Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1371/journal.pone.0234585
Luganda translation of DOI: 10.1371/journal.pone.0234585
Obulwadde obuletebwa akawuka ka corona akapya (COVID-19) butwaliddwa ng’ekintu ekikwata ku nsi yonna era nawookeera okuva lwe bwalangirirwa Ekitongole ky’Obulamu mu Nsi Yonna (World Health Organization, WHO) ng’obulwadde obubaluseewo.
Ekigendererwa ky’okunoonyereza kuno kwe kwetegereza engeri y’okwewalamu ebimanyiddwa n’ebikolebwa ku nawookeera wa COVID-19 mu batuuze b’e Ethiopia.
Okunoonyereza okw’okwetegereza ebikwata ku bantu ku mutimbagano kwakolebwa ku sampolo y’abatuuze b’omu Ethiopian okuyita ku mikutu emigattabantu egya mikwano gy’omuwandiisi ku mikutu egikozesebwa ennyo nga Facebook, Telegram, ne email.
Enkola ya snowball ey’okufuna sampolo yakozesebwa okufuna abeetabi.
Kino bwe kyakolebwa, twafuna okwanukula kw’abeetabi 341 okuva mu Gwokuna nga 15 okutuuka nga 22, 2020.
Ebyafunibwa byekenneenyezebwa nga bakozesa pulogulaamu ya STATA olufulumya 14 era emiwendo eginnyonnyola gyakozesebwa okufunza ebimanyiddwa n’ebikolebwa abantu b’omu kitundu ku nawookeera wa COVID-19.
Abeetabi abasinga obungi ebitundu 80.5% baali basajja.
Ebitundu nga 91.2% eby’abeetabi baali baawulira ku nawookeera wa COVID-19.
So nga ku beetabi 341 ebitundu 90.0%, 93.8% ku bo baali bamanyi nti ekirwadde kya COVID-19 kyali kyewalibwa okuyita mu kwewa amabanga n’okunaaba mu ngalo emirundi emingi, mu busengeke obwo.
Kino kiraga nti okumanya kw’abeetabi okw’okwewala COVID-19 okuyita mu kwewa amabanga n’okunaaba mu ngalo kwali waggulu.
Wabula, ku beetabi 341 ebitundu 61%, 84% bokka be beewanga amabanga n’okunaaba mu ngalo emirundi emingi olw’okwewala COVID-19, mu busengeke obwo.
Abeetabi abasinga obungi baali bamanyi engeri z’okwekuumamu akawuka akapya aka coronavirus (COVID-19), naye waaliwo ekizibu eky’amaanyi eky’okussa okumanya kuno mu bikolwa.
Kino kiraga nti waliwo omuwaatwa gw’ebikolwa wakati w’okumanya engeri y’okwekuumamu COVID-19 n’okubissa mu nkola okusobola okwaŋŋanga okusaasaana kwa COVID-19 mu bantu.
Noolwekyo, ekitongole ekikwatibwako kirina okussa essira ku kumanyisa n’okusomesa abantu ebikwata ku kussa ebyo bye bamanyi mu bikolwa.
Ogwa 2021 we gwatuukira, Banna-Ethiopia abasinga obungi baali bamanyi engeri y’okwewalamu Covid-19, naye bangi baali tebassa bye bamanyi mu bikolwa
Mu 2021, abanoonyereza baalaga nti Banna-Ethiopia abasinga obungi baali bamanyi nti okwewa amabanga n’okunaaba ennyo mu ngalo byali bisobola okuyamba mu kwewala okusaasaana kwa SARS-CoV-2, akawuka akaaleeta ekirwadde kya Covid-19 mu nsi yonna.
Naye abanoonyereza baagamba nti bangi baali tebateeka bintu bino mu nkola, noolwekyo baateesa nti abakulembeze bakole ekisingawo okukubiriza abantu okubissa mu nkola.
Covid-19 bulwadde bwa mussizo obw’omutawaana nga bwasaasaana ku misinde mingi okwetooloola ensi era ne bukosa nnyo ebyobujjanjabi n’ebyenfuna by’amawanga agakyakula nga Ethiopia.
Gavumenti yaweereza abatuuze obubaka, ng’ekimu ku mbeera ey’akatyabaga, okuyamba mu kwewala okusaasaana kw’akawuka nga bayita mu kunaaba engero buli kiseera n’okwewa amabanga.
Okunoonyereza kuno kwalondoola abatuuze b’omu Ethiopia okuzuula okumanya kwabwe okw’amakubo gano ag’okwewala obulwadde n’okulaba oba nga baali bassa okumanya kuno mu bikolwa
Abanoonyereza bassaawo ebibuuzo by’oku mutimbagano ne babigabanira ku mikutu emigattabantu.
Baabuuza abantu ebibuuzo ku bibakwatako, oba nga baali bawulidde ku kirwadde kya Covid-19 n’engeri y’okukyewalamu, n’okuba nga ddala banaaba mu ngalo n’okwewa amabanga.
Abantu 341 be bajjuza ebibuuzo by’oku mutimbagano, nga ku bano ebitundu ebisukkako katono ku 80% baali basajja.
Abanoonyereza baagamba nti abeetabi abasinga obungi abaali bava mu bitundu by’ebibuga era nga basomye nnyo, baali bamanyi eby’okukola ng’okwewa amabanga, okwewala okwekwata mu maaso n’okwenywegera, byali bisobola okubayamba okwewala okufuna akawuka.
Okutwaliza awamu, ebitundu ebisoba mu 90% eby’abantu abaanoonyerezebwako baali bamanyi engeri y’okuyamba okwewala okusaasaana kwa Covid-19, naye ebitundu 61% bokka be baagamba nti bassa mu nkola eky’okwewa amabanga, ate ebitundu 84% baagamba nti baali banaaba mu ngalo emirundi egiwera.
Okusinziira ku kunoonyereza kuno, Ethiopia yeegatta ku mawanga mangi amalala agaatunuulira engeri abantu baago gye baalimu ku by’okwewala Covid-19.
Naye abanoonyereza baagamba nti tebaasobola kufuna kunoonyereza kulala kungi okwatunuulira engeri okumanya kuno gye kwassibwa mu bikolwa.
Mu butuufu, baagamba nti omulimu gwabwe gulaga nti okumanya tekutegeeza kukyusa mu nneeyisa.
Abanoonyereza balabula nti bye baazuula biyinza okuba nga tebikiikirira bantu bonna olw’okuba ng’ebibuuzo byayanukulwa bantu bokka abalina yintaneeti era nga bakozesa emikutu emigattabantu.
Ekirala, bagamba nti abakulembeze balina okusukka ku kutegeeza obutegeeza abantu ku kwewala Covid-19, ne bafuna engeri y’okwagazisaamu abantu okussa okumanya kwabwe mu bikolwa.
Abanoonyereza bonna abaakola okunoonyereza kuno baali bava mu yunivaasite z’omu Ethiopia, era n’abeetabamu baali batuuze b’omu Ethiopia.
Amharic translation of DOI: 10.1371/journal.pone.0234585
Hausa translation of DOI: 10.1371/journal.pone.0234585
Northern Sotho translation of DOI: 10.1371/journal.pone.0234585
Yoruba translation of DOI: 10.1371/journal.pone.0234585
Zulu translation of DOI: 10.1371/journal.pone.0234585