Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Abantu b’omu Ethiopia basobola okwawula ebika by’ebitembe eby’enjawulo nga bakozesa amaaso naye nga mu butonde, ebitooke bino eby’oluganda bifaanagana nnyo.

Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.08.31.274852

Published onJul 16, 2023
Abantu b’omu Ethiopia basobola okwawula ebika by’ebitembe eby’enjawulo nga bakozesa amaaso naye nga mu butonde, ebitooke bino eby’oluganda bifaanagana nnyo.
·

Endagabutonde n’ebika by’endagabutonde eby’enjawulo mu kitembe (Ensete ventricosum) ekikozesebwa mu ddagala ly’ekinnansi bifaanana n’ebika eby’enjawulo ebisangibwa mu bika bya mutere ebizungu

Ebyafaayo:

 Ekitembe kimera ekirina emigaso egiwera ekirimibwa ennyo mu bukiikaddyo ne mu bugwanjuba bw’omu bukiikaddyo bwa Ethiopia okufunamu emmere y’abantu, emmere y’ensolo n’ebyayi.

Kiyamba ku nteekateeka y’okuba n’emmere emala wamu n’okubeezaawo obulamu bw’abantu obukadde 20 mu byalo.

Ebika by’ebitembe ebizungu eby’enjawulo birimibwa olw’emigaso gyabyo mu ddagala ly’ekinnansi.

Enkyukakyuka mu mbeera z’ebitundu n’ebyenfuna n’okuzaawa kw’amagezi ag’edda biyinza okuviirako okusereba kw’ebitembe ebizungu eby’omuwendo ebivaamu eddagala n’ebika by’endagabutonde byabyo.

Wabula, mu kiseera kino tekimanyiddwa oba ng’ebitembe ebizungu ebivaamu eddagala byawulwa ku bitembe ebizungu ebirala.

Wano, tunnyonnyola ebika by’endagabutonde z’ebitembe ebizungu ebivaamu eddagala okusobola okuyambako ku kukuuma n’okweyambisa obungi bwabyo.

Ebyavaamu:

 Twekaliriza ebika by’endagabutonde by’ebitembe ebizungu 51 ne kiba nga 38 ku byo birimu eddagala.

Enfuuko 38 omugatte zaazuulwa mu bifo 15.

Enkola ya AMOVA yalaga nti ebitundu 97.6% eby’obwawuko mu ndagabutonde biri mu bantu abalina FST eya 0.024 wakati w’ebitembe ebizungu ebivaamu eddagala n’ebyo ebitavaamu ddagala.

Omuti gw’obuliraane gwalaga amatuluba ana ag’enjawulo nga tewali bukwatane ku migaso gy’ebitembe ebizungu.

Enkola y’okwekaliriza obuliraane nayo yakakasa nti tewaaliwo ntulubawaza ya njawulo mu bibinja, ne kyoleka enjawula y’ebitembe ebizungu eya wansi ekozesebwa mu ddagala ly’ekinnansi ne mu ebyo ebirina emigaso emirala.

Okukubira:

 Twazuula nti ebitembe ebizungu byabinjawazibwa awatali kutunuulira migaso gyabyo, ne kitalaga bukakafu bwonna ku bwawuko bw’endagabutonde wakati w’ebitembe ebirimibwa okufunibwamu eddagala wamu n’ebyo ebitavaamu ddagala.

Kino kiraga nti eddagala mu bitembe liyinza okuba nga liri mu bika bya ndagabutonde ebimu, okuba nga liva ku neeyisa yaakyo mu kitundu oba endabirira oba nga kiragiddwa mu bukyamu.

Okunoonyereza kuwa obubaka obutandikirwako obutumbula okunoonyereza okulala mu kuzuula eddagala eriri mu bitembe ebizungu bino.


Abantu b’omu Ethiopia basobola okwawula ebika by’ebitembe eby’enjawulo nga bakozesa amaaso naye nga mu butonde, ebitooke bino eby’oluganda bifaanagana nnyo.

Ekitembe, emmere ey’omuwendo era ekimera ekivaako eddagala ly’ekinnansi ekisaanye okukuumibwa kirina ebika bingi okusinziira ku bannansi ba Ethiopia naye abanoonyereza baazudde enjawulo ntono mu ndagabutonde y’ebimera bino “ebizungu”.

