Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Abavubuka b’e South Afirika abalina HIV ne CD4 entono bali mu bulabe obw’amaanyi obw’okufuna kookolo

Luganda translation of DOI: 10.31730/osf.io/xq6jh

Published onOct 02, 2023
Abavubuka b’e South Afirika abalina HIV ne CD4 entono bali mu bulabe obw’amaanyi obw’okufuna kookolo
·

Obulabe bw’okufuna kookolo mu bavubuka abalina HIV mu South Afirika: okunoonyereza ku kibinja ky’abantu mu ggwanga 

Ebyafaayo

Twanoonyereza ku bika bya kookolo eby’enjawulo n’ebimuleeta mu bavubuka abalina HIV mu South Afirika wakati wa 2004 ne 2014.

Obukodyo

Twateekamu abantu ab’emyaka 15 ku 24 okuva mu South African HIV Cancer Match study, nga kino kibinja ekinene ekyava mu nkolagana wakati w’ebipimo by’amagezeserezo agakwata ku HIVokuva mu National Health Laboratory Services n’ebiwandiiko okuva mu National Cancer Registry.

Twabala emiwendo gy’abafuna ebika bya kookolo ebisinga okulabika.

Twekenneenya obukwatane wakati wa kookolo ono n’ekikula, emyaka, omwaka, n’omuwendo gw’obutaffaali bwa CD4 nga tukozesa enkola za Cox n’omuwendo gw’obulabe (aHR).

Ebyazuulwa

Twateekamu abavubuka 782,454 AYALWH (89% bakazi).

Ku bano, 867 baafuna kookolo mu kiseera ekyo omuli 429 abaafuna Kaposi sarcoma, 107 abaafuna non-Hodgkin lymphoma, 48 Hodgkin lymphoma, 45 kookolo w’omumwa gwa nabaana, ne 32 kookolo w’omusaayi.

Kaposi sarcoma ye yasinga okulabika mu kibinja eky’emyaka 20-24 okusinga ku kibinja eky’emyaka 15-19 (aHR 1.39, 95% CI 1.03-1.86).

Ekikula ekisajja kyakwanyizibwa n’emiwendo egya waggulu egya Kaposi sarcoma (aHR 2.06, 95% CI 1.61-2.63), non-Hodgkin lymphoma (aHR 3.17, 95% CI 2.06-4.89), Hodgkin lymphoma (aHR 4.83, 95% 2.61-8.93), ne kookolo w’omusaayi (aHR 5.90, 95% CI 2.87-12.1).

Omuwendo gw’obutaffaali bwa CD4 omutono ku ntandikwa gwakwanyizibwa n’omuwendo ogwa waggulu ogwa Kaposi sarcoma, kookolo w’omumwa gwa nabaana, non-Hodgkin ne Hodgkin lymphoma.

Okutaputa

Kookolo eyeekuusa ku buwuka bye bika bya kookolo ebisinga okusangibwa mu bavubuka AYALWH abalina HIV mu Africa.

Obulabe bwa kookolo ono busobola okukendeezebwa okuyita mu kugema ne HPV, okukeberwa HIV, okutandika amangu eddagala eriweweeza ku HIV, n’okulaba ng’abantu bongera okwettanira obujjanjabi.


Abavubuka b’e South Afirika abalina HIV ne CD4 entono bali mu bulabe obw’amaanyi obw’okufuna kookolo

Abantu abalina HIV abali wakati w’emyaka 15 ne 24 nga balina CD4 ntono balina obulabe bwa maanyi obw’okufuna kookolo, naddala kookolo aleetebwa obuwuka obulumba abantu ab’obusibage obunafu.

Abanoonyereza bateesa okukebera kookolo w’omumwa gwa nabaana mu bavubuka abalina HIV, awamu n’okubagema akawuka ka HPV (human papillomavirus, akaleeta kookolo w’omumwa gwa nabaana).

Era bateesa eky’okwongera okukebera HIV n’okutandika eddagala eriweweeza ku HIV amangu ddala nga bwe kisoboka okugezaako okwewala kookolo aleetebwa obuwuka obulumba abalina obusibage obunafu.

Okubeera ne HIV mu bavubuka kizibu kinene mu South Afirika.

Bannasaayansi bakimanyi nti abantu abalina HIV bali mu buzibu bwa maanyi obw’okufuna kookolo, naye tebannaba kutunula nnyo ku kookolo mu bavubuka.

Mu kuoonyereza kuno, abanoonyereza baayagala okulaba abavubuka abalina HIV bameka era abalina kookolo, na nsonga ki eziviirako okufuna ebika bya kookolo eby’enjawulo.

Baatunuulira ebiwandiiko by’abalwadde mu South Afirika eby’abantu ab’emyaka 15 ne 24, wakati w’emyaka 2004 ne 2014.

Baatunuulira akakwate wakati wa kookolo ow’ebika eby’enjawulo n’ebintu nga ekikula, emyaka, n’omuwendo gw’obutaffaali bwa CD4 eby’abalwadde.

Abanoonyereza bagamba nti Kaposi sarcoma ye kookolo eyasinga okusangibwa, ne kuddako non-Hodgkin’s lymphoma, Hodgkin’s lymphoma, kookolo w’omumwa gwa nabaana, ne kookolo w’omu musaayi.

Balowooza nti Kaposi sarcoma, ng’ono aleetebwa kawuka, ye yasinga okusangibwa kubanga abavubuka batono abali ku ddagala lya HIV.

Abantu abalina HIV nga tebali ku ddagala bayinza okuba nga balina obusibage butono obutasobola kulwanyisa buwuka.

Abanoonyereza era baakizuula nti obulabe bw’okufuna kookolo bwali bungi mu bantu ab’emyaka 20 ku 24 okusinga ku b’emyaka 15 ku 19.

Okugeza, baakizuula nti abantu bangi ab’emyaka 20-24 baafuna non-cervical carcinoma, kookolo w’omumwa gwa nabaana ne Kaposi sarcoma.

Bye baazuula era byalaga nti abasajja be baali basinga okufuna ebika bya kookolo byonna kubanga ebitundu 11% byokka eby’abasajja be bataalina kookolo.

Abanoonyereza bagamba nti ng’oggyeeko kookolo w’omu musaayi, omuwendo gwa CD4 ogwa wansi gwakwanyizibwa n’omuwendo ogwa waggulu ogw’ebika bya kookolo byonna, naddala Kaposi sarcoma.

Baazuula omuwendo gwa CD4 ogusingako mu abo ab’emyaka 15-19 bw’ogeraageranya n’abo ab’emyaka 20-24.

Kuno kwe kunoonyereza okunene okwasooka nga kwetegereza obulabe bw’okufuna kookolo mu bavubuka abalina HIV mu South Afirika.

Naye newankubadde baatunuulira ebiwandiiko by’abalwadde ebikunukkiriza mu 800 000, abanoonyereza baagamba nti emiwendo gy’ebika bya kookolo kinnakimu gyali mitono.

Era baagamba nti waliwo ebikwata ku balwadde ebimu bye baali beetaaga bye bataafuna.

Baalabula nti abanoonyereza abalala bayinza okuba nga baakozesa enkola endala okulaga okubeerawo kwa kookolo, nga noolwekyo ebyazuulibwa mu kunoonyereza kuno biyinza okuba nga tebigeraageranyizika mangu na birala.


Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?