Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Abanoonyereza b’e Sudan bakulaakulanya eddagala eriyinza okugema COVID-19

Luganda translation of DOI: 10.1155/2020/2683286

Published onSep 30, 2023
Abanoonyereza b’e Sudan bakulaakulanya eddagala eriyinza okugema COVID-19
·

Okukola Eddagala erigema eryesigamiziddwa ku Epitope ez’enjawulo okwerinda COVID-19 mu Bantu:

Enkola y’Ebibalo by’Obusibage

Ebyafaayo.

Obulwadde obupya busaasaanidde Ekibuga ky’e Wuhan, mu Deesemba 2019.

Mu wiiki ntono, Ekitongole ky’Ebyobulamu mu Nsi Yonna (World Health Organization, WHO) kyalangirira akawuka ka korona akapya akayitibwa coronavirus disease 2019 (COVID-19).

Ku nkomerero ya Janwali 2020, WHO yalangirira okubalukawo kwa “ekizibu ky’ebyobulamu ekigwiridde ensi yonna” olw’obulwadde buno okusaasaanira ensi yonna ku misinde emingi.

Mu kiseera kino, tewali ddagala ligema oba erikakasiddwa okuwonya obulwadde buno obubaluseewo; noolwekyo, ekigendererwa ky’okunoonyereza kuno kwe kuteekateeka eddagala erigema COVID-19 nga tukozesa enkola y’ebibalo by’obusibage.

Obukodyo.

Obukodyo bungi obuyamba mu kugatta enkola y’okubala ebibalo by’obusibage n’enkola y’okugeraageranya genome bwakozesebwa okusobola okumanya peptide ez’okuzimba eddagala eigema eyesigamiziddwa ku T-cell epitope nga tukozesa puloteni ya envelope eya 2019-nCoV ng’ekiruubirirwa.

Ebyavaamu.

Okukyuka, okugattibwamu, n’okusangulwa okw’amaanyi mu bulagabutonde byazuulwa mu nkola y’okugeraageranya ebika by’obulagabutonde bwa COVID-19.

Ekirala, peptide kkumi ezeekwata ku MHC ey’ekika I ne MHC ekika II zaasangibwa nga zisobola okusinziirwako okukola eddagala erigema nga lisobola okutuuka ku bantu ebitundu 88.5% ne 99.99%, mu busengeke obwo mu nsi yonna.

Okukubira.

Eddagala erigema eryesigamiziddwa ku T-cell epitope lyakolebwa kuziyiza COVID-19 nga bakozesa puloteni ya envelope ng’ekiruubirirwa.

Newankubadde guli gutyo, eddagala erigema lino erivumbuddwa lyetaaga okukakasibwa mangu mu ngeri y’ekisawo okusobola okukakasa obukozi n’obusibage bwalyo okuyamba okukomya okusaasaana kw’akawuka kuno nga tekannaba kusaasaanira nsi yonna.


Abanoonyereza b’e Sudan bakulaakulanya eddagala eriyinza okugema COVID-19

Mu 2020, ng’eddagala erigema COVID-19 terinnaba kukolebwa, abanoonyereza mu Sudan baateesa okukola eddagala erigema erisobola okukola obusibage eri puloteni ya envelope ey’akawuka ka SARS-CoV-2.

Mu kiseera ekyo, abanoonyereza bangi baali banoonya eddagala eriyinza okukola obulungi era nga teririna bulabe mu kugema COVID-19, eyali yaakatandika okusaasaanira ku misinde emingi okwetooloola ensi.

Eddagala erigema eryesigamiziddwa ku peptide teririna bulabe era si lya buseere bw’oligeraageranya ku bika by’eddagala erigema eddala.

Peptide buba bujegere obumpi obwa asidi za amino nga asidi za amino zino bwe butaffaali obukola puloteni, nga puloteni zibaamu peptide nnyingi.

Epitope ye peptide eruubirirwa ng’esobola okukengebwa obusibage bw’omubiri.

Eddagala erigemwa eryesigamiziddwa ku peptide likozesa epitope okuva mu kitundu ky’akawuka ekizuukusa obusibage bw’omubiri, nga mu ngeri eno y’ebeera puloteni ya envelope, oba puloteni ya E.

Puloteni ya E y’emu ku bikola olususu lwa puloteni (“eddiba”) olwetooloola akawuka.

Puloteni eno ya mugaso nnyo mu ngeri akawuka gye kalyamu obutoffaali n’engeri gye kaleetamu obulwadde.

Abanoonyereza mu kunoonyereza kuno baagenderera okukola eddagala erigema eryesigamiziddwa ku peptide nga bageraageranya enziriŋŋana ya peptide ebisangibwa mu bika by’akawuka ka corona eby’enjawulo, nga bakozesa puloteni ya envelope (E) ng’ekiruubirirwa.

Okusooka baakebera mu materekero okufuna ebikwata ku ndagabutonde za peptide eziyinza okuluubirirwa.

Ekiddako, baakozesa emitetenkanyirizo gya kompyuta n’ebyo bye bamanyi ku ngeri eddagala erigema gye likolamu okusobola okufuna endagabutonde eziyinza okukozesebwa okukola eddagala erigema.

Abanoonyereza baasobola okuzuula peptide eziwerako ezisangibwa mu bika by’akawuka ka corona eby’enjawulo ezisobola okukozesebwa ng’eddagala erigema, naye ne banywerera ku puloteni ya E ng’eddagala lyabwe erigema.

Bagamba nti baasobola okukola eddagala erigema COVID-19 eryesigamiziddwa ku puloteni nga bakozesa obukole bwa puloteni ya ennvelope eno.

Mu kiseera ekyo, abanoonyereza baagamba nti be baasooka okuzuula ebitundu bya puloteni ya envelope (E) (peptides) ng’ebisobola okukolwamu eddagala erigema COVID-19.

Bye baazuula bino byalaga obusobozi bw’eddagala erigema eryesigamiziddwa ku puloteni, nga lino teririna bulabe, ppya, lifunika, era nga y’emu ku ngeri ennungi ey’oukola eddagala eppya erigema COVID-19.

Wabula, eddagala lyabwe erigema lyali era lyetaaga okwongera okugezesebwa mu nkola y’ekisawo okukakasa nti likola bulungi era nga teririna bulabe.

Okusinziira ku banoonyereza b’e Sudan abaali emabega w’okunoonyereza kuno, eddagala erigema eryesigamiziddwa ku puloteni si lya buseere okukola, noolwekyo kyangu okulikola n’okulibunyisa mu mawanga agakyakula.


Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?