Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Olulyo olugwira lukosa endyo z’ebimera n’ebisolo mu South Afirika.

Luganda translation of DOI: 10.1007/978-3-030-32394-3_17

Published onMay 19, 2023
Olulyo olugwira lukosa endyo z’ebimera n’ebisolo mu South Afirika.
·

Okwekaliriza okukosa okuva mu Lulyo olugwira ku ndyo z’ebimera n’ebisolo mu South Afirika mu kukozesa Obukodyo bw’Okwekenneenya obw’enjawulo

 Okunoonyereza ku kukosa kw’endyo engwirwa ku buttoned bw’ensi kweyongera okukolebwa era kati waliwo okuwaanyisiganya ebirowoozo ku ngeri y’okuteekawo omutindo ogwawamu ku kukosa kuno.

Essuula eno yeekaliriza Embeera y’amagezi ku kukosa kw’endyo engwira ku bisolo n’ebirime by’omu South Afirika okusinziira ku bukodyo bw’okwekaliriza obw’enjawulo.

Wadde nga South Afirika y’emu ku nsi ezisingamu endyo z’ebimera n’ebisolo mu nsi yonna, waliwo okunoonyereza kutono ddala okuwandiise ku kukosebwa kw’endyo engwira ku ndyo z’ebimera n’ebisolo.

Ebisinga okumanyibwa bisinziira ku birowoozo by’abakugu, era bwe kityo eddaala ly’obwesige bw’ebiteeberezebwa ku bunene bw’okukosebwa butono.

Wabula, tekiriiko kubuusabuusa nti omuwendo gw’endyo engwira oguwera guleetawo okukosebwa era bwe kityo waliwo ensonga ereetawo obweraliikiruvu obw’amaanyi.

Waliwo kaweefube mu nsi yonna okwekaliriza endyo engwira zonna n’enseetuka ezituukanyiziddwa mu mutindo okuggyawo ekizibu ky’okugeraageranya okukosebwa okupimibwa n’enkola ez’enjawulo.

Okwekaliriza okutongole kukoleddwa ku ndyo engwira entonotono mu South Afirika, naye endyo eziyiikiriza ezisinga obungi tezinnaba kwekenneenyezebwa, era tuteebereza nti endyo ezisinga engwira tezinnakolebwako wadde okumanya okukosa okuziriko.

Wabula, emitendera gy’enkalala emmyufu gyalaga nti endyo engwira gyatunuulirwanga ng’obulabe obwamaanyi obw’okusaanawo eri endyo nnansangwa ez’ebyennyanja, ebisolo ebiringa abantu n’ebimera.

Waliwo okunoonyereza kutono ddala okugatta okukosebwa okubaawo omulundi ogumu okw’endyo engwira mu bitundu ebimu, era okunoonyereza okwo kuyinza okutuwa ensonga eziteekesaawo amateeka n’enfuga ebitatera kubaawo.

Wadde ng’okukendeera ku ndyo engwira mu muwendo gw’obuweereza bw’obutondebwensi, ebibala ebiva mu bifo ebiriisibwamu ensolo, n’obutataaganyizibwa bw’endyo z’ebisolo n’ebimera kuli wansiko mu kiseera kino. Kisuubirwa nti okukosebwa kuno kujja kweyongerera ku mbiro nneneko eno ng’endyo eziyiikiriza bwe zeeyongerera ku miwendo eminene ddala.


Olulyo olugwira lukosa endyo z’ebimera n’ebisolo mu South Afirika.

Abanoonyereza baageraageranya okunoonyereza okuliwo okulengera endyo engwira ezisinga okukosa endyo z’ebimera n’ebisolo.

 South Afirika y’emu ku nsi ezisingamu endyo z’ebimera n’ebisolo mu nsi yonna.

Endyo engwira nga 107 nga ku zino ebitundu 75% bimera biteeberezebwa okukosa ennyo endyo z’ebimera n’ebisolo eby’omu ggwanga lino.

