Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1007/978-3-319-92798-5_5
Luganda translation of DOI: 10.1007/978-3-319-92798-5_5
Wadde ng’enkyukakyuka y’embeera y’obudde esobola okukosa ebisaawe by’ebyenfuna ebirala mu Zimbabwe, obulabe obutuusibwa ku byobulimi bwamaanyi kubanga ebyobulimi y’entabiro y’ebyenfuna by’eggwanga.
Mu ngeri y’emu, waliwo obubaka butono ddala obuliwo ku ngeri y’okuyamba abalimi abakolera ku ttaka ettono n’okumanya engeri gye beeyambayamba ng’obulabe buzze.
Okusobola okulaba okukosebwa okutuusibwa ku makungula g’ebirime nga kuva ku nkyukakyuka y’enkuba wamu n’okweyongera kw’omukka gwa kaboni (CO2) okuteeberezebwa, twakozesa emitetenkayirizo ebiri – Omutetenkanyirizo ogwekwanya ku Tekinologiya (DSSAT) n’Omutetenkanyirizo ogwekwanya ku kugeegeenya Amakungula (APSIM).
Emitetenkanyirizo gyekalirizibwa era ne giyisibwa olw’okwekenneenya okukosebwa okuva ku nsonga emu n’ensonga ezaawamu ez’enkyukakyuka y’embeera y’obudde ku makungula ga kasooli n’ebisoolisooli wamu n’ebinyeebwa ku ttaka lya bika bisatu.
Okutwaliza awamu, emitetenkanyirizo ebiri gikkaanya ku kukosebwa okuva ku nsonga z’enkyukakyuka y’embeera y’obudde ku kasooli ne ku binyeebwa, wabula obunene bw’enkyukakyuka ezo bwawuka.
Okugeza, okukendeera kw’amakungula ku kasooli kunene mu mutetenkanyirizo gwa APSIM so ng’ate mu mutetenkanyirizo gwa DSSAT ebisoolisooli bikendeera nnyo bikendeera nnyo.
Emitetenkanyirizo gyombi giraga emiganyulo gy’amakungula nga waliwo okweyongera kw’omukka gwa CO2 ku binyeebwa, ekintu ekiwakanya okukosebwa kw’ebbugumu eryongedde mu kwekaliriza ensonga z’enkyukakyuka y’embeera y’obudde zonna awamu.
Wabula, amakungula geeyongera ku binyeebwa n’ebisoolisooli mu mutetenkanyirizo gwa DSSAT.
Ekyazuulibwa ekikulu kiri nti ettaka lizannya ekifo kikulu nnyo mu kugera amakungula mu mbeera y’enkyukakyuka y’embeera y’obudde: ettaka lisobola okubaako kye likola oba okwongeza ku kukosebwa okuva ku nkyukakyuka y’embeera y’obudde.
Okunoonyereza kuno kukoleddwa nga kulimu okugeegeenya okukosa okuva ku nkyukakyuka y’embeera y’obudde ku kulima ebirime mu Zimbabwe era ne kuzuula nti enkyukakyuka mu bbugumu, enkuba omukka gwa kaboni gikosa amakungula.
Wabula, okulongoosa ettaka bwe kuba nga kukoleddwa, kusobola okukendeeza ku kukosa okuva ku nkyukakyuka y’embeera y’obudde ne kitaasa amakungula.
Enkyukakyuka y’embeera y’obudde erabika okukosa ekisaawe ky’ebyobulimi mu Zimbabwe.Ebyenfuna by’eggwanga byesigambye ku bulimi. Wabula, waliwo ebbula ’y'obubaka ku ngeri abalimi abakolera ku ttaka essaamusaamu gye bayinza okwaŋŋanga obulabe obwo.
Enkyukakyuka y’embeera y’obudde erina obusobozi bw’okukyusa engeri enkuba gy’etonnya n’obungi bw’omukka gwa kaboni, bwe kityo amakungula ne gakosebwa.
Wabula, okukosebwa kwennyini okw’enkyukakyuka zino tekunnaba kunoonyerezebwako bulungi mu Zimbabwe.
Okunoonyereza kuno kwekaliriza okukosebwa okuva ku nkyukakyuka ezisuubirwa ku nkuba, okweyongera kw’omukka gwa kaboni (CO2) n’ebbugumu, ku makungula nga tukozesa emitetenkanyirizo gy’ebibalo bibiri.
Abanoonyereza beeyambisa emitetenkanyirizo ebiri okulaba enkyukakyuka y’embeera y’obudde ey’omulundi ogumu n’engattike ku makungula g’ebinyeebwa ne kasooli mu kitundu ky’e Nkayi mu Zimbabwe.
Baakozesa emitetenkayirizo egyo ebiri okugeegeenya ebiseera eby’enjawulo, omugaso gw’emitendera gy’ettaka egy’enjawulo gamba ng’amazzi ne nayitrojeni, okwo nga kw’otadde n’ebbugumi erisookerwako n’erisinga obungi ebimera lye bisobola okufuna mu lunaku olulamba.
Abanoonyereza baakozesa emitetenkanyirizo egyo okunoonyereza ku kukosebwa okuva ku nkyukakyuka y’embeera y’obudde ku mpeke z’akasooli n’ebinyeebwa, ne ku bikolo ne ku bikoola ebitera okulekebwa mu nnimiro ng’okukungula kuwedde (ebiyitibwa ebisoolisooli).
Okunoonyereza kuno kwazuula nti emitetenkanyirizo ebiri gyakkaanya ku kukosebwa okuva ku nsonga z’enkyukakyuka y’embeera y’obudde ku kasooli ne ku binyeebwa, wabula obunene bw’okukosebwa bwali bwanjawulo.
Omutetenkanyirizo gwa APSIM gwalaga nti enkyukakyuka y’embeera y’obudde ekendeeza ku makungula ga kasooli so te omutetenkanyirizo gwa DSSAT gwalaga nti ebisoolisooli bikendeera nnyo olw’enkyukakyuka y’embeera y’obudde.
Emitetenkanyirizo gyombi gyalaga nti amakungula g’ebinyeebwa geeyongerera ddala obungi bw’omukka gwa kaboni (CO2) bwe bweyongera, naye ate omutetenkanyirizo gwa DSSAT gwalaga amakungula g’ebisoolisooli n’ebisusunku by’ebinyeebwa geeyongera okuba amalungi mu biseera by’ebbugumu eringi n’omukka gwa CO2 omungi.
Abanoonyereza baazuula nti ettaka lizannya ekifo kikulu nnyo mu kugera engeri ebimera gye byemanyiiza enkyukakyuka y’enkuban’ebbugumu.
Ebyazuulibwa bino biraga nti ettaka eddungi kye kisumuluzo ky’okutetenkanya okukosebwa kw’enkyukakyuka y’embeera y’obudde n’amakungula g’ebirime.
Abanoonyereza bano baasemba nti abalimi ne gabumenti mu Afirika basaana beemalize ku kwongera ku mutindo gw’ettaka olw’oketangira okukosebwa kw’enkyukakyuka y’embeera y’obudde.
Amharic translation of DOI: 10.1007/978-3-319-92798-5_5
Northern Sotho translation of DOI:10.1007/978-3-319-92798-5_5
Yoruba translation of DOI:10.1007/978-3-319-92798-5_5
Hausa translation of DOI: 10.1007/978-3-319-92798-5_5
Zulu translation of DOI: