Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Ebbula ly’amaanyi g’ekisajja mu balwadde ba Sukaali mu Afrika n’engeri gye kyekuusaamu ku buzito ne puloteyini ya sukaali

This is Luganda translation of DOI:10.1155/2020/5148370

Published onJul 24, 2023
Ebbula ly’amaanyi g’ekisajja mu balwadde ba Sukaali mu Afrika n’engeri gye kyekuusaamu ku buzito ne puloteyini ya sukaali
·

Ebbula ly’amaanyi g’ekisajja mu balwadde ba Sukaali mu Afrika n’engeri gye kyekuusaamu ku buzito ne puloteyini ya sukaali

Okwekaliriza ebizuuliddwa mu kunoonyereza okw’enjawulo okukoleddwa

Abstract

Ebyafaayo.

Okufa n’okufuna endwadde mu balwadde ba sukaali (DM) kuva ku buzibu obutuuka ku busuwa obutono n’emisuwa eminene mu mubiri.

Wabula, waliwo ekyukakyuka ya maanyi mu kunoonyereza okw’enkizo okukoleddwa ku bulwadde bwa sukaali mu Afrika nga kwekuusa ku butaba na maanyi ga kisajja.

Awo nno, okunoonyereza kuno kwagenderera okukola okuteebereza okw’awamu ku bantu abatalina maanyi ga kisajja abalina obulwadde bwa sukaali n’engeri gye kwekuusa ku buzito ne puloteyini ya sukaali mu Afrika.

Obukodyo.

PubMed, Web of Science, Cochrane Library, Scopus, PsycINFO, African Journals Online ne Google Scholar byakeberebwa okufuna okunoonyereza okwakolebwa ku butaba na maanyi ga kisajja mu balwadde ba sukaali.

Ekipande ekikebera ensobi n’enkola ya Egger ey’okukebera ensobi mu kunoonyereza byakozesebwa okuzuula ensobi eziri mu kunoonyereza.

Enkola ya I2 ey’ekibalo yakozesebwa okukebera enjawulo eyeeyoleka mu kunoonyereza.

Ennyinyonnyolero ya DerSimonian ne Laird yakozesebwa okuteebereza obugazi bw’ebizuuliddwa mu kunoonyereza okw’enjawulo okw’awamu.

Okusengejja obubaka obw’ebibinja n’ebizuuliddwa mu biwandiiko eby’enjawulo kwakolebwa okusinziira ku ggwanga, omuwendo gw’abeetabi n’omwaka ekiwandiiko mwe kyafulumizibwa.

Okwekaliriza ekireetezi kye kituusa ku kikosebwa kwakolebwa okulaba okunoonyereza okumu gye kukosaamu okuteebereza okw’awamu.

Enviisirizo y’ebibalo eya STATA ekika 14 yakozesebwa okusengejja ebizuuliddwa mu biwandiiko eby’enjawulo.

Ebyavaamu.

Okunoonyereza kwa mirundi 13 okwalimu abeetabi 3,501 kwakozesebwa mu kunoonyereza kuno.

Twateebereza nti obutaba na maanyi ga kisajja okw’awamu mu balwadde ba sukaali mu Afrika kwali ku bitundu nsanvu mu kimu n’obutundutundu ana mu butaano ku buli kikumi (71.45%) (95% CI: 60.22–82.69).

Abalwadde ba sukaali abaalina obuzito bwa obuwera naye nga tebusukka 30 kg/m2 oba okusingawo baalina omukisa gwa kitundu 1.26 okubulwa amaanyi g’ekisajja (AOR = 1.26; 95% CI: 0.73–2.16) ate abaalina ekipimo kya puloteyini ya sukaali (hemoglobin) eri wansi w’ebitundu 7% baalina emikisa 7% obutabulwa maanyi ga kisajja (AOR = 0.93; 95% CI: 0.5–5.9) wadde nga baali tebalina bukwatane bwa maanyi nnyo ku butaba na maanyi ga kisajja.

Okukubira.

Obutaba na maanyi ga kisajja mu balwadde ba sukaali mu Afrika bukyali waggulu.

Awo nno, enkola z’eggwanga ez’okwenyigiramu okwewala ekizibu ekyo zisaanye okuteekebwawo okukendeeza ku kubulwa amaanyi g’ekisajja mu balwadde ba sukaali.

Summary title

Ebitundu 70% eby’abasajja abalina obulwadde bwa sukaali mu Afrika bagamba nti tebalina maanyi ga kisajja

Obukadde bw’abantu abalwadde ba sukaali okwetooloola ensi yonna tebalina maanyi ga kisajja naye emiwendo gyabwe mu Afrika gibadde tegimanyiddwa n’okutuusa kaakano.