Okukosebwa kuno okuteeberezebwa ku ndyo tekumanyiddwa bulungi olw’ebbula ly’okunoonyereza okulimu okukkaanya ku kukosebwa okwo kwennyini.

 Endyo engwira zisobola okukendeeza ku ndyo nnansangwa mu ngeri ez’enjawulo eziwerako.

Engeri emu emanyiddwa nga okuwakisa n'olulyo olulala, endagabutonde mwe zeetabulira n’endyo nnansangwa.

Endyo engwira era zisobola okuyigganya endyo nnansangwa ne zizisaanyaawo.

Endyo engwira era zisobola okuleeta endwadde empya ne zikosa obutonde bw’ensi, gamba ng’emiti eginywa ennyo amazzi g’omu ttaka.

Okunoonyereza kuno kwakuŋŋaanya obubaka bwonna obuliwo ku kukosebwa okuva ku ndyo engwira ku ndyo z’ebimera n’ebisolo mu South Afirika.

 Abanoonyereza baatunuulira engeri endyo ez’engeri emu engwira gye zikyusizzaamu obutonde bw’ensi n’okulaba endyo nnansangwa ezikosebwa.

Beekaliriza okunoonyereza okwalimu ebibalo by’okukosebwa, era ne boogerako n'abakugu okufuna ebirowozo byabwe.

Era baatunuulira endyo nnansangwa eziri mu bulabe bw’okusaanawo era ne bakozesa “enkalala-emmyufu” ezo okulaba oba ng’endyo engwira ddala zirina omulimu mu kusaanawo okwo.

Okunoonyereza kuno kwazuula nti endyo z’amakovu (gastropods), ebyennyanja, ensolo ez’omu lulyo lw’abantu, n’ebimera byalabibwa nga bikosebwa ng’endyo nnansangwa.

 Okugeza, ekkovu erimanyiddwa nga Tarebia granifera, limu ku makovu ag’ebika ebina agayiikiriza.

Lirumbye emigga egiwerako, ennyanja n’entobazi mu buvanjuba ne mu bukiikakkono bw’eggwanga mu bitundu ebyo lyefuze amakovu gannansangwa.

 Ate ekyennyanja ekiyitibwa Largemouth Bass kimu ku ebyo eby’endyo nnansangwa ebitaanu ebiyiikiriza mu South Afirika era nga okukosa kwe kikoze kumanyiddwa.

Kiyiikirizza ebyennyanja binnansangwa kumpi kubimalawo bumazi mu bitundu ebyamazzi mu South Afirika.

Ku bisolo ebiringa abantu, okunoonyereza kuno kwalaga nti Emmese Enzirugavu (Rattus rattus) y’emu ku ezo endyo engwira ennyingi ezimazeewo ebinyonyi ebimu, ebiwuka, obuwundo n’ebisolo ebirala nga zibiyigga, zirya emmere yaazo oba okusaasaanya obulwadde.

Wadde ng’okukosa kw’endyo zino engwira ku bimera n’ebisolo by’omu South Afirika kukyali wansiko, abanoonyereza bateebereza nti okukosa kwabyo kujja kweyongera okuba obubi ennyo singa South Afirika tebikomako.

Okunoonyereza kuno ye kaweefube asoose okwekkaanya engeri okukosebwa kw’endyo engwira ku bimera n’ebisolo nnansangwa eby’omu South Afirika gye kuyinza okupimibwa.

 Weewaawo ng’okunoonyereza kwekaliriza okukosebwa okukoleddwa endyo eziyiikiriza mu South Afirika, tekwasobola kubalirira kukosebwa kujjawo nga waliwo endyo engwira ezisukka ku lumu mu kitundu.

Awatali kunoonyereza kwa ngeri eno, Gavumenti n’ebitongole ebirala ebirondoozi tebiba na bubaka buyamba kukuuma bimera na bisolo.

Mu kiseera abanoonyereza baasemba nti mu South Afirika balina kwemalira ku ndyo engwira ezimenyeddwa mu lupapula luno olw’okukendeeza okukosebwa kw’ebirime n’ebisolo by’omu South Afirika.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?