Description
This is a lay summary of the research article published under the DOI: 10.1101/2020.06.04.20119594
Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20119594
Okuteebereza omuwendo gw’abajjanjabi (HCWs) abalwadde ba COVID-19 n’abafa mu nsi yonna.
Obugazi bw’ebyekalirizibwa.
Okuwenja ebiwandiiko by’okunoonyereza okwakolebwa kwa mirundi ebiri mu materekero n’ebiwandiiko ebitali bya kiyivu kwakolebwa.
Gavumenti nazo zaatuukirirwa okubaako obubaka bwe ziwa buli we kyali kisobokera.
Olw’okuba nti okwekaliriza kuno kwali kukolerwa ku budde ate n’obwetaavu bw’okuwa alipoota ku bubaka obusinga okuva obuvannyuma mu mbeera ekyuka ng’obudde, tewaali kukugirwa ku lulimi, obuvo obubaka we buvudde, oba ekiwandiiko kyafulumizibwa oba nedda, wamu n'ebika by’obuvo bw’obujulizi.
Olukalala lwa AACODS okukebererwako lwe lwakozesebwa okwekenneenya buli buvo bwa bulijulizi.
Enfaanana y’ebiwandiiko ebyafulumizibwa, ebyazuulibwa n’ebitundu gye biri mu nsi ezeegerwako, ebikwata ku COVID-19, ebikwata ku HCW abaakosebwa, wamu n’ebyakolebwa okutaasa obulamu bw’abantu
Abalwadde 152,888 n’abaafa 1413 be baategeezebwa.
Okulwala kwasinga kulabikira mu bakyala (71.6%) ne bannansi (38.6%), naye abasajja be baasinga okufa (70.8%) n’abasawo (51.4%).
Ebyazuulibwa ebitono byalaga nti abajjanjabi abakola ku ndwadde ezabulijjo ne bannansi abakola ku ndwadde z’emitwe be baali bakugu abaasinga okubeera mu bulabe bw’okufa.
Waaliwo abaafa 37.17 ku buli balwadde 100 abasussa emyaka gy’obukulu 70.
Bulaaya ye yalina emiwendo egisinga okuba waggulu egy’abalwadde abaaloopebwanga (119628) n’abaafa (712), naye ekitundu kya Eastern Mediterranean kye kyasinga okubeeramu abaafa abaamanyika era nga ku buli 100 baali (5.7).
Abaakosebwa HCW COVID-19 n’okufa kw’abajjanjabi kufaanagana n’okwo okw’abantu babulijjo mu nsi.
Ensonga ezaaleetawo enjawulo mu kukosebwa mu kikula ky’abantu wamu n’enjawulo mu bukugu bwabwe byetaaga kwongera kwetegerezebwa, era nga bwe kiri ne ku miwendo gy’abalwadde abatono abaazuulibwa mu Afirika ne mu India.
Wadde ng’abasawo abakolera mu bukugu obw’enjawulo bayinza okubalibwa ng’abali mu bulabe obw’amaanyi olw’olunyiranyira oluva mu nnyindo, obulabe obutuuka ku bakugu abalala tebuteekwa kunyoomebwa.
HCW abakulu mu myaka basaana ne batekwaba mu mbeera ezitaliimu nnyo bulabe gamba ng’okukolera ku masimu nga bagaba eddagala, oba mu bifo by’obukulembeze.
Enjolekera yaffe ey’ensonga etututuusa ku nseetuka eyawamu, era eyoleka obwetaavu bw’ebigobererwa mu nsi yonna obw’okukebera obulwadde wamu n’okubuloopa nga bwe buba buli mu HCW.
Abajjanjabi, n’abakola ku byobulamu abalala be basinga okukosebwa COVID-19.
Mu kaseera ka nawookeera COVID-19 abajjanjabi mu nsi yonna bawaayo obulamu bwabwe mu bulabe bo bataase abalala.
Kuno kwe kunooneyreza okusookedde ddala okwekaliriza abakugu b’obujjanjabi gye bayisiddwamu obubi nawookeera wamu n’okulaba abakugu abasinze okubeera mu bulabe bw’obulwadde n’okufa.
Okuva mu lubatu lw’abalwadde abaalina obubonero bwa lubyamira obugambibwa okusibukira mu Wuhan, Chaina mu Deesemba wa 2019, obulwadde bwa kovidi (COVID-19) buzze bufuuka okutuusa lwe bwabuutikira ensi yonna.
Mu kiseera nga kino mu Gwokutaanu 2020, abantu abasukka mu bukadde butaanu baali bakwatiddwa obulwadde obwo ate ng’abasukka mu 300,000 baali bafudde.
Abantu ababeerera ddala ku mwanjo gw’akazigizigi be bajjanjabi (HCWs) abakebera era ne bajjanjaba abalwadde abeeyongera okubeera abayi ate nga bayitirivu, era ng’oluusi balina okukola okusalawo okutali kwangu wakati mu kusoberwa n’okweraliikirira.
Kino kireetedde HCW okubeera mu buzibu bw’okufuna okukosebwa n’okufa, naye emiwendo gyennyini egy’abo abakosebwa tegimanyiddwa.
Kale nno okunoonyereza kuno kwateebereza omuwendo gw’abalwadde ba COVID-19 n’omuwendo gwa HCW abafa.
Abanoonyereza baawenja ebyazuulibwa mu biwandiiko by'ekiyivu wamu n'obuvo obulala (ebimanyiddwa nga ebiwandiiko ebitali byakiyivu), omuli ebyazuulibwa ebya Gavumenti okuva mu nsi yonna, emikutu gy’amawulire egy’oku mutimbagano, wamu n’ebiwandiiko ku mukutu gwa medRxiv.
Okunoonyereza kwazuula nti HCW 152 888 baafuna COVID-19 ate 1413 ne bafa olw’obulwadde obwo.
Okulwala kwasinga kulabikira mu bakyala (71.6%) ne bannansi (38.6%), naye abasajja be baasinga okufa (70.8%) n’abasawo (51.4%).
Bwe tutunuulira ebyazuulibwa ebiriwo, okunoonyereza kwazuula nti GP abakola ku bujjanjabi obwabulijjo be baali basinga okubeera mu bulabe bw’okufa ate obulabe bw’okufa obusinga mu bannansi bwali mu kisaawe ky’abalwadde b’emitwe.
Okusinziira ku ebyo abanoonyereza bye bamanyi, kuno kwe kunoonyereza okusaale okwekaliriza obulwadde bwa COVID-19 wamu n’okufa mu bajjanjabi mu nsi yonna.
Wabula, omulimu gw’abanoonyereza gukugirwa ebyazuulibwa ebitono ebiriwo era ng’ebyo byalimu obuvo bw’ebyazuulibwa obw’enjawulo obwazibuwaza okubigeraageranya.
Ekirala, amawanga ag’enjawulo gaali ku mitendera gya njawulo egya nnawookeera we gaakuŋŋaanyiriza ebyazuulibwa.
Obulwadde bwa COVID-19 wamu n’okufa mu bajjanjabi bigoberera ebyo eby’abantu bonna mu nsi.
Ensonga ezaaleetawo enjawulo mu kukosebwa mu kikula ky’abantu wamu n’enjawulo mu bukugu bwabwe byetaaga kwongera kwetegerezebwa, era nga bwe kiri ne ku miwendo gy’abalwadde abatono abaazuulibwa mu Afirika ne mu India.
Amharic translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20119594
Hausa translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20119594
Northern Sotho translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20119594