Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Abanoonyereza banoonyereza ku bika bya Situleputokookasi olw’okufuna eddagala erigema erisingako obulungi

Luganda translation of DOI: 10.1128/mSphere.00429-20

Published onMay 23, 2023
Abanoonyereza banoonyereza ku bika bya Situleputokookasi olw’okufuna eddagala erigema erisingako obulungi
·

Okwekaliriza okunoonyereza n’ebibalo ku bulwadde bwa Strep A emm clusters mu Afirika olw’okuyamba mu kukola eddagala erigema

Ebyafaayo:

 Omuyungiro gw’ebibinja bya emm gwateesebwa ng'enseetuka ey'olugerero esobozesa n’okuyamba mu kunoonyereza okw’omu maaso okw’ekibinja A Situleputokookasi (Strep A), obulondondoozi bw’endwadde, omugaso gwa puloteyini ekika kya M n’obukodyo bw’okukulaakulanya eddagala erigema.

Tulaga ensaasaana y’ebibinja bya Strep A emm eyeesigamiziddwa ku kunoonyereza mu Afirika era ne twekenneenya obusobosi bw’obusaasaane bw’eddagala erigema erya 30-valent nga tusinziira ku njolekera y’ebibinja bya emm.

Obukodyo:

 Abeekalirizi babiri beekaliriza kinnoomu okunoonyereza okwafunibwa mu kuwenja ebyazuulibwa ebyekwana n’okunoonyereza kuno.

Okwekaliriza kw’ebibalo kwakolebwa (omutetenkanyirizo gw’okulabiraawo) okusobola okufuna ebibinja bya emm ebiteebereze ebiyinza okuziyizibwa.

Ebyavaamu:

 Okunoonyereza kwa mirundi munaana (ebyawule n=1,595) kwalaga ebibinja bya emma ebisinga okulabika nga biri E6 (18%, 95% confidence interval (CI), 12.6; 24.0%), nga biddirirwa E3 (14%, 95%CI, 11.2; 17.4%) %) ne E4 (13%, 95%CI, 9.5; 16.0%).

Waliwo enjawulo ntono nnyo ddala wakati w’ebibinja bya emm bw’oba ng’otunuulidde ebitunndu, emyaka, Embeera y’ebyenfuna mu ssemazinga ez’enjawulo.

Okutunuulira akakodyo k’eddagala erigema akeesigamiziddwa ku bibinja bya emm akafaayo ku kukuuma ebibinja byonna, eddagala lya 30-valent erigema erikulaakulanyizibwa mu kiseera kino lisobola okuteeberezebwa okukola ku byawule (isolates) 80.3% mu Afirika.

Okukubira:

 Okwekaliriza kw’okunoonyereza kuno kulaga nti ekibinja kya Strep emm ekisinga okulabika mu Afirika kiri E6 ne kiddirirwa E3, D4 ne D4.

Eddagala erigema erya 30-valent lisobola bika by’ebibinja bya emm mu bitundu bya Afirika ebisinga obungi.

Kaweefube ow’omu maaso eyo asobola okutunuulizibwa okuteebereza obusobozi bw’eddagala erigema eppya erya 30-valent kye lisobola okukola nga lyesigamiziddwa ku kunoonyereza okwakolebwa nga kulimu ebikiikirira ebyawule bya Strep A okuva mmu bulabe bw’obulwadde bwa Strip a obusinga.

Omugaso:

 Obuzibu bw’okukozesa eddagala erigema mu bitundu ebitono kizibu kinene mu byobulamu bw’abantu naddala mu mawanga agakyakula ebikuŋŋaanyizibwa ku ndwadde mwe biri ebitono ddala.

Okusobola okufuna ebiyamba okukulaakulanya eddagala erigema erya A (Stre A) Situleputokookasi, tulaga ebikwata ku Puloteyini ya emm eya M okuva mu bulwadde bwa Strep A mu Afirika, omuli endwadde ezeekwanya ku Strep A wamu n’ekiseera ky’obulwadde ekiwanvu omuli n’omusujja ogukosa n’omutima (rheumatic fever) n’obulwadde bw’omutima (rheumatic heart disease), kizibu kinene ddala.

Alipoota y’ebibinja bya emm eyasooka ku ssemazinga ono eraga nti kirabika eddagala erigema erigezesebwa mu kiseera kino lyesigamiziddwa ku puloteyini ya M era nga lyetaaga okwesigamizibwa ku bibinja bya emm.


Abanoonyereza banoonyereza ku bika bya Situleputokookasi olw’okufuna eddagala erigema erisingako obulungi

 Oluvannyuma lw’okwekaliriza okunoonyereza okuwerako okwa Situleputokookasi, abanoonyereza bazudde ebika by’obulwadde buno obusinga okulabika mu Afirika.

Ebinaazuulibwa bijja kutumbula okunoonyereza kuveemu eddagala erigema erisingako obulungi ku bika eby’enjawulo.

