Description
Lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2020.11.12.380295
Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.11.12.380295
Omuteeko gw’endagabutonde z’omuntu ogw’ekika kya GRCh37gukyakozesebwa nnyo mu kwekaliriza endagabutonde newankubadde nga waliwo omuteeko gw’endagabutonde (ogwa GRCh38) oguzziddwa obuggya oluvannyuma lw’emyaka egiwera.
Obuzibu obuliwo kaakano mu kwekaliriza endagabutonde mu kujjanjaba y’emminjawaza ya Ensembl GRCh37 ey’endagabutonde ebadde eterekeddwa era nga tezzibwanga buggya okuva mu 2013.
Emminjawaza z’endagabutonde zino eza Ensembl GRCh37 ziri buli wamu ng’omuteeko ogwaliko era nga gy’emitetenkanyizo gy’endagabutonde egisooka okulowoozebwako okukozesebwa era egyagalwa mu pulojekiti z’okunoonyereza ku ndagabutonde okwetooloola ensi.
Mu kunoonyereza kuno tusonga ku nsonga y’endagabutonde ezirina emminjawaza etali nnuŋŋamu eziragibwa nga zeenyigira mu kukola puloteyini mu muteeko omupya naye ate nga mu muteeko omukadde tekiragibwa.
Endagabutonde zino tezifiibwako mu bubaka bw’endagabutonde obukyesigama ku mminjawaza y’endagabutonde enkadde eyaterekebwa.
Ate era kiri nti endagabutonde zino ezaawuka ezisinga obungi (bwe zitaba zonna) ziwandulwa butereevu era ne zitafiibwako ebyuma ebirala ebyesigama ku mminjawaza y’endagabutonde eya Ensembl GRCh37 bwe bikozesebwa.
Twakola okwekaliriza okw’ebibalo nga tuzuula endagabutonde za Ensembl ezirina emminjawaza eyawukana wakati w’emiteeko gy’endagabutonde ebiri egyakasebayo: ogwa hg37 n’ogwa hg38.
Obubaka ku bika by’endagabutonde bufuniddwa era ne bugeraageranyizibwa olw’omuteeko gw’endagabutonde guno.
Nate, obubaka ku nsengeka y’endagabutonde n’enkolagana yaazo bukuŋŋaanyiziddwa era ne bwekalirizibwa.
Twazuula ebikumi by’endagabutonde (ebiwerera ddala 267) ebyali byabinjawazibwa nate ng’ebyenyigira mu kukola puloteyini mu muteeko omupya ogwa hg38.
Okusinga ennyo, endagabutonde 169 ku zo era zaalina akabonero k’erinnya ly’endagabutonde akaawufu mu miteeko gyombi.
Endagabutonde ezisinga obungi bwalina enkolagana mu nsengeka yaazo (199 ku 267) omuli n’endagabutonde zonna ezirina ekika ekirambulukufu mu muteeko gw’endagabutonde ogwa Ensembl GRCh38 (eziwerera ddala 10).
Wabula, endagabutonde nnyingi ezeenyigira mu kukola puloteyini zisigala tezirabika mu mitetenkanyizo gy’ensengeka n’enkolagana y’endagabutonde egimanyiddwa kaakano (N=68)
Twazuula endagabutonde nnyingi ez’omugaso mu kujjanjaba endwadde mu kibinja kino eky’endagabutonde ezirekeddwa ebbali era tusuubira nti endala nnyingi zijja kuzuulwa nga za mugaso mu biseera ebijja.
Ku lw’endagabutonde zino, akabonero akakyamu akalaga nti tezeenyigira mu kukola puloteyini kakugira obusobozi bw’okuzuula ebintu ebirala ebizisukkako.
Nate, obubaka obulala gamba ng’ebibalo by’obukugizi nabyo tebyabalibwa ku ndagabutonde zino olw’ensonga y’emu, ne kyongera okuzireka mu bbanga.
