Description
Lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2020.05.28.121301
This is a Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.05.28.121301
Ekigendererwa:
Akatyabaga k’okufuna ebintu ebirwaza omutima mu bantu abalina obulwadde bwa RA keeyongedde nnyo olw’okulungula.
Engeri asidi akola puloteyini gy’akosaamu ekikula n’obusobozi bw’emisuwa okuzibikira mu puloteyini za fayibulini temanyiddwa.
Awo nno twageraageranya entambula y’omusaayi mu mubiri, okulungula, okukwata n’okukwata kwa asidi akola puloteyini za fayibulini mu bantu abalina obulwadde bwa RA nga balina ensonga z’ebyobulamu ezibafuga era ne twekaliriza enkolagana mu byo.
Obukodyo.
Ebirondobe by’omusaayi byakuŋŋaanyizibwa okuva mu bantu 30 abalina obulwadde bwa RA n’abasamaliya abalamu obulungi 25.
Emitendera gya SAA, CRP, ICAM-1 ne VCAM-1 gyapimibwa n’enkola ya sandwich immunoassay.
Okwekwata kw’omusaayi gwonna kwakeberebwa n’ekyuma ekiyitibwa Thromboelastography.
Emiyungo gy’okwekwata kwa puloteyini ya fayibulini n’ekikula kya fayibulini byanoonyerezebwa n’ekyuma ekizimbulukusa.
Okuzuula n’okupima enkyusa ya asidi mu kukwata kw’omu fayibulini byakolebwa ne puloteyini erwanyisa endwadde n’ekyuma ekizimbulukusa.
Ebyavaamu.
SAA, CRP ne ICAM-1 byalinnyisibwa nnyo mu bantu abalina obulwadde bw’ennyingo bw’ogeraageranya n’abo abatabulina.
Ebintu ebisangibwa mu nkola ya TEG ebikwata ku kwekwata kw’omusaayi (R and K), emirundi gy’enkolagana ya fayibulini (α-Angle), byakendezebwa (TMRTG) mu bantu abalina obulwadde bwa RA.
Ebintu ebikwata ku bugumu bw’omusaayi ogukutte (MA, MRTG, TGG) tebyayawukana mu bibalo wakati w’abantu abaliba obulwadde bwa RA n’abatabulina.
Enkola ey’ebibalo yayoleka enkolagana ey’amaanyi wakati w’obubonero obwoleka okulungula (CRP, SAA) n’ebintu ebiri mu nkola ya TEG okusinga obubonero bw’omusuwa gw’omu mutima.
Okwekaliriza kw’okukozesa ekyuma ekizimbulukusa kwayoleka emiyungo mingi mu fayibulini z’abantu abalina obulwadde bwa RA bw'ogeraageranya n'abagezeserezebwako [[[[median (interquartile range) 214 (170-285) ne 120 (100-144) nm mu kuddiringana okwo nm, p<0.0001, emigabanyo=22.7).
Okuzuula ebifo ebiwera ebirimu okukwata kwa fayibulini mu bantu abalina obulwadde bwa RA, okwali okutono ennyo mu bantu abatalina bulwadde bwa nnyingo (p<0.05, OR=2.2).
Okukubira.
Abantu abalina obulwadde bwa RA balina obubaka obwawukana n’ebizuuliddwa eby’awamu ebyekuusa ku mbeera z’okulungula.
Okukyuka kw’ebikula bya puloteyini kuyinza okubaako kye kukola mu kusalawo ekikula kya fayibulini n’obusobozi bw’okugeraageranya okweyongera kw’akatyabaga k’okuzibikira emisuwa mu bantu abalina obulwadde bw’ennyingo.
Summary title
Omusaayi okwekwata mu bantu abalina obulwadde bw’ennyingo y’emu ku nsonga eyongezza akatyabaga k’omutima okwesiba n’okusannyalala
Summary Body Text
Okunoonyereza okupya okukoleddwa ku bulwadde bw’ennyingo kwongedde okunnyonnyola enkolagana eyinza okuba wakati w’obulwadde buno n’okweyongera kw’akatyabaga k’okufuna obulwadde bw’omutima.
Obulwadde bw’ennyingo (RA) bulwadde obuluma ennyo, obwekuusa ku kulungula mu nnyingo ne mu mubiri gwonna.