 Yinfekisoni ey’Ekibinja A ekya bakitiriya ya Situleputokookasi oba ‘GAS’ esobola okuleeta obulwadde obwamaanyi ddala, omwo nga mwe muli ne lubyamira, obulwadde bw’obuwuka obw’amaanyi, obuyinza n’okuvaako okufa.

Mu Afirika, abalwadde abayi ddala aba GAS bawerera ddala miliyoni 1.78 buli mwaka.

 Ebikula ebisukka mu 200 oba ‘ebika’ bya GAS bizuuliddwa, kale nno bannassaayansi bakoze enkola ey’okubinjawaza ebika nga basinziira ku njawulo mu puloteyini emu eyitibwa M.

Mu kukozesa enkola eno, baakola eddagala erigema nga baluubirira ebika eby’engeri emu ebiyitibwa ebibinja emm.

Eddagala erigema lyesigamiziddwa ku byakuŋŋaanyizibwa mu kunoonyereza mu mawanga agaakula edda, naye nga waliwo obubaka butono ddala ku ngeri gye liyinza okugasaamu mu Afirika.

 Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baageraageranya ebyakuŋŋaanyizibwa okuva mu kunoonyereza okulala okwa GAS mu mawanga ga Afirika okulaba ebibinja bya emm ebisinga okulabika ku ssemazinga ono.

Okusinga ennyo, baayagala okutegeera engeri eddagala erigema gye liyinza okukolamu mu kitundu ky’ensi kino.

 Abanoonyereza baatandikira ku kuwenja biwandiiko bya kunoonyereza ebikwata ku GAS mu Afirika, ate oluvannyuma ne baddira bye baazuula ne babisonza ku ebyo ebitunuulirira ddala ebibinja bya emm.

Kye baakola kyabaleetera okusigaza okunoonyereza kwa mirundi munaana nga kuli mu mawanga ataanu:

South Afirika, Mali, Kenya, Tanzania, ne Tunisia.

 Bwe beekaliriza okunoonyereza okwo mu bwesovvu obusingako, abanoonyereza baasobola okusonga ku bibinja bya emm ebisinga okulabika, n’ebika bya GAS kinnakimu ebyali bizuuliddwa.

Olwo ate ne bageraageranya obubaka obwo ku bika bya GAS ebimu ebiruubirira eddagala erigema eppya eryakakolebwa.

Baazuula ebibinja ebisinga okulabika ku ssemazinga bina naye tebaalabawo nnyo njawulo mu myaka oba mu byenfuna y’abantu abaali bakosebwa.

 Bwe baageraageranya ebika bya GAS ebiri mu Afirika n’ebyo ebigemebwa n’eddagala ly’okugema, baakizuula nti eddagala erigema lyalabika okubeera nga likola ku bika nga ebitundu 60%.

Abanoonyereza baategeeza nti, wadde nga kiri kityo, eddagala erigema liyinza okutaasa omuntu mu ngeri esingako eri ebibinja bya emm ebifaanagana.

Mu bikolebwa byennyini, kino kitegeza nti eddagala erigema lisobola okutaasa abantu ebika bya GAS ebitundu 80% ebisangibwa mu Afirika.

 Ebyazuulibwa biraga nti eddagala erigema GAS eppya lyandiba nga likola bulungi mu Afirika naye abanoonyereza bakirengera nti ebibinja bya emma ebisinga okulabika mu Afirika si bye bimu n’ebyo ebirabika mu bitundu by’ensi ebirala.

Mu biseera eby’omu maaso, okufaayo ku ebika ebitakiikiriddwa bulungi mu kukola eddagala erigema kiyinza okuleetera eddagala okukola obulungi mu bitundu by’omu Afirika.

 Abanoonyereza baakyogerako nti waliwo ebbula ly’obubaka obukwata ku GAS mu mawanga ag’enfuna entono n’ago agali yaddeyaddeko mu Afirika.

Awo nno ebizuuliddwa ebivudde mu bitundu bino kiyinza okuwa bannassaayansi ekifaananyi ekiramba obulungi ku kizibu kino.

 Mu ngeri y’emu, waliwo ebika bya GAS ebimu ebitali kitundu ku bibinja bya muyingoro gwa emm era ng’ensonga yandiba nti bikyali bika bipya.

Okunoonyereza okujja mu maaso kwatunuulira oba ng’ebika bino binaayamba mu kukulaakulanya eddagala erigema erisingako obulungi n’obujjanjabi bw’abalwadde obusingako mu Afirika.

 Okunoonyereza kuno kutulengeza ebitundu ebikulu ebikwata ku kunoonyereza okw’omu maaso mu kitundu kya Afirika era kwe kunoonyereza okusoose okukwata ku bibinja bya emm ebya GAS ku ssemazinga ono.

Okunoonyereza kuno kwakolebwa abanoonyereza abava mu South Afirika ne USA nga bakolaganira wamu.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?