Description
Lay summary of the research article published under the DOI: 10.1007/978-3-319-93438-9_9
This is a Luganda translation of DOI: https://doi.org/10.1007/978-3-319-93438-9_9
Ebitundu bya Lesotho ebisinga bijjudde obusozi n’ensozi ez’agayinjayinja era nga n’abantu ababeerayo batono ddala, nga kino kibifuula bya bbeeyi okubeeramu era ne kiremesa n’okutwala mu bifo bino amasannyalaze agakozesebwa mu ggwanga.
Obutabaamu masannyalaze mu bitundu bino kiziŋŋamizza eby’enkulaakulana mu mbeera z’abantu n’ebyenfuna olw’obutaba na masannyalaze gamala ageetaagibwa ennyo mu maka, amasomero, ebitebe bya poliisi, amalwaliro ne bizinesi z’omu bitundu.
Olupapula luno luteesa wabeewo enkola y’amasannyalaze agatakaliza ag’ekintabuli mu kimu ku bitundu eby’engeri eno eky’e Semonkong, mu disitulikiti y’e Maseru, Lesotho.
Okunoonyereza kuno kukoppa, kubala era ne kutebenkeza enkola y’amasannyalaze ag’ekintabuli okuyita mu kukozesa amasannyalaze agakozesebwa mu kabuga k’e Semonkong n’obubaka obuliwo obukwata ku bivaamu amasannyalaze agatakaliza ag’amaanyi g’enjuba, emisinde gy’empewo n’emisinde gy’amazzi okuva mu Mugga Maletsunyane oguliraanyeewo.
Pulogulaamu ya HOMER ekozesebwa okutetenkanya enkola ennuŋŋamu okusinziira ku bisale by’okukola amasannyalaze ebisinga obutono n’amasannyalaze agatakaliza agasinga obungi, okusinziira ku bintu eby’enjawulo ebikolwamu amasannyalaze agatakaliza ag’enjuba, empewo, amazzi, genereeta za dizero ne bbaatule.
Okwekenneenya kukolebwa ku bikwata ku maanyi g’enjuba, emisinde gy’empewo, okukulukuta kw’amazzi, ebisale bya dizero n’obwetaavu bw’amasannyalaze okusobola okusalawo obusobosi bw’enkola ey’amasannyalaze agatakaliza gokka ageetaagibwa mu kitundu kino ekyesudde ennyo.
Ebiva mu bibalo by’ekintabuli ky’amasannyalaze g’amazzi/empewo/enjuba/dizero/bbaatule bivaamu ebisale by’okukola amasannyalaze bya US$0.289/kW ku bitundu by’amasannyalaze agatakaliza 0.98.
Noolwekyo, genereeta ya dizero ejja kusigalanga nga yeetaagisa okwongera ku masannyalaze ga Semonkong naddala mu myezi gy’ekyeya n’obunnyogovu Ogwokutaano okutuuka ku Gwomwenda obwetaavu bw’amasannyalaze we bubeerera ku ntikko so ng’omusana n’amazzi g’emigga bitono nnyo.
Abanoonyereza bagamba nti ekitundu kya Lesotho eky’e Semonkong ekyesudde kisobola okukendeeza ku nsimbi z’okusaasaanya amasannyalaze ebitundu 40% nga kitumbula amasannyalaze agatakaliza mu kitundu okuva ku bitundu 66% okutuuka ku 98%, nga bakozesa amasannyalaze g’empewo, amazzi, bbaatule n’amasannyalaze g’enjuba. Ebitundu ebisigadde 2% bye baba bajja okukozesaamu genereeta za dizero.
Akabugo akatono ak’e Semonkong, mu disitulikiti y’e Maseru, kasangibwa mu nsozi ennyingi ez’omu Lesotho, ekifuula okutwalayo amasannyalaze eky’ebbeeyi.
Olw’ensonga eyo, Semonkong mu kiseera kino ekozesa amasannyalaze g’amazzi agaggyibwa mu Mugga gwa Maletsunyane okubawa amasannyalaze ebitundu 66%.
Ebitundu ebirala 34 biva mu genereeta za dizero.
Okunoonyereza kuno kwagenderera okukozesa pulogulaamu ya HOMER (Hybrid Optimization Model for Electric Renewable software) okubala amasannyalaze agasobola okuggyibwa mu kukozesa ebikola amasannyalaze agatakaliza ebiri mu kitundu kino ku ssente ezisinga okuba entono.
Abanoonyereza baakozesa pulogulaamu ya HOMER okukoppa amasannyalaze agakozesebwa mu Semonkong mu kompyuta nga bakebera ebiva mu kugattako ebipimo eby’enjawulo eby’amasannyalaze agatakaliza okugeza amasannyalaze g’enjuba, empewo, amazzi, ne bbaatule.
Abanoonyereza baabala Ebisale by’Okukola Amasannyalaze (Levelised Cost of Energy, LCOE) ebya buli kika kya masannyalaze okuzuula ssente mmeka ezandisaasaanyizibbwa mu kussaawo ebikola ekika ky’amasannyalaze ago.
Abanoonyereza bakizuula nti ekika ky’amasannyalaze ekisinga obutaba kya buseere ku Semankong ge masannyalaze agatakaliza ag’enjawulo omuli ag’empewo, amazzi, ne bbaatule.
Amasannyalaze gano amagatte gaba gajja kubeera masannyalaze agatakaliza ebitundu 94%, ng’ebitundu ebisigadde 6% bye bya genereeta za dizero.
Enkola esingamu amasannyalaze agatakaliza amangi ku bitundu 98% egattako amasannyalaze g’enjuba ku masannyalaze amagatte agasinga obutaba ga buseere waggulu, n’ereka ebitundu 2% byokka okubeera ebya genereeta za dizero.
Singa ebibalo bino ebya pulogulaamu ya kompyuta eya HOMER biba biteereddwa mu nkola, kiba kijja kutumbula okugatta ekika ky’amasannyalaze agatakaliza agakozesebwa mu kiseera kino ag’amazzi agava mu Mugga Maletsunyane, agakola ebitundu 66%, ne genereeta za dizero ezikola ebitundu 34%.
Okunoonyereza kulaga nti enkola ey’ebitundu 98% eby’amasannyalaze agatakaliza eba ejja kukendeeza ku nsaasaanya ebitundu 40%.
Okunoonyereza kwakozesa obubaka obukwata ku Semonkong yokka, ekitegeeza nti ebivaamu bituukira ku Semonkong.
Wabula, okunoonyereza kuno kulaga nti ebikozesebwa eby’obutonde ng’empewo, emigga, n’ebitundu awali omusana omungi bisobola okukozesebwa okwongereza ku bika by’amasannyalaze ebiri mu bitundu n’eggwanga ku nsimbi entonoko.
This is Amharic translation of DOI: https://doi.org/10.1007/978-3-319-93438-9_9
Yoruba Translation of DOI: 10.1007/978-3-319-93438-9_9
This is Zulu translation of DOI: https://doi.org/10.1007/978-3-319-93438-9_9