Kumpi abantu obukadde 425 baalwala sukaali okwetooloola ensi yonna mu mwaka gwa 2017 ate ng’omuwendo guno guteeberezebwa okweyongera okutuuka ku bukadde 629 omwaka gwa 2045 we gunaatuukira.

Ekimu ku buzibu obutafiiriddwako nnyo obuleetebwa sukaali bwe butaba na maanyi ga kisajja, ekiremesa omuntu okuyimuka obulungi ng’ali mu mukwano.

Obutaba na maanyi ga kisajja kuzuuliddwa mu basajja abalina obulwadde bwa sukaali abawerera ddala ebitundu ana mu mwenda ku buli kikumi (49%) mu ggwanga lya Bungereza, ebitundu asatu mu bitaano n’obutundutundu munaana ku buli kikumi (35.8%) mu Yitale, ebitundu nsanvu mu musanvu n’akatundutundu kamu ku buli kikumi (77.1%) mu South Africa n’ebitundu nkaaga mu musanvu n’obutundutundu mwenda ku buli kikumi (67.9%) mu ggwanga lya Ghana.

Naye obubaka obulala okuva mu Afrika bwawukana nnyo, awo nno abanoonyereza baageraageranya obubaka okulaba engeri obutaba na maanyi ga kisajja gye buli mu balwadde ba sukaali n’okuzuula gye kiyinza okuba nga kyekuusa ku kuba n’obuzito obususse wamu ne sukaali omungi.

Abanoonyereza baanoonya mu tterekero ly’ebiwandiiko erya PubMed, Web of Science, Cochrane Library, Scopus, PsycINFO, African Journals Online ne ku Google Scholar okufuna okunoonyereza okwakolebwa ku butaba na maanyi ga kisajja mu balwadde ba sukaali.

Baakozesa obukodyo bw’ebibalo obw’enjawulo okusengejja ebyazuulibwa mu kunoonyereza kwa mirundi 13 okwenyigiramu abeetabi 3,501 omugatte.

Beekaliriza ekivaamu ekireetezi kye kituusa ku kikosebwa okukakasa nti tewaaliwo kunoonyereza kwonna kwakosa kunoonyereza kulala, ekyandiyinzizza okufuula okuteebereza kw’obutaba na maanyi ga kisajja mu beetabi okuba nga kwekubidde ku ludda lumu.

Okunoonyereza kwazuula nti obutaba na maanyi ga kisajja kwali mu balwadde ba sukaali abasajja abawerera ddala ebitundu nsanvu mu kimu n’obutundutundu ana mu butaano ku buli kikumi (71.45%) mu Afrika.

Baazuula nti abalwadde ba sukaali abaalina obunene obwoleka omugejjo baalina omulundi gumu n’obutundutundu abiri mu mukaaga (1.26) okusinga ku balala okubulwa amaanyi g’ekisajja.

Mu ngeri y’emu era baazuula nti abalwadde ba sukaali ng’ekipimo kya sukaali ali mu mubiri gyabwe kirungi nga bwe kyolekebwa n’ebitundu musanvu ku buli kikumi (7%) mu kupima puloteyini ya sukaali ekiraga okufuga sukaali mu mubiri mu bbanga eggwanvu baalina emikisa gya bitundu musanvu ku buli kikumi (7%) obutabulwa maanyi ga kisajja.

Okunoonyereza kulimu obunafu obw’enjawulo obusaanye okufiibwako mu kunoonyereza okunaakolebwa mu biseera ebijja.

Okusooka, kizibu okukakasa oba ng’ebizuuliddwa mu mawanga ag’enjawulo bikiikirira olukalu lwonna kubanga tewaliiwo bubaka bwonna bwafunibwa nga buzingiramu Afrika yonna.

Ekyokubiri, okunoonyereza kwafa ku biwandiiko ebyawandiikibwa mu Lungereza byokka, ekitegeeza nti kuyinza okuba nga tekuliimu bubaka obw’omuwendo obwafulumizibwa mu nnimi endala.

Bino ebizuuliddwa biraga nti obutaba na maanyi ga kisajja mu balwadde ba sukaali mu Afrika bukyali waggulu.

Abanoonyereza bawa endowooza nti buli ggwanga lisaanye liteekewo ebirina okukolebwa okulwanyisa ekizibu ekyo okusinziira ku mbeera eriwo.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?