Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Ebitumbula ekirungo kya Cetane n’enkalira z’enkola y’omwenge nga tukozesa dizero akoleddwa mu kwokya ebimera

This is Luganda translation of DOI: 10.20944/preprints201806.0106.v1

Published onJul 23, 2023
Ebitumbula ekirungo kya Cetane n’enkalira z’enkola y’omwenge nga tukozesa dizero akoleddwa mu kwokya ebimera
·

Ebitumbula ekirungo kya Cetane n’enkalira z’enkola y’omwenge nga tukozesa dizero akoleddwa mu kwokya ebimera

Abstract

Amafuta amalala ag’ebbeeyi eya wansi, amalungi eri obutonde era agatuukana n’amaanyi ageetaagibwa, obwetavu n’enkozesa yaago yeeyongedde ensangi zino.

Omwenge guvaamu amasannyalaze agatakaliza era nga gulimu omukka gwa oxygen oguwera.

Omwenge gusobola okukolebwa okuyita mu nkola ey’okuyiisa omwenge. Naye olw’omulimu guno, twagezaako okutabika butereevu dizero owa bulijjo, oil akolebwa mu pulasitiika n’omwenge oguteekeddwamu ekirungo ekyongeza omutindo gw’amafuta ekika kya CI-0808 ekyagulwa mu kampuni ya Innospec.

Ekigendererwa ekikulu eky’okugattamu ekirungo ekyongeza omutindo gwa dizero kwali kutumbula ngeri yingini gy’eyokyamu ebintabuli by’amafuta n’ebifo waakiri 1-3.

Emigabanyo gy’okutabula etaano gyalondebwa mu nsengeka eno, 50:25:25, 60:20:20, 70:15:15, 80:10:10 ne 90:5:5 mu ngobereragana ya oyiro akolebwa mu pulasitiika, omwenge ne dizero owa bulijjo.

Wabula, mu mugabanyo gw’amafuta amatabulemu ebirungo, omuwendo gwago ogw’awamu gwafiibwako era omugabanyo gwago ne guteekebwa ku katundu k’akatundu kamu ku buli kikumi (0.01%) ogw’omuwendo gw’amafuta amatabule ogw’awamu.

Mu mulimu guno, oil akolebwa mu pulasitiika, dizero omutabule n’ebirungo ebyongeza omutindo gw’amafuta byakozesebwa ng’amafuta amalala.

Kino kyagendererwamu okugezesa enkola n’enkalira zaabyo mu kufulumya ekikka mu yingini ya dizero eya ssirinda emu era ewozebwa n’amazzi eteekeddwa mu kifo ekimu okugezesebwako.

Ekirungo kya CI-0808 kyagattibwamu olw’amaanyi ge kiyinza okuba nago okukendeeza ku kufulumya CO, UHC, NOX, PM wamu n’enkola ya yingini ennungi.

Ebyazuulibwa byageraageranyizibwa n’omutindo gwa ASTM era ne binnyonnyolwa mu ggulaafu, ebifaananyi n’emiwendo.

Eky’enkomeredde kyali nti omwenge ne oil akolebwa mu pulasitiika bisobola okukozesebwa mu yingini za dizero nga tebikyusiddwamu ng’amafuta amalala agasobola okukozesebwamu.

Nga bikozeseddwa wamu n’ebirungo ebyongeza omutindo gwa dizero, ekika kikendeerera ddala era n’enkola yeeyongera okwenkanankana n’amafuta ga dizero owa bulijjo.

Summary title

Okutabika oyiro akolebwa mu pulasitiika n’amafuta agakolebwa mu butonde okukendeeza ku kikka ekiva mu dizero.

Abanoonyereza baasobola okukendeeza ku kikka ekiva mu dizero nga batabika amafuta n’ebirungo ebirala.

Ekintabuli ekirimu omwenge ne oyiro akolebwa mu pulasitiika kivaamu omukka ogulwaza kookolo mutono wadde nga kikola bulungi nga dizero owa bulijjo. Dizero owa bulijjo, mafuta agakolebwa mu oyiro asimibwa mu njazi (crude oil) asinga okuviirako ebikka by’omu bwengula.

Yingini za dizero zikola bulungi okusinga yingini za peetulooli naye zivaamu omukka mungi n’ebiragala ebirala eby’obulabe ebiviirako obulwadde eri abantu wamu n’okukosa ebintu ebyetoolodde.

Okunoonyereza kuno kwagenderera kunoonyereza engeri amafuta ag’ebika ebirala n’ebirungo ebiteekebwa mu mafuta gye bisobola okukozesebwa okukendeeza ku kikka kya dizero.

Okunoonyereza kwateesa okukozesa omwenge ogusobola okukolebwa mu butonde gamba ng’emiti ne butto omufumbiseeko wamu ne oyiro akolebwa mu pulasitiika asaanuusibwa.

Amafuta gano ag’ebika ebirala si malungi ku bwago kwenkana dizero era nga yingini ez’enjawulo zirina okukolebwa okugakozesa, naye okunoonyereza kuno kwaluubirira okugakozesa okukendeeza ku kikka ekiva mu dizero wamu n’okukozesa amafuta amatabike mu yingini za dizero eza bulijjo.

Abanoonyereza baatabika dizero owa bulijjo, omwenge ne oyiro akolebwa mu pulasitiika.

Baagattamu ekirungo ekiri ku katale ekyongeza omutindo gwa dizero ekikozesebwa okutumbula omutindo gwa dizero okusobozesa yingini okumwokya mu bungi n’okukendeeza ku kikka.

Abanoonyereza baakozesa yingini ya dizero eya ssirinda emu mu ggezeserezo mwe baagezesereza enkola ya yingini ng’eteereddwamu buli kika ky’amafuta.

Baagenda mu maaso era ne bagezesa enkola yaayo ng’eteereddwamu dizero owa bulijjo yekka.

Abanoonyereza baasobola okutabula omwenge, oil akolebwa mu pulasitiika ne dizero owa bulijjo mu ngeri eyakendeeza ku kikka ate nga tekendeezezza nkola yaayo.

Ekintabuli kya dizero kya bitundu kyenda ku kikumi (90%):

Ebitundu bitaano ku kikumi (5%) ebya oil akolebwa mu pulasitiika:

Ebitundu bitaano ku kikumu (5%) eby’omwenge bye byasinga okuvaamu omukka omutono ate ne bikola bulungi nga dizero owa bulijjo.

Era baazuula nti okukozesa amafuta amalala ne gatabulwa mu dizero owa bulijjo tekyongeza ku bbugumu lya mukka guva mu ekizoosi, ekitegeeza nti obulamu bwa yingini tebukosebwa.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?