Description
This is a lay summary for the article published under the DOI: 10.1186/s12891-020-03341-y
Luganda translation of DOI: 10.1186/s12891-020-03341-y
Bannansi be bakozi abasinga okubeera ab’omugaso ababeera ku mwanjo mu Afirika mu bifo ebijjanjabirwamu, era nga bakola emirimu egitagambika.
Emirimu gyabwe egyo girowoozebwa okuba nga gizingirwa mu mirimu gye balina okukolako.
Obwannansi bwogerwako nga omulimu ogusinga okuba ogw’obulabe mu mirimu gy’ekikugu era nga giretera okulumwa omugongo.
Obukugu bw’obwannansi bulagibwa ng’obukugu obw’emirundi ekkumi obusinga okubeera mu buzibu bw’okufuna obuzibu bw’omugongo.
Awo nno, okwekaliriza kuno kugenderera okulaba oba ng’obuzibu bw’omugongo kizibu ekyeraliikiriza bannansi mu bifo ebijjanjabirwamu mu Afirika.
Okuwenja ebiwandiiko ebirimu okunoonyereza okwakolebwa mu materekero g’ebiwandiiko kwakolebwa nga tewali kukugira ku kiseera okuva mu Gwomwenda okutuuka mu Gwekkumineebiri mu 2018 nga tugoberera ennambiko ya PRISMA.
Omutindo gw’okunoonyereza okwatunuulirwa wano gwakenenulwa nga tugoberera ebirambiko kwa nsonga 12.
Okwekaliriza okw’ebibinja n’okwebibalo kwakolebwa.
Okugezesa kwa Cochran Q ne I2 test byakozesebwa okwekaliriza enjawulo mu byakalirizibwa.
Kyekubiira ku biwandiiko eybafulumizibwa yeekenneenyezebwa na kukozesa okugezesa kwa Egger wamu n’okwekaliriza okw’amaaso ku byoleke.
Mu kwekaliriza kuno, okunoonyereza kwa mirundi 19 okuva mu bitundu bya Afirika eby’enjawulo omuli sampolo 6110 kwakolebwa.
Okunoonyereza kwonna kwakolebwa wakati wa 2000 ne 2018.
Mu kunoonyereza kuno kwonna, obuzibu obwasinga okuba obutono n’obungi bwali ebitundu 44.1 ne 82.7% mu nsengeka eyo.
Okuteebereza kw’ekigero ky’obuzibu bw’omugongo mu bannansi okwatuukibwako mu kukozesa omutetenkanyirizo gw’okulabiraawo kyali ebitundu 64.07% (95% CI: 58.68–69.46; P-value < 0.0001).
Enjawulo mu bifaanagana mu kunoonyereza okwekalirizibwa yali I2 = 94.2% ate enjawulo mu bifaanagana mu kyekubisa Chi- = 310.06 (d.f = 18), ekigero kya P- < 0.0001.
Okwekaliriza okw’ebibinja kwalaga nti obuzibu bw’omugongo obusinga obunene mu bannansi bwali mu kitundu ky’Obugwanjuba bwa Afirika n’ebitundu 68.46% (95% CI: 54.94–81.97; ekigero kya P- < 0.0001) ne kiddirirwa Obukiikakkono bwa Afirika n’ebitundu 67.95% (95% CI: 55.96–79.94; P-value < 0.0001).
Wadde ng’emiwendo egyogerwako wano giri wansiko bw’ogeraageranya n’egyo egiri mu kunoonyereza mu mawanga ga Asia, emiwendo egyo giraga nti obuzibu bw’omugongo mu bannansi bwa maanyi.
Bannansi abasukka mu 60% mu Afirika balina obuzibu bw’okulumwa omugongo.
Bannansi be bakozi abasinga okubeera ab’omugaso ababeera ku mwanjo mu Afirika ebyobujjanjabi mwe biri nga byakkekwa.
Okunoonyereza kuno kwekaliriza okunoonyereza okwakolebwa mu myaka 19 egyayita okwalaga nti bannansi abasukka mu bitundu 60% mu Afirika balina obuzibu bw’omugongo (LBP).
Mu Afirika, bannansi tebasobola kwewalibwa ate n'emirimu gyabwe gibazitoowerera nnyo.
Mu nsi yonna, bannansi be bamu ku biti by’abakugu 10 abasinga okukosebwa obuzibu bwa LBP.
Mu butuufu, obuzibu bw’omugongo bugambibwa okuba obwamaanyi era nga buli ku bitundu 63% mu Australia, 56% mu China, ate nga mu mawanga ga Afirika agamu buli waggulu ddala ku bitundu 82.7%.
Abanoonyereza baatunuulira okunoonyereza okukoleddwa mu myaka 19 okulaba obunene bw’obuzibu bw’omugongo mu Afirika.
Baanoonyereza mu biwandiiko by’okunoonyereza mu materekero g’ebiwandiiko ag’enjawulo okuzuula okunoonyereza okw’obuwanvu obw’enjawulo okwafulumizibwa wakati wa 2000 ne 2018.
Abanoonyereza baakola okwekaliriza kuno okuva mu Gwomwenda okutuuka mu Gwekkumineebiri 2018.
Okunoonyereza kuno kwakolebwa ku kunoonyereza kwa mirundi 19 omuli bannansi 6110 okuva mu bitundu eby’enjawulo mu Afirika abaalina obuzibu bw’omugongo.
Ebitundu 64.07% ebya bannansi mu Afirika balina obuzibu bw’omugongo.
Okunoonyereza kwakizuula nti Obugwanjuba bwa Afirika bwalimu bannansi abasinga obungi abalina obuzibu bw’omugongo era nga baweza ebitundu 68.46%, ne baddirirwa Obukiikakkono bwa Afirik n’ebitundu 67.95%.
Abanoonyereza bagamba nti okusinziira ng abwe bamanyi, okunoonyereza kuno kwe kusaale okukoleddwa nga kwekaliriza obunene bw’obuzibu bw’omugongo mu bannansi mu Afirika.
Ebyembi, ebitundu ebimu mu Afirika tebyalina bibalo ku nsonga eno, era nga kino kiyinza okukosa ebyazuulibwa ebyogerwako mu kunoonyereza kuno.
Weewaawo ng’emiwendo egyogerwako wano giri wansiko ku egyo egy’Obugwanjuba bw’Ensi wamu ne mu kunoonyereza mu mawanga ga Asia, emiwendo egyo gikyali waggulu ddala.
Abanoonyereza basemba nti amalwalro ne Gavumenti mu Afirika zisaana zitandikewo Embeera ekolerwamu emirimu ennungi, obukodyo bw’okukendeeza ku kutawaana mu birowoozo, n’okutendeka bannansi mu ngeri ebayamba okukendeeza ku kufuna obuzibu bw’omugongo.
Amharic translation of DOI: 10.1186/s12891-020-03341-y
Hausa translation of DOI: 10.1186/s12891-020-03341-y
Yoruba translation of DOI: 10.1186/s12891-020-03341-y
Northern Sotho(Sepedi) translation of DOI: 10.1186/s12891-020-03341-y