujjanjabi mu kitundu ekiba kikoseddwa.
Mu ngeri y’emu era tebaasobola kufuna bubaka ku bikolwa eby’obukambwe mu ngeri esobola okuteebereka nga balaga ekiseera Ebola w’asobolera okubalukirawo.
Abanoonyereza basemba nti aboobuyinza mu DRC bafube okwongera okulondoola n’okwanukula mu bitundu ebikoseddwa, ate era ne mu bitundu ebirala byonna eby’eggwanga kisobozese okukenga amangu ate era n’okuziyiza ensaasaana y’Ebola.
Amharic translation of DOI:
Hausa translation of DOI: