Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2020.11.16.384339
Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.11.16.384339
Okukosebwa kw’ekibumba kutiisa nnyo era kusobola okuleetera ekibumba okufunira ddala obulwadde mu balwadde abakozesa eddagala erikkakkanya ku HIV (cART).
Okunoonyereza kwaffe kwagenderera okwekaliriza okugwawo kw’obulwadde wamu n’ebiteeberezebwa ku bulwadde bw’ekibumba obuleetebwa cART (CIH) mu bantu abaludde nga bakozesa cART mu ddwaliro mu Disitulikiti ey’omu kyalo.
Okunoonyereza kuno kwakolebwa mu kiseera ekigere mu Ddwaliro lya Bali District Hospital.
Akakodyo k’okukebera eddagala kaakozesebwa okupima obungi n’ekigero kya alanine-aminotransferase (ALT) ne aspartate-aminotransferase (AST).
Abalwadde abalina ALT, ne AST baatwalibwa okubeera n’obulwadde bw’ekibumba bwa CIH.
Okugezesa kwa Chi (χ2) ANOVA ne Kaplan Meier log-ranked/ okwekaliriza kw’okuwona bye byakozesebwa okukenenula obubaka obwakuŋŋaanyizibwa.
Ebyava mu beetabi 350 abeetabamu [156 (44.6%) abasajja ne 194 (55.4%) abakazi], abalina emyaka egiri wakati wa 43.87 ± 0.79 (wakati w’emyaka 20 – 84) abatunuuliddwa mu kwekaliriza kuno, 26 (4.4%) baafuna obulwadde bw’ekibumba obw’ekigero CIH.
Twekaliriza ebigero bya ALT + AST, ALT ne AST 57 (16.3%), 62 (17.7%) ne 238 (68%) mu nziriŋŋana eyo.
Ensonga ezaateeberezebwa ng’ezireeta obulwadde bwa CIH mwalimu, ekikula ekisajja n’okunywa omwenge mu kiseera ky’okunoonyereza.
Okubaawo kw’obulwadde bw’ekibumba (CIH) mu balwadde ba HIV mu Bali kwali wansi ku okwo okwazuulibwa mu kunoonyereza okwayita.
Ebbanga ly’obujjanjabi teryalina kakwate na CIH.
Okunywa omwenge n’okunywa sigala kwayoleka enjawulo ya maanyi mu nkulaakulana ya CIH.
Ekigero ky’okukosebwa kw’ekibumba mu balwadde ba HIV nga kiva ku nkozesa ya ARVs (eddagala erikkakkanya ku HIV) ery’enjawulo kiri wansiko mu ddwaliro ly’omu Disitulikiti y’e Bali, Cameroon bw’ogeraageranya n’okunoonyereza okwasooka.
Wabula, ekikula, okunywa omwenge n’okunywa sigala birina akakwate n’okukosebwa kw’ekibumba mu balwadde ba HIV.
Ebitundu bya Afirika ebiri wansi w’eddungu Sahara birimu abalwadde abasukka mu kitundu ky’abo abalina HIV mu nsi yonna.
Eddagala lya HIV ery’enjawulo erikozesebwa okumu bwe bujjanjabi obusembebwa, wabula okukosebwa okuva ku ddagala eryo kuleeta okukosebwa kw'ekibumba mu balwadde.
Okunoonyereza si kungi okutunuulira okukosebwa kw'ekibumba nga kuva ku ARVs, wabula, obubaka obukwata ku nsonga eno bwetaagibwa.
Bannassaayansi baayagala okuzuula omuwendo gw’abantu abali mu kitundu omuli abantu abalina HIV era nga baakosebwa n’ekibumba.
Era baayagala okuzuula eneeyisa eziyinza okwongera ku buzibu bw’okukosebwa ekibumba mu balwadde.
Abanoonyereza baanoonyereza ku balwadde mu ddwaliro ly’omu Disitulikiti y’e Bali abaalina HIV era nga basussa emyaka 18.
Sampolo z’omusaayi zaggyibwa ku balwadde bonna, era ne bakebera ebika bya puloteyini ebimu ebyekuusa ku kukosebwa kw’ekibumba oba nga byalimu oba tebyalimu.
Olwo ate ne bakozesa entetenkanya ya kompyuta okuteebereza enneeyisa ezeekwanya ku kukosebwa kw’ekibumba.
Abanoonyereza baakakasa nti ebigero bya puloteyini ebiraga okukosebwa kw’ekibumba byali waggulu ddala mu balwdde ba HIV.
Okunoonyereza kwabwe era kwalaga engeri obujjanjabi bwa HIV obumu gye bwekwanya ku bigero bya puloteyini ebyo.
Entetenkanya yaabwe eya kompyuta yayoleka nti abasajja abakozesa ARVs bali mu bulabe bwa maanyi obw’okukosebwa kw’ekibumba, era nga bwe guli ne ku abo abanywa omwenge n’okufuuweeta sigala.
Kyali kimanyiddwa nti abalwadde abalina HIV baali mu buzibu bw’okufuna okukosebwa kw’ekibumba olw’obujjanjabi bwe bafuna.
Wabula, okunoonyereza kuno kwatunuulira ekigero abalwadde ba HIV kwe bafunira okukosebwa kw’ekibumba mu Ddwaliro ly’omu Disitulikiti y’e Bali.
Abanoonyereza era baazuula nti okunywa omwenge ne sigala kussa abalwadde ba HIV mu bulabe bwa maanyi obw’okukosebwa ekibumba.
Abanoonyereza balabula nti obubaka obukwata ku balwadde buyinza okuba ekikugira mu kunoonyereza kuno.
Tebaatunuulira nsonga zonna gamba ng’okukozesa eddagala eddala ng’oggyeeko eryo erijjanjaba HIV.
Mu ngeri y’emu, olw’okuba abantu abaakozesebwa mu kunoonyereza kuno baali banjawulo okuva ku abo abaali mu kunoonyereza okwasooka mu myaka ne mu kikula, ebyatuukibwako tebikkaanya butereevu n’ebyo ebyali mu kunoonyereza okwakolebwa mu Afirika.
Okunoonyereza kwakolebwa ku ddwaliro limu mu Cameroon era ebyatuukibwako biteekwa okukakasibwa mu kunoonyereza okw’omu maaso okuva mu bitundu ebirala.
Afirika erina ekibizu kya HIV kya maanyi nnyo.
Okunoonyereza kuno okwakolebwa abanoonyereza b’omu cameroon kutusiigira ekifaananyi ku bubaka obw’omugaso ddala ku kubaawo kw’okukosewa kw’ekibumba mu balwadde ba HIV, wamu n’ensonga ez’enjawulo ezongera obulabe bw’okukosebwa kw’ekibumba.
Okubeera n’obubaka buno kuyinza okuyamba mu nzijanjaba y’obuzibu bw’okukosebwa kw’ekibumba mu balwadde ba HIV.
Northern Sotho (Sepedi) translation of DOI: 10.1101/2020.11.16.384339
Hausa translation of DOI: 10.1101/2020.11.16.384339
This is Zulu translation of DOI: 10.1101/2020.11.16.384339
Amharic translation of DOI: 10.1101/2020.11.16.384339
Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.11.16.384339