Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2020.06.04.20122606
Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20122606
Ensi mu kiseera kino emeggana ne nawookeera wa mirundi ebiri.
Muno mulimu akawuka akapya akakwata omussizo aka coronavirus 2/obulwadde bwa coronavirus 2019 (SARS-CoV-2/COVID-19) n’akawuka akaasangibwawo aka human immunodeficiency virus/acquired immune deficiency syndrome (HIV/AIDS).
Ebiwandiiko ebikwata ku kwegatta kwa nawookeera ono abuutikidde ensi byeyongerera ku misinde.
Ebiwandiiko ebikwata ku kufuna COVID-19 ne HIV byanoonyezebwa.
Oluvannyuma lw’emyezi etaano, okuva nawookeera wa COVID-19 lwe yatandika, waaliwo okunoonyereza kwa mirundi waakiri asatu mw’etaano okwali kukoleddwa okuva mu mawanga kkumi n’asatu.
Muno mwalimu alipoota ku bantu kinnoomu n’okunoonyereza okukolebwa ku bibinja by’abantu okumala ekiseera.
Okusinziira ku kunoonyereza okulimu ebizuuliddwa ebisobola okukwata ku bantu bonna, abantu abalina HIV ng’akawuka ka HIV kakendedde COVID-19 teyabalwaza oba okubatta mu ngeri ey’enjawulo.
Waakiri abalwadde bana, abaalinga baakazuulibwamu HIV baawona COVID-19.
Obukakafu obuggya bulaga nti abalwadde abalina obuwuka buno bwombi basaana okujjanjabwa ng’abantu abalala bonna.
Okunoonyereza kuno okukyagenda mu maaso nga kukwata ku bukakafu ku kufuna akawuka ka SARS-CoV-2 ne HIV kusobozesa abanoonyereza, abakulembeze, abasawo, n’abalala okuzuula n’okuteekateeka eky’okukola mu bwangu.
Okunoonyereza kungi okukoleddwa okwetooloola ensi kulaga nti abantu abalina HIV/AIDS nga bali ku bujjanjabi tebafuna bubonero bwa COVID-19 businga ku bw’abalala.
Abanoonyereza abeekenneenyezza okunoonyereza kw’ekinnasaayansi okuggya okuliwo ku nsonga eno bagamba nti obukakafu bulaga nti abalwadde ba HIV bayinza okujjanjabwa COVID-19 ng’abalwadde abalala bonna.
Olw’okuba ng’abantu abalina HIV babeera n’amaanyi matono agalwanyisa endwadde, abanoonyereza baali balowooza nti bayinza okulwala ennyo oba okufa okusinga ku balala mu kiseera kya nawookeera wa COVID-19.
Nga batunuulira okunoonyereza okw’enjawulo ku ngeri abalwadde ba HIV/AIDS gye bayisibwamu COVID-19 n’obujjanjabi bwe, abanoonyereza baali basuubira okukola okusalawo okw’awamu okuyamba abanoonyereza abalala, zigavumenti n’abasawo okusalawo engeri y’okujjanjabamu abalwadde ba HIV/AIDS abalina ne COVID-19.
Baatunula mu mpapula z’okunoonyereza ezirimu ebigambo ebikulu nga “HIV”, “AIDS”, “Coronavirus” ne “COVID-19”, ezaafulumizibwa wakati wa Janwali n’Ogwomukaaga, 2020.
Abanoonyereza okusinga baanoonya alipoota ku bantu abalina HIV, oba abantu abalina AIDS, abaali ku ddagala eriweweeza HIV era nga baali basangiddwa ne COVID-19.
Mu kunoonya kwabwe, abanoonyereza baazuula empapula 35 okuva mu mawanga 13, ng’omuntu eyasooka okukwatibwa COVID-19 ne HIV yali mu China.
Baakizuula nti HIV/AIDS tafaanana kufuula bulwadde bwa COVID-19 bwa mutawaana, era nti abalwadde abaakazuulibwamu HIV bangi baawona COVID-19.
Abanoonyereza era baakizuula nti abalwadde baalina obubonero bwa COVID-19 obwa bulijjo ng’okukolola, okubulwa omukka, ekimenyoomenyo, obutawunyiriza n’okufa akamwa, n’ekiddukano.
Omulwadde omu yekka ye yafuna okwesika.
Okutwaliza awamu, abantu abalina HIV/AIDS balabika nga COVID-19 abayisa kyekimu ng’abalwadde abalala bonna.
Wabula, obulabe bwa COVID-19 bweyongera mu balwadde bokka abaalina endwadde endala nga puleesa, sukaali, omugejjo n’obulwadde bw’ensigo.
Abanoonyereza era bagamba nti eddagala lya HIV/AIDS, darunavir, teriziyiza kufuna Coronavirus.
Okunoonyereza kwabwe era kwalaga nti abalwadde abaalina obuwuka bwombi nga baali bakyusiddwa ensigo n’ekibumba nabo baawona COVID-19.
Abanoonyereza balabula nti bye baazuula biyinza okubaamu kyekubiira olw’okuba nga baafuna kunoonyereza kwokka okuwandiikiddwa mu Lungereza.
Bateesa nti okunoonyereza okulala kukolebwe ku ngeri COVID-19 gy’akolaganamu n’endwadde endala nga akafuba, ne lubyamira, n’engeri okuba n’obuwuka buno bwombi gye kisobola okukosaamu obwongo bw’omulwadde.
Okwekenneenya kuno kwakolebwa abanoonyereza okuva mu South Afirika, ekizibu kya HIV/AIDS gye kikyali eky’amaanyi.
Amharic translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20122606
Hausa translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20122606
Northern Sotho translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20122606
Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20122606
Zulu translation of DOI: 10.1101/2020.06.04.20122606