Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Enjigiriza kaabyuma egattiddwamu okwekaliriza ekitangaala okuzuula omusujja gw’ensiri

Luganda translation of DOI: 10.1186/s12936-019-2982-9

Published onJul 26, 2023
Enjigiriza kaabyuma egattiddwamu okwekaliriza ekitangaala okuzuula omusujja gw’ensiri
·

Okuzuula ebinyuunyunsi ebireeta omusujja gw’ensiri mu butonnyeze bw’omusaayi obukalidde ku lupapula okuyita mu kakodyo ka keekebejja kitangaala n’okukola okwekaliriza okw’ebibalo

Ebyafaayo

 Okunoonyereza ku musujja gw’ensiri ensangi zino kwesigama ku kakodyo k’okukozesa gaalubindi ezimbulukusa, okukebera endagabutonde (PCR) oba ebikozesebwa okukebera amangu ekinyuunyunsi kya Plasmodium (RDTs).

Okunoonyereza kuno kwanoonyereza ku kuba oba ng’akakodyo ka keekebejja kitangaala (MIR) nga kagattiddwako enjigiriza kaabyuma erondoolwa kayinza okuvaamu enkola endala ey’okukebera omusujja gw’ensiri mu bwangu okuva mu butonnyeze bw’omusaayi obukaze butereevu.

Obukodyo

 Obupapula obuliko obutonnyeze bw’omusaayi ogukaze (DBS) bwafunibwa mu kunoonyereza okulondoozi ku musujja gw’ensiri mu miruka 12 mu buvanjuba bw’obukiikaddyo bwa Tanzania mu 2018/19.

Obutonnyeze bw’omusayi ogukaze bwekalirizibwa nga bakozesa ekipimakitangaala ekimanyiddwa nga attenuated total reflection-Fourier Transform Infrared (ATR-FTIR) spectrometer okufuna ekifaananyi kya MIR ekirungi ekiri wakati wa 4000 cm−1 okutuuka ku 500 cm−1.

Amayengo gaalongoosebwa okusobola okuliyirira okukosebwa kw’amazzi agaafuuka omukka n’omukka gwa CO2 era ne gakozesebwa mu kuteeka amateeka g’ebibalo okusobola okwawula obupapula obuliko obutonnnyeze bw’omusaayi ogukaze (DBS) ogulimu omusujja gw’ensiri ku obwo obuliko obutonnyeze obutaliimu musujja gwa nsiri ng’ebyava mu kukebera endagabutonde (PCR) bye bijulizibwako.

Okwekaliriza kwafa ku bantu 296 ng muno mwalimu abantu 123 abaalina omusujja gw’ensiri n’abantu 173 abataagulina okusinziira ku byava mu kukebera endagabutonde.

Emitetenkanyizo gy’ebibalo gyayingizibwa mu tekinologiya nga bakozesa ebitundu 80% eby’ebiwe n’oluvannyuma ne balongoosa ogwo ogwali gusinga okutuukirako nga baddamu obutundu 80/20 obukozeseddwa mu kugezesa.

Emitetenkanyizo egyayigibwa gyakeberebwa nga bakozesa enkola ey’okuteebereza okubaamu kw’ekinyuunyunsi kya Plasmodium falciparum mu bitundu 20% eby’obutonnyeze bw’omusaayi ogukaze.

Ebyavaamu

 Omutetenkanyizo gw’emigabanyo gy’ebivuddemu gwe gwasinga okukola obulungi.

Wakati mu kukozesa ebyava mu kukebera endagabutonde (PCR) ng’ekijulizibwako, emitetenkanyizo gyayoleka obutuukane obw’awamu bwa bitundu 92% mu kuteebereza okukwatibwa kw’ekinyuunyunsi kya Plasmodium P. falciparum (specificity = 91.7%; sensitivity = 92.8%) n’ebitundu 85% mu kuteebereza okukwatibwa kwa Plasmodium P. falciparum ne Plasmodium ovale (specificity = 85%, sensitivity = 85%) mu bubaka obwakuŋŋaanyizibwa mu bantu ng’okunoonyereza kukolebwa.

Okukubira

 Ebyazuulibwa bino byoleka nti akakodyo ka keekebejja kitangaala nga kakozeseddwa n’enjigiriza kaabyuma erondoolwa (MIR-ML) kayinza okukozesebwa okukebera ebinyuunyunsi ebireeta omusujja gw’ensiri mu butonnyeze bw’omusaayi gw’omuntu ogukaze.

Enkola eyinza okuba n’obusobozi bw’okukebera ekinyuunyunsi kya Plasmodium mu bwangu ate ku mutindo ogwa waggulu mu bifo ebitajjanjabirwamu (gamba nga mu kunoonyereza) ne mu bifo ebijjanjabirwamu (okukebera okusobola okufuga okusoomooza okwo).

