Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Abaatemwako ebitundu by’omubiri mu lutalo lw’omunda mu Uganda bali awo tebayambibwanga.

Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.05.14.095836

Published onMay 24, 2023
Abaatemwako ebitundu by’omubiri mu lutalo lw’omunda mu Uganda bali awo tebayambibwanga.
·

Okunoonyereza okwekaliriza Obusaasaane n’Enfanana y’Okutemwako ekitundu ku mubiri mu kitundu ky’e Acholi mu Uganda

EBYAFAAYO

 Waliwo obuzibu bw’okutemwako ebitndu by’omubiri bwa maanyi nnyo obutegeezeddwa nga buli kitundu kya Uganda eby’Obukiikakkono, era nga kirowoozebwa nti kyasinga kuleetebwa lutalo olw’omunda olwamala ebbanga eddene.

Obuweereza bw’okuddaabirizibwa butono ddala ate era tewangawo kunoonyereza kuluubirira kutegeera muwendo gwa bantu abalina obuzibu bw’okutemwako ebitundu by’omubiri okwamaanyi, oba okumanya abo abafunye obujjanjabi bw’ekisawo oba okuddaabirizibwa.

EKIGENDERERWA

Okunoonyereza okusookedde ddala okuzuula ebikwata ku buzibu bw’okutemwako ebitundu by’omubiri okw’amaanyi, wamu n’okwekaliriza enfaanana y’obuzibu obwo obwa MLL.

OKUTEEKATEEKA

Okunoonyereza keekaliriza.

EKIFO

Okunoonyereza kwakolebwa mu kitundu (mu maka g’abanoonyerezebwako).

ABANTU

Abantu 7,864 nga baalondebwa mu ngeri ya kulabiraawo mu kitundu ky’e Acholi kyonna mu Bukiikakkono bwa Uganda.

OBUKODYO

 Okunoonyereza kuno kulimu enkalala z’ebibuuzo bbiri, olukaalala olusooka lujjuzibwa omukulu wa buli maka (n=7,864), ate olw’okubiri omu ku bantu ababeera mu maka ako galimu eyatemwako ekitundu ky’omubiri (n=181).

Ebifo by’amaka byekalirizibwa mu ngeri gye geesuddemu nga tukozesa akakodyo ka Moran ak’ebibalo.

Era akakodyo k’ekibalo aka “X^2 goodness of fit” kaakozesebwa okwogera ku bantu abo abalina obubizu bw’okutemwako ebitundu by’omubiri okw’amaanyi bw’ogeraageranya n’abantu abalala.

EBYAVAAMU

 Twalowooza mu ngeri esookerwako nti abantu c.10,117 abalina obuzibu bw’okutemwako ebitundu ’y'omubiri okw’amaanyi mu kitundu ekyo era nga beetaaga okuddaabirizibwa okumala ebbanga eggwanvu (ku bantu bonna awamu c.0.5%), n’abantu c.150,512 abalina obulemu obutali bwa MLL (abantu ebitundu c.8.2%).

Abantu abalina obuzibu bw’okutemwako ebitundu by’omubiri okw’amaanyi basaasaanye mu kitundu ekyo (bw’ogeraageranya n’abo abali mu bitundu ebimu) era nga basinga kuba basajja, bakuluko ate nga tebaagenda wala na kusoma kwabwe bw’ogeraageranya n’abantu abalala bonna.

OKUKUBIRA

 Okunoonyereza kuno kwe kusookedde ddala obunene bw’obwetaavu bw’obuweereza bw’okuddaabiriza abantu abalina obuzibu bw’okutemwako ebitundu by’omubiri okw’amaanyi.

Mu kunoonyereza kuno, tuleeseewo amagezi amapya ku nsonga ezireetera abantu obutatuusibwako bujjanjabi na buweereza bwa kuddaabirizibwa, era ne tuteesa engeri y’okugenda mu maaso nga tuyitira mu kukozesa “eddaliro eritambula”.

EKITUUKIDDWAKO EKY’EKISAWO MU BUWEEREZA BW’OKUDDAABIRIZA

Ebizuuliddwa wano eby’abantu abo abalina obuzibu bw’okutemwako ebitundu by’omubiri okw’amaanyi, nga tulagiramu n’enkozesa y’eddwaliro eritambula, mulimu ekiwakano kyamaanyi okulaga nti waliwo obwetaavu bwamaanyi obw’obuweereza obw’engeri eyo era n’obwetaavu bw’enkola ezituuka ku bantu mu bitundu eby’omu byalo mu Bitundu by’ensi Ebikyakula.


 Abaatemwako ebitundu by’omubiri mu lutalo lw’omunda mu Uganda bali awo tebayambibwanga.

