Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Abanoonyereza b’omu Misiri bateesa omutetenkanyirizo gwa kompyuta okuyamba mu kukebera n’okujjanjaba COVID-19

Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.04.16.20063990

Published onAug 14, 2023
Abanoonyereza b’omu Misiri bateesa omutetenkanyirizo gwa kompyuta okuyamba mu kukebera n’okujjanjaba COVID-19
·

Omutetenkayirizo Ogwekaliriza n’Okuteebereza ogwa COVID-19 ku Nnyanukula y’Abazadde eri obujjanjabi obwesigamiziddwa ku Convolutional Neural Networks and Whale Optimization Algorithm Using CT Images

Ekirwadde kya kolona (COVID-19) bwe kyabalukawo, kyasaasaanira ensi yonna ku mbiro ez’amaanyi.

Ekitongole ky’Ebyobulamu eky’Ensi Yonna (WHO) kyalangirira nti obulwadde bwa COVID-19 bwali bubunye wonna mu nsi.

Akakodyo ka Real-Time Reverse transcription-polymerase Chain Reaction (RT-PCR) kalina akakenzo akawansi mu kiseera kya COVID-19 ekisooka.

Ekiva mu kino, enkola ey aComputed Tomography (CT) y’ekozesebwa mu kukebera.

COVID-19 alina obubonero obukulu obw’enjawulo mu sikaani ya CT era ayawukana n’obuwuka obulala obwa lubyamira.

Obubonero buno buzingiramu ground-glass opacities, consolidations, ne crazy paving.

Mu lupapula luno, tuteesa omutetenkanyirizo ogwesigamiziddwa ku Magezi ga Kompyuta (Artificial Intelli-gence-inspired Model) ogw’Okwekaliriza n’Okuteebereza COVID-19 olw’okujjanjaba Abalwadde (AIMDP).

Omutetenkanyirizo gwa AIMDP gulina emigaso emikulu ebiri egyeyolekera mu modyu bbiri eziteesebwa, kwe kugamba, Modyu ey’Okwekaliriza (DM) ne Modyu ey’Okuteeberza (PM).

Modyu ey’Okwekaliriza (DM) eteesebwa okukozesebwa mu kiseera ekisooka ate ne mu kukebera abalwadde abalina COVID-19 era n’okmumwawula ku lubyamira w’obuwuka omulala mu kukozesa obubonero bwa COVID-19 obuggyibwa mu sikaani za CT.

Omutetenkanyirizo gwa DM gukozesa Convolutional Neural Networks (CNNs) ng’akakodyo k'okuyiga okwawula, kasobola okukola ku bifaananyi bya CT bikumi na bikumi mu butikitiki bubale olw’okwanguyako okukebera COVID-19 ate n’okusobozesa okumulwanyisa.

Mu ngeri y’emu, ensi ezimu tezirina busobozi kuwa balwadde bonna bujjanjabi n’okukola ku balwadde abayi, kale nno kijja kuba kyabuwaze okuwa obujjanjabi abalwadde abalabika okukyukako.

Mu mbeera eno, Mudyulu y’Okuteebereza (PM) eteesebwa olw’okuteebereza obusobozi bw’omulwadde okukolebwako eddagala okusinziira ku nsonga nga emyaka, obulwadde we butuuse, okulemererwa okussa, ebitundu by’omubiri ebingi okulemererwa okukola n’obujjanjabi obw’enjawulo.

Enkola ya PM ekozesa Whale Optimization Algorithm mu kulondako obubonero bw’omulwadde obusinga obukulu.

Ebyava mu kunoonyereza okwokugezesa biraga nti enkola z’okwekaliriza n’okuteebereza zijja kukola bulungi, nga zikozesa obubaka bwa nkumi na nkumi wamu n’ebifaananyi bya CT.


Abanoonyereza b’omu Misiri bateesa omutetenkanyirizo gwa kompyuta okuyamba mu kukebera n’okujjanjaba COVID-19.

Abanooneyereza baakola pulogulaamu ya kompyuta ey’okunoonyereza okugezaako okukebera COVID-19 ng’akyali ate mu bwanguko era mu butuufu obusingako.

Mu ngeri y’emu era baakola omutetenkanyirizo okuteebereza engeri omulwadde gy’asobola okussuuka ng’ali ku bujjanjabi.

