Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Bannassaayansi bazuula endagabutonde ezibeera mu nte z’e Sudan ezizireetera okugumira endwadde

Luganda translation of DOI: 10.1038/s41598-021-96330-7

Published onJul 16, 2023
Bannassaayansi bazuula endagabutonde ezibeera mu nte z’e Sudan ezizireetera okugumira endwadde
·

Ebika by’endagabutonde bya BoLA-DRB3 byeyolekeramu enjawulo mu nte z’e Sudan mu olulyo lw’ente olwa taurine ne indicine

 Endyo z’ente nnansangwa ez’omu Sudan, gamba Baggara ez’ennyama ne Butana ne Kenana ez’amata, zimanyiddwa ng’ezigumira ennyo ebbugumu n’ekyeya mu bitundu gye zibeera.

Kale nno, zisinga kukozesebwa balunzi abatambulatambula wamu n’abalaalo.

Twekaliriza enjawulo eziri mu buzimbe bw’endagabutonde ya BoLA-DRB3, ekifo ky’endagabutonde ekikwanyizibwa n’omuyungo gw’obusibage mu nte nnansangwa ez’omu Sudan wamu n’ente endala zonna mu nsi okutwaliza awamu.

Sampolo z’omusaayi (n = 225) zagyibwa ku ndyo z’ente nnansangwa (Baggara; n = 113, Butana; n = 60 ne Kenana; n = 52) okwetooloola wonna mu mabendobendo omukaaga mu Sudan.

Enjawulo mu ndagabutonde (nucleotide) zaateekebwa mu bibinja eby’enjawulo nga bakozesa akakodyo k’okujegerewaza.

Tunnyonnyola ku nfuuko 53 omwo nga mwe muli n’omusanvu ezaasooka.

Okwekaliriza okukulu (PCA) okw’obuzimbe bwa puloteyini obuli mu MCH kwazuula nti obuzimbe 4 and 9 (mu nziriŋŋana eyo) bwawula endyo za Kenana-Baggara ne Kenana-Butana okuva ku ndyo endala.

Okwekaliriza kw’ebyoleko by’endyo za Sudan, obuvanjuba bw’obukiikaddyo bwa Asia, Bulaaya ne Amirika eziwera omuli enfuuko 115 kwalaga nti 14 zaali zirabikira mu ndyo za Sudan zokka.

Endagabutonde eziri mu nte z’olulyo lwa Baggara zaalaga nti zibuna bulungi, so ate ekisinziirwako okulondoba (ω) kyalaga nti waliwo okulondaba okw’enjawulo mu aside ow’enjawulo mu ndagabutonde ya BoLA-DRB3 exon 2 mu ndyo ezo nnansangwa.

Ebyava mu PCA ebiwera byakkaanya n’emminjawaza z’emisono ezeekalirizibwa mu miti egiriraanyeewo (NJ).

Ebyazuulibwa bino bitulengeza ku nsonga y’obusobozi bwazo okugumira embeera z’endwadde z’omu bitundu eby’ebbugumu wamu n’obusobozi bw’okuzaalukana mu mbeera ya Sudan enzibu.


Bannassaayansi bazuula endagabutonde ezibeera mu nte z’e Sudan ezizireetera okugumira endwadde.

Bannassaayansi bazudde ebika by’endagabutonde eby’enjawulo mu nte z’e Sudan ezisinga okulabika ezirabika nga ze zisinga okuzireetera okugumira endwadde, era ekyo kye baazudde kiyinza okuyamba mu bukyo bw’okuzaaza ente obusingako obulungi.

 Enjawulo mu ndagabutonde eziyitibwa enfuuko ze zitera okuvunaanyizibwa ku nkula ez’enjawulo gamba nga obukalubo obulabikira mu nsolo ne mu bimera.

Endyo z’ente ez’emirundi esatu, Baggara, Butana ne Kenana zimanyidde ng’ezigumira embeera era abalunzi bazirunda mu Sudan okuzirya ennyama n’okufunamu amata.