Abanoonyereza ku ndagabutonde beesigama ku bubaka obujulizibwako ku ndagabutonde z’abantu obuyitibwa “emiteeko gy’endagabutonde” nga banoonyereza ku mugaso gw’endagabutonde mu mubiri.
Abanoonyereza abaageraageranya emiteeko g’endagabutonde egisebyeyo okukolebwa n’egyo emikadde baazuula enjawulo mu bubaka obukwata ku ndagabutonde ezimu, ekiyinza okuleetera bannassaayansi okusubwa enkolagana ey’omuwendo wakati wa kannandagabutonde n’endwadde.
Bannassaayansi bangi bakyakozesa omuteeko omukadde kubanga waliwo obubaka bw’okunoonyereza obuwera bwe basobola okukozesa okugeraageranya ne bye bazudde ate era olw’okuba ng’okudda ku muteeko omupya kitwala obudde bungi ate era kya bbeeyi.
Ekizibu kiri nti tekinologiya asinga bannassaayansi bano gwe bakozesa awandula endagabutonde ze tumanyi kaakano nti za mugaso, olw’okuba n’obubaka obuyiseeko.
Olw’ensonga eyo, bannassaayansi bayinza obutaba na bubaka bwonna obw’omugaso nga bakola okunoonyereza kwabwe ku ndagabutonde.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baali baagala okutegeera omuwendo gw’obubaka obwali bufiibwa bannassaayansi bwe baakozesa omuteeko omukadde ogwafuluma mu 2013.
Okutwaliza awamu, baali baagala omuwendo gw’obubaka obukwata ku ndagabutonde obwongeddwa mu muteeko omupya n’omugaso gw’endagabutonde ezo.
Okusobola okuzuula, beekaliriza era ne bageraageranya emiteeko gy’endagabutonde ebiri nga banoonya ewantu ewaali wongeddwa obubaka obupya ku mugaso gw’endagabutonde ezimu.
Oluvannyuma baatunuulira obubaka obuli mu malwaliro n’obwo obukwata ku ndagabutonde okusobola okuzuula enkolagana wakati w’endagabutonde ezo n’endwadde.
Abanoonyereza baazuula ebikumi by’endagabutonde ebyali bibinjawaziddwa nate mu muteeko omupya.
Nnyingi ku zino zeenyigira mu kukola puloteyini mu mubiri.
Amannya agaakozesebwa okutegeeza ezimu ku ndagabutonde zino nago gakyuse, ne kyongera okufuuka ekizibu eri bannassaayansi okukwanaganya obubaka nga bakozesa omuteeko omukadde.
Ezimu ku ndagabutonde zino era zaali zeekuusa ku ndwadde ezimu. Okugeza, endagabutonde ya KIZ eyeekuusa ku kifu ky’oku maaso – obulwadde obusobola obuviirako omuntu okuba nga talaba.
Okunoonyereza kulaga nti abanoonyereza basaanye bakozese obubaka bw’endagabutonde obuliko okukakasa nti obulwadde bukwasaganyizibwa n’endagabutonde ezibuleeta, n’okusingira ddala mu bifo obubaka buno we bukozesebwa okukebera endwadde.
Ebikozeso ebipya eby’okuzza obuggya obubaka wakati w’emiteeko ebiri nabyo bisobola okwanguyiza bannassaayansi okujjulula obubaka mu ggyo mu biseera ebijja.
Okunoonyereza kuno kwakolebwa omukago gw’banoonyereza okuva mu South Africa, Sudan ne Bugirimaani.
Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.11.12.380295
Amharic translation of DOI: 10.1101/2020.11.12.380295
Hausa translation of DOI: 10.1101/2020.11.12.380295
Northern Sotho(Sepedi) translation of DOI: 10.1101/2020.11.12.380295
Zulu translation of DOI: 10.1101/2020.11.12.380295