 “Ebintu ebizungu” biba bika bya bimera oba bisolo ebyawukana mu ndabika.

Mu Ethiopia, ebika by’ebitembe ebizungu eby’enjawulo bikozesebwa ng’eddagala ly’ekinnansi mu kuyunga amagumba agamenyese, okuvumula obulwadde bw’ekibumba oba okujjanjaba ekidumusi.

Ebirala bifunibwamu emmere, emmere y’ebisolo n’ebyayi – ekimera tekirimibwa olw’ekibala kyakyo naye ng’ebitundu ku mugogo gwakyo bisobola okuliibwa.

Eky’omukisa omubi, ekitembe ekivaamu eddagala kiri mu katyabaga ka maanyi ak’okusaanawo ng’ekimera okusinga ebika by’emmere ebirala ebirimibwa olw’enkyukakyuka mu bitundu n’ebyenfuna wamu n’okuzaawa kw’amagezi ag’edda.

 Okunoonyereza okwali kukoleddwa ku kitembe kwatunuulira bimera okuva mu bifo ebironde naye ate mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baanoonyereza ku bika by’endagabutonde z’ekitembe ekivaamu eddagala eby’enjawulo wamu n’obukwatane mu ndagabutonde zaabyo.

Mu kumanya obulungi endagabutonde z’ekitembe, bannassaayansi basobola okukola okusalawo okutuukanye okusobola okukuuma ebimera bino eby’omuwendo.

 Okusobola okuzuula ebitembe ebizungu, abanoonyereza beebuuza ku bakulu b’oku kyalo mu bitundu bina eby’enjawulo mu Ethiopia.

Baageraageranya endagabutonde z’ebitembe bino ebizungu ebivaamu eddagala wamu n’ebika by’ebitembe ebifunibwamu emmere ebyalondebwa.

 Ekisessa kiri nti abanoonyereza baazuula nti newankubadde nga waaliwo enjawulo mu bika by’ebimera eby’enjawulo. Ebitembe ebivaamu emmere n’ebitembe ebivaamu eddagala byali tebyawukana nnyo mu ndagabutonde zaabyo.

Tewaaliwo na bukakafu bulaga nti ebitembe ebizungu ebirina amannya ag’ekinnansi naye nga bikozesebwa okuvumula endwadde emu bikola ebibinja by’endagabutonde eby’enjawulo.

Ekyo nga kiwedde, abanoonyereza baazuula obukwatane mu ndagabutonde wakati w’ebimera ebirina erinnya erinnansi erimu, ekitegeeza nti bannansi balina obusobozi bwa maanyi okuzuula n’okwawula ebitembe ebizungu eby’enjawulo.

 Bino ebizuuliddwa byongera ku kunoonyereza okukoleddwa ku ndagabutonde z’ekitembe, ekiyamba ku nteekateeka z’okukikuuma okusobola okwawula ebika by’ebitembe ebizungu ebivaamu eddagala eby’omuwendo.

Obubaka bw’endagabutonde buno era busobola okuyamba abanoonyereza abalala okunoonyereza ku ddagala eriri mu kitembe mu biseera ebijja.

 Abanoonyereza baawa ensonga ez’enjawulo eziyinza okuba nga zinnyonnyola obukwatane mu ndagabutonde bwe baazuula.

Okugeza, kisoboka okuba ng’ebitembe byonna birimu ekirungo ky’eddagala naye ng’ebika ebimu bye bikozesebwa olw’ensonga kinnabuwangwa.

Era kisoboka okuba ng’omuwendo gw’ebimera ebimu bwe kituuka ku ddagala gusinziira ku kifo mwe bisangibwa, ng’ebimera biba n’eddagala ery’enjawulo nga biri mu mbeera emu mwe bikulira.

Mu biseera ebijja, okugeraageranya obukole bw’ebitembe ebizungu eby’enjawulo kuyinza okusoggola okutegeera kw’omuwendo gwabyo ogw’eddagala.

Okunoonyereza kuno kwakola ekitundu ku mukago omunene wakati w’abanoonyereza okuva mu Bungereza n’abava mu Afrika ogwaluubirira okutumbula obubaawo bw’emmere emala n’okutegeera eddagala eriyinza okuba mu kitembe.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?