Abanoonyereza ku ndyo z’ente mu Afirika bakiraga nti enfuuko ez’enjawulo ez’endagabutonde eziyitibwa BoLA-DRB3, ezirina ekifo mu muyungiro gw’obusibage, zisobola okuleetera ensolo okugumira endwadde n’ebiwuka.

Wabula, n’okutuusa kati, bannassaayansi babadde nga bamanyi kitono nnyo ku bikwata ku njawulo eziri mu ndagabutonde eno mu ndyo z’ente mu Afirika.

Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baanoonyereza ku BoLA-DRB3 mu nsolo z;omu Sudan okuzuula oba ng’ensolo zirina enfuuko zonna ez’enjawulo ezisobola okunnyonnyola ebikwata ku kugumira endwadde era n’okunnyonnyola ebikwata ku ndyo z’ente ezo mu kunoonyereza okujja eyo mu maaso.

 Abanoonyereza baakuŋŋaanya omusaayi okuva ku nsolo 225 mu Sudan yonna.

Bwe baamala ate ne bakola okwekaliriza ku sampolo, nga bagezesa enjawulo mu ndagabutonde ya BoLA-DRB3.

Olwo ate ne bageraageranya bye baazuula n’obubaka obuliwo obukwata ku ndagabutonde mu nte endala.

Era baatunuulira ne ku mirundi enfuuko ez’enjawulo gye zeeyolekera mu sampolo zaabwe, nga bagezaako okuzuula ekireetera enjawulo ez’engeri yonna okubaawo.

 Okutwaliza awamu, ente z’omu Sudan zaalina endagabutonde y’ekika kya BoLA-DRB3 ez’enjawulo abanoonyereza ze balowooza nti ziyinza okwongera amaanyi mu ngeri obusibage gye bukolamu ne bwonera emibiri gy’ensolo okugumira endwadde.

Abanoonyeereza baazuula enfuuko nnyingi empya era nga zisangibwa mu ndyo z’omu Sudan zokka.

Mu ngeri y’emu era baazuula nti bw’ogeraageranya n’ente okuva mu bitundu by’ensi eby’enjawulo, sampolo zaabwe zaalimu enfuuko 14 ez’endabutonde za BoLA-DRB3 nga zo teziri mu nsolo zitali za mu Afirika.

Obubonero obwo obw’enjawulo busobola okuyamba ente z’omu Sudan okugumira endwadde wamu n’ebinyigiriza ebirala gamba nga ebbugumu eritera okusangibwa mu bitundu ente ezo mwe zibeera.

 Okunoonyereza kuno kwe kusookedde ddala okusoggola enjawulo eriwo mu ndagabutonde ya BoLA-DRB3 mu nte z’omu Afirika.

Enfuuko empya ezaazuuliddwa era zitugguliddewo enzigi ku kunoonyereza okuggya ku kugumira endwadde mu nte, n’okulaba engeri y’okwongera omutindo mu nteekateeka z’okuzaalukanya endyo.

 Ensonga enkulu ku kunoonyereza okujja mu maaso gwe mulimu omukulu enfuuko empya gwe zizannya mu busibage bw’ensolo.

Weewaawo enkyukakyuka ezimu zongeza ku kugumira endwadde, enkyukakyuka endala ziyinza okuleetera ensolo okukosebwa endwadde endala.

Awo nno, okunoonyereza okujja mu maaso eyo kwetaaga okwekaliriza enkolagana eriwo wakati w’enfuuko ez’enjawulo n’endwadde z’ente.

Okunoonyereza kuno kwe kusaale mu Afirika, era kukulu nnyo ku kunoonyereza ku ndagabutonde ya BoLA-DRB3 n’enkola y’obusibage.

Bannassaayansi okuva mu Sudan, Lebanon, Saudi Arabia, Japan ne Argentina baakolera wamu pulojekiti eno.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?