Wabula, ng’enkola tennakozesebwa, twetaaga wabeewo okukakasibwa okulala okukolebwa mu bifo ebirala ebirimu abantu ab’enjawulo abalina ekinyuunyunsi wamu n’okukebera ennyo ensibuko y’amayengo g’ekipimakitangaala.

Okulongoosa amateeka g’ebibalo n’okuyingiza emitetenkanyizo gy’ebibalo ku biwe ebiwera nakwo kusobola okutumbula obulambulukufu n’enneeyisa.

Enkola y’okwekebejja ekitangaala ya maanyi, ya layisi ate era yeetaaga ebintu bitono okugiddukanya n’okugibeezaawo.


Enjigiriza kaabyuma egattiddwamu okwekaliriza ekitangaala okuzuula omusujja gw’ensiri

 Abanoonyereza baayiiya akakodyo akapya ak’okukebera omusujja gw’ensiri akafunika amangu era akeesigika okusinga obukodyo n’okukebera okuliwo kaakano.

Enkola yaabwe yeesigama ku tekinologiya ayitibwa keekebejja kitangaala ng’agattiddwako enjigiriza kaabyuma.

Kya mugaso okulondoola omusujja gw’ensiri mu bantu ne mu nsiri kisobozese aboobuyinza okuteekateeka ebikozesebwa wamu n’okukwasaganya abantu abagulina.

Mu kiseera kino abanoonyereza beesigama ku gaalubindi ezizimbulukusa, okukebera endagabutonde oba okukebera okw’amangu okusobola okukebera omusujja gw’ensiri naye enkola zino zisobola okuba nga tezeesigika, zirina omulimu munene, zeetaagisa abantu abakugu bangi oba okuba nga za bbeeyi nnyo okussa mu nkola mu byalo.

Okunoonyereza kuno kwanoonyereza oba nga tekinologiya wa keekebejja kitangaala (MIR) ng’agattiddwako enjigiriza kaabyuma biyinza okuba enkola endala ey’okukebera omusujja gw’ensiri mu bwangu nga bakozesa obutonnyeze bw’omusaayi obukaze.

 Abanoonyereza baafuna obutonnyeze bw’omusaayi obukaze okuyita mu kunoonya abantu abalina omusujja gw’ensiri mu kitundu ekibukaddemu omusujja gw’ensiri mu Tanzania.

Beekaliriza obutonnyeze bw’omusaayi obukaze nga bakozesa ekipimakitangaala.

 Beekaliriza obutonnyeze bw’omusaayi obukaze obw’abantu 296, nga muno mwalimu abantu 123 abaalina omusujja gw’ensiri n’abantu 173 abataagulina.

Abanoonyereza baatendeka amateeka g’ebibalo ag’enjigiriza kaabyuma nga bakozesa ebitundu 80% eby’ebiwe by’okukebera omusujja gw’ensiri era ne beekebejja emitetenkanyizo egisinga egyandisaanidde okukozesebwa okuteebereza oba ng’omuntu alondeddwa alina ekinyuunyunsi kya Plasmodium falciparum.

Abanoonyereza baazuula omutetenkanyizo gw’ebibalo ogwali gutuukiridde ebitundu 92% mu kuteebereza okusiigibwa kwa Plasmodium falciparum ate era nga gutuukiridde ebitundu 85% mu kuteebereza okubeera n’ebeera n’ebinyuunyunsi bya mirundu ebiri: ekya Plasmodium falciparum ne Plasmodium ovale (nakyo ekirwaza omusujja gw’ensiri).

 Okunoonyereza okukoleddwa kulaze nti akakodyo ka keekebejja kitangaala kasobola okukozesebwa okuzuula ebinyuunyunsi ebireeta omusujja gw’ensiri.

Okunoonyereza kuno kwakakasa nti akakodyo ako nkola eyeesigika ey’okuzuula abantu abalina omusujja gw’ensiri n’abo abatagulina okuva mu butonnyeze bw’omusaayi obukaze.

Kino kya mugaso kubanga kitegeeza nti tewali bintu birala byetaagisa kwongerako oba okusooka okwekebejja ebirondobe.

Mu ngeri endala era kiwa obukakafu bw’omugaso gwa keekebejja kitangaala n’obukodyo bw’ebibalo obulala mu kulondoola endwadde ezireetebwa ensiri.

 Obumu ku bunafu bw’okunoonyereza kuno kwe kuba nti omuwendo gw’ebirondobe ebyakozesebwa gwali wansi, ne guba 296 omugatte.

Obulala kwe kuba nti abanoonyereza tebaalowooza ku ngeri ebintu ebirala gamba nga aneemiya, entondwa, emyaka n’ekiseera ky’okutereka gye biyinza okuba nga byakosa ku ky’okuba ng’omusaayi gwazuulwa nga gulimu omusujja gw’ensiri oba nga teguliimu.


Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?