Omulundi ogusookedde ddala, okunoonyereza bakoze okunoonyereza ku bantu abaatemwako ebitundu eby'amaanyi (MLL) n'obulemu obulala mu kitundu ky'e Acholi mu Bukiikakkono bwa Uganda.

Basuubira nti Gavumenti n’ebitongole ebirala bisobola okukozesa obubaka buno okuyamba abantu abo mu ngeri ey’ekisawo.

 Ekitundu ky’e Acholi mu Bukiikakkono bwa Uganda kyabonaabona n’olutalo olw’omunda olwamala emyaka 20 era nga lwaggwa mu 2005.

Abantu bangi abaafiirwa ebitundu byabwe eby’omubiri mu lutalo, era ekitundu ekyo kirimu obwavu bwamaanyi.

Ebyembi, n’okutuusa kati Gavumenti z’ebitundu n’ebitongole by’ensi yonna eby’obwannakyewa bibadde tebimanyi muwendo gwa bantu gwennyini abalina obulemu abasobola okutuusibwako obujjanjabi oba okuddaabirizibwa mu kitundu ekyo.

 Kuno kwe kunoonyereza okusookedde ddala okunoonyereza ku busaasaane bw’obuzibu bwa MLL mu Kitundu ky’e Acholi.

Okunoonyereza kuno kwagenderera okuzuula ebika by’obulemu n’okutemwako ebitundu by’omubiri ebyamaanyi ebiri mu bantu mu kitundu kino mu Bukiikakkono bwa Uganda, wamu n’okulaga Gavumenti wamu n’ebitongole obwetaavu bw’obujjanjabi we businga okwetaagibwa.

 Abanoonyereza baabuuza abantu 7864 ebibuuzo mu abaasangibwa mu maka ngeri ya kulabiraawo mu kitundu kino era nga baabuuzanga abakulira amaka wamu n’abantu 181 abaalina obuzibu bwa MLL baanukule ebibuuzo ebyali ku lumu ku nkalala z’ebibuuzo.

Baawandiika ebifo buli maka we gasangibwa era ne bakozesa akakodyo ka Moran I okuzuula obuzibu bwa MLL we businga okulabikira n’okulaba obuweereza we businga okwetaagibwa.

 Olw’okuba nti abanoonyereza baali tebasobola kutuuka ku buli maka mu kitundu ekyo, baali beetaka sampolo z’amaka agasinga okukiikirira obulungi abantu abantu abalala mu kitundu kino.

Awo nno, baakozesa akakodyo k’ebibalo akayitibwa “Chi-squared (X^2) goodness of fit” okukakasa nti amaka agalimu obuzibu bwa MLL geego agakiikirira abantu abalala.

 Abanoonyereza baabala era ne bazuula nti ebitundu 0.5% eby’abantu bonna balina obuzibu bwa MLL era nga beetaaga okuddaabirizibwa okumala ebbanga eggwanvu.

Mu ngeri y’emu era baazuula nti ebitundu nga 8.2% eby’abantu ababeera mu kitundu ekyo balina obulemu obw’engeri endala.

 Okunoonyereza kuno kwalaga nti abantu abalina obuzibu bwa MLL babunye mu kitundu kino kyonna era nti tebali mu kitundu kimu kyokka.

Abantu abasinga abalina obuzibu bw’okutemwako ebitundu by’omubiri (MLL) batera kuba basajja, nga bakuluko era nga n’okusoma kwabwe tekwagenda wala bw’ogeraageranya n’abantu abalala.

Ebyazuulibwa mu kunoonyereza kuno bye bisaale mu kuteebereza mu ngeri ennungi obusaasaane bw’obuzibu bwa MLL mu kitundu kya Acholi, wadde nga olutalo lwaggwa emyaka kati 15 egiyise.

Ebyembi, abanoonyereza baalina kwesigama ku byava mu kubala abantu okw’ekikungo ate nga bikadde era bimaze emyaka 5 era tebaalina muwendo gwa banoonyi ba bubudamu ogweyongera buli kiseera.

 Wadde nga waliwo emiziziko egyo, okunoonyereza kuno era kulaga nti obuweereza bw’okuddaabiriza abantu mu kitundu ky’e Acholi kulemereddwa okuyamba abantu bangi abalina obuzibu bw’okutemyako ebitundu by’omubiri ebyamaanyi.

Abanoonyereza basemba nti wabeewo obujjanjabi bw’ekisawo obutuusibwa ku bantu n’okunoonyereza okuyinza okutegeeza Gavumenti n’ebitongole binnakyewa ku bifo obuweereza bw’okuddaabiriza abantu we businga okwetaagibwa.

Era bagamba nti obuweereza bw’okuddaabiriza bulabika nga businga kwetaagibwa mu bitundu by’omu byalo ebyakosebwa ennyo entalo mu Bitundu by’ensi ebikyakula.


Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?