Okumala ebbanga kaakano, bannassaayansi bakimanyi nti abalina obulwadde bw'omutima (CVD) balina akatyabaga ka bitundu 50% okufuna ebiva mu kubeera n’obulwadde bw’omutima – gamba ng’okusannyalala n’omutima okwesiba.
Ekintu ekikulu mu katyabaga ako y’engeri okulungula gye kukosaamu engeri omusaayi gye gukwatibwamu ng’omuntu afunye obuvune ku musuwa.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baanoonya enkolagana eno okuzuulira ddala lwaki obulwadde bwa RA bwongeza akatyabaga k’okufuna obulwadde bwa CVD.
Mu bufunze, abanoonyereza beekaliriza ebiva mu kulungula n’enkyukakyuka nnakikula ku puloteyini za fayibulini.
Puloteyini zino zeeyoleka ng’enjegere empanvu ezikola omuyungo gw’okukwata omusaayi ne kiba ng’enkyukakyuka ku puloteyini za fayibulini zennyini tezikosa butereevu enkwata y’omusaayi ey’awamu.
Abanoonyereza baageraageranya ebirondobe by’omusaayi gw’abantu abalina obulwadde bwa RA ku birondobe by’omusaayi gw’abantu abalamu.
Mu buli mbeera, abanoonyereza baali banoonya bubonero mu musaayi obwoleka okulungula n’enjawulo yonna mu nkwata y’omusaayi eyinza okulinnyisa akatyabaga k’okufuna obulwadde bwa CVD.
Omusaayi ogukutte nagwo gwennyini gwekalirizibwa n’ekyuma ekizimbulukusa okusobola okuzuula enkyukakyuka zonna ku kikula kya puloteyini zaazo eza fayibulini.
Abanoonyereza baalengera ng’omusaayi ogwafunibwa mu bantu abalina obulwadde bwa RA gwakwata mangu okusinga ku gw’abo abalamu era nga n’oluguwa olwali mu musaayi ogwo ogukutte nalwo lwali lukwafu okusinga ku fayibulini eza bulijjo.
Waaliwo n’enkyukakyuka mu asidi akola puloteyini za fayibulini, ekyaziviirako okuleetera omubiri okufuna enneeyisa endala ne kyongera okuleetawo okulungula okulala.
Abanoonyereza abalala baali bazuddeko ku nkyukakyuka mu kikula kya asidi akola puloteyini za fayibulini mu nnyingo z’abantu abalina obulwadde bw’ennyingo naye guno gwe mulundi ogusoose abanoonyereza okufuna ekivaamu mu musaayi nga kifaanagana.
Nga bigattiddwa n’enkyukakyuka endala ezaalabibwa mu musaayi ogukutte, ebyazuulibwa biyinza okuyamba bannassaayansi okwongera okutegeera enkolagana wakati w’obulwadde bwa RA n’obulwadde bwa CVD n’engeri y’okuzuula amangu obubonero bw’endwadde zino.
Wadde nga bino ebizuuliddwa ebisooka biwa essuubi, kisaanye okutegeera nti ebirondobe ebyakozesebwa mu kunoonyereza byali bitono.
Abanoonyereza era baagamba nti enkola gye baakozesa okuzuula enkyukakyuka mu asidi akola puloteyini eyinza okuba nga yafuna ebivaamu okuva mu bintu ebirala ebitakwatagana, ekitegeeza nti okukebera okulala okuluubirira puloteyini za fayibulini kujja kwetaagibwa okukakasa ebivuddemu mu biseera eby’omu maaso.
Ekiseera nga kiyiseewo, okutegeera enkolagana wakati w’obulwadde bwa RA n’akatyabaga k’okufuna obulwadde bwa CVD akeeyongedde kuyinza okutumbula ebivaamu eri abantu abalina obulwadde bwa RA nga bwe tuyiga okuzuula n’okujjanjaba endwadde zino mu ngeri esingako.
Abanoonyereza okuva e South Afrika, Denmark n’e Bungereza beenyigira mu kunoonyereza kuno, okwavujjirirwa ekitongole kya South African Medical Research Council.
This is Amharic translation of DOI: 10.1101/2020.05.28.121301
This is a Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.05.28.121301
This is Zulu translation of DOI: 10.1101/2020.05.28.121301
This is Northern Sotho translation of DOI: 10.1101/2020.05.28.121301
This is Hausa translation of DOI: 10.1101/2020.05.28.121301