Akawuka ka SARS-CoV-2 akakwata omussizo kaleeta COVID-19, kaasaana mangu mu 2020 ne kaleeta COVID-19 mu nsi yonna.

Okukebera kwa reverse transcription polymerase chain reaction (RT-PCR) kwe kumu ku okwo okusinga okukola mu butuufu mu kukebera COVID-19.

Wabula, enkola eyo esobola obutawa bituufu mu kiseera ky’obulwadde ekisooka.

Sikaani za CT zirabika okuba nga zisingako okuba entuufu mu kukebera COVID-19 mu kiseera ekisooka, naye nga sikaani ezo zirina kwekalirizibwa bantu abakugu.

Olw’okubanga amalwaliro gaali bakubyeko abalwadde ba COVID-19, abajjanjabi baali tebalina bikozesebwa kubajjanjaba bonna.

Abanoonyereza mu kunoonyereza kuno baayagala bakozese tekinologiya ayitibwa “okuyiga kw’ebyuma” okuyambako abasawo abali kumwanjo okukenga abalwadde ba COVID-19 nga bakozesa sikaani za CT, olwo basobole okukozesa ebikozesebwa ebitono okujjanjaba abo abaali balabika nti banaawona.

Baayagala okukozesa obubaka bw’abalwadde ba COVID-19 bwennyini okusomesa pulogulaamu za kompyuta engeri y’okukeberamu COVID-19 okuva mu sikaani za CT, era n’okuteebereza oba ng’omulwadde oyo anaasobola okussuuka obulungi ng’afunye obujjanjabi.

Era baayagala okwongeza ku mbiro n’obutuufu bw’okukebera COVID-19 nga bakozesa sikaani za CT.

Abanooneyereza bano baateeka obubaka mu pulogulaamu za komyuta zaabwe (gamba nga sikaani za CT, ebyava mu kukebera kwa RT-PCR n’obungi bw’omusaayi) kibeere nti zisobola okuyiga okukebera COVID-19 era n’okusemba obujjanjabi obwetaagisa, era nga byonna byesigamizibwa ku bumanyirivu bw’abakugu abaakebera era ne bajjanjaba abalwadde abo.

Abanoonyereza baagamba nti pulogulaamu yaabwe eweza obutuufu bwa 97% era ng’esobola okuteebereza okuva ku sikaani za CT mu butikitiki nga 20.

Era baagamba nti pulogulaamu yaabwe ekola okuteebereza okutuufu mu biseera ebimpi okusinga abanoonyereza abalala bwe baali basobola nga bakozesa obubaka obulala.

Ebibiina by’okunoonyereza ebirala bitunudde mu kukebera COVID-19 nga bikozesa sikaani za CT n’okuyiga kw’ebyuma.

Ebeymbi, mu kunoonyereza okwo emitetenkanyirizo gy’ebyuma tegyasobola kunnyonnyola kukebera kwazo ng’omuntu omukugu bwe yandikoze; bitera kuwa buwu kwekaliriza kwokka.

Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baagezaako okumulungula ekizibu kino nga balaga ebintu bya sikaani za CT kompyuta by’ekozesa okukola okwekaliriza kwayo.

Abanoonyereza baategeka okugezesa omutetenkanyirizo ogwo ku bubaka obusingawo okukakasa bye baazuula.

Era baateekateea okukola omutetenkanyirizo omupya ogusobola okuteebereza essa ly’obuyi abalwadde ba COVID-19 kwe baba bali.

Bagamba nti kino kijja kuyamba abasawo okusalawo ku ngeri esinga obulungi ey’okujjanjaba omulwadde.

Okunoonyereza okulala bwe kunaakulebwa, okunoonyereza kw’e Misiri kuno kusobola okuyamba abasawo bangi okukozesa ebikozesebwa ebitiono ebiriwo mu kujjajaba abalwadde ba COVID-19.

Wabula, akakodyo kaabwe kajja kwetaagisa ebikozesebwa eby’omutindo ogwawaggulu, gamba nga ebyuma bya CT ne kompyuta ez’omutindo ogwawaggulu ebiyinza obutaba mu bitundu bya Afirika ebirimu.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?