Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1186/s43058-020-00033-5
Luganda translation of DOI: 10.1186/s43058-020-00033-5
Abantu abalina HIV (PLHIV) abali ku ddagala lya mukeenenya balina akatyabaga ka waggulu okufuna obulwadde bw’omutima (CVD).
Okutobeka obujjanjabi eri obulwadde bw’entunnunsi (HTN), akatyabaga k’okufuna CVD, mu bulwaliro bwa HIV kyetaagisa mu Uganda.
Okunoonyereza kwaffe okwasooka kwalaga emiwaatwa egiwera mu kuteeka mu nkola okutobeka obujjanjabi eri HTN ku kipande ekiriko ebigobererwa mu kujjanjaba HIV.
Mu kunoonyereza kuno, twagenderera okuzuula emiziziko n’ebiyambako okutobeka okukebera n’okujjanjaba HTN mu bulwaliro bwa HIV mu Buvanjuba bwa Uganda.
Twakola okunoonyereza okw’okulombojja mu bulwaliro bwa HIV busatu obulina obuweereza eri HTN obwa wansi, obwa wakati wamu n’obwa waggulu, bwe twabinjawaza nga tusinziira ku kunoonyereza kwaffe okwasooka.
Nga tweyambisa olutiba oluyambako okuteeka okunoonyereza mu nkola (CFIR), twategeka okubuuzibwa wamu n’okukubaganya ebirowoozo ne bamaneja b’obulwaliro, abajjanjabi n’abalwadde ba PLHIV abalina entunnunsi (n = 83).
Okubuuzibwa kwassibwa mu buwandiike kigambo ku kigambo.
Abanoonyereza basatu baakozesa enkola ey’okulandukira ku nnyinyonnyolero (etambulira ku CFIR) okufuna koodi ezeetagibwa wamu n’emiramwa.
Okulamula kwakolebwa okuzuula obungi n’amaanyi ga buli kizimbo kya CFIR ku kukosa okutobeka HTN ne HIV.
Emiziziko eri okutobeka HTN ne HIV gyava mu bizimbo bya CFIR mukaaga:
empeera y’ekitongole, ebikozesebwa ebiriwo, obusobozi bw’okufuna amagezi n’obubaka, okwekkiririzaamu, n’okuteekateeka.
Emiziziko mulimu ebbula ly’ebyuma bya BP ebikola, okugaba eddagala erirwanyisa obulwadde bw’entunnunsi eritamala, obuvunaanyizibwa obulala eri abo abatuusa obujjanjabi bwa HTN, abantu abalina obulwadde bwa mukeenenya obutaba na magezi gawera ku HTN, amagezi, obukugu n’okwekkiririzaamu okutono eri abajjanjabi okusobola okukebera n’okujjanjaba HTN, awamu n’okuteekateeka okutono eri obuweereza bw’okutobeka HTN/HIV.
Omukisa gw’okutuusa obujjanjabi bwa HTN ne HIV mu kifo kimu, obwanguyirwa (embeera y’okuba nga si kizibu) mu bujjanjabi bw’okutobeka HTN ne HIV, obusobozi bw’okumanyiira, n’okugendana kw’obujjanjabi eri HTN ne HIV bye biyambako okutobeka HTN ne HIV.
Ebizimbo bya CFIR ebisigadde tebyalina nkizo ku kusalawo okutobeka HTN ne HIV.
Nga tukozesa CFIR, tulaze nti newankubadde nga waliwo emiziziko egikyusika eri okutobeka HTN ne HIV, enkola y’okutobeka HTN ne HIV eyagalwa abalwadde, abajjanjabi ne bamaneja.
Okutuusa obujjanjabi bwa HTN mu PLHIV kijja kwetaagisa okuvvuunuka emiziziko n’okweyambisa ebintu ebiyambako okuyita mu nkola ey’okunyweza ekitongole ky’ebyobulamu.
Ebizuulo bino ntandikwa y’okuyiiya engeri ennuŋŋamu ez’okuyambako mu kutobeka HTN ne HIV mu mawanga agayingingiza ekitono n’ago agayingiza mu ngeri ensaamusaamu.
Okunoonyereza kulaga nti obulwaliro bwa HIV tebulina bikozesebwa n’abakozi abamala okulabirira abalwadde abalina ne puleesa.
Puleesa, oba entunnunsi, zikosa omuntu 1 ku bantu abakulu 3 abalina HIV mu Uganda.
Engeri gye kiri nti abantu abalina obulwadde buno bwombiriri bateekeddwa okugenda mu malwaliro buli kaseera, abanoonyereza bagamba nti kikola amakulu ng’obulwaliro obujjanjaba HIV bugasseeko okukebera entunnunsi, okusinga okusindika abalwadde baabwe abalina entunnunsi mu bifo ebirala.
Eky’omukisa omubi, obulwaliro bungi obujjanjaba HIV tebunnayongera bujjanjabi bwa ntunnunsi ku bujjanjabi bwa HIV bwe butuusa ku bantu.
Abanoonyereza baanoonyereza lwaki okujjanjaba okutobeke kukola oba tekukola mu Buvanjuba bwa Uganda.
Okutegeera okusoomooza kujja kuyambako okuteekawo enkola ezisingako ez’okutobeka obujjanjabi bw’entunnunsi ne HIV.
Baabuuza bakozi mu bulwaliro obujjanjaba HIV n’abalwadde abalina HIV awamu n’entunnunsi.
Beekaliriza ebyanukulo nga bakozesa obukodyo bw’ekinassaayansi obw’olugerero okusobola okutumbula engeri y’okwenyigira mu kutuusa obujjanjabi.
Baazuula nti obulwaliro obujjanjaba HIV tebwalina bakozi batendeke awamu n’ebikozesebwa, omuli ebyuma ebikebera puleesa kw’ossa obujjanjabi.
Abalwadde nabo baali tebamanyi nti basobola okufuna obujjanjabi bw’endwadde zombi ku bulwaliro obujjanjaba HIV.
Abanoonyereza abalala banoonyerezza ku ngeri Afirika gy’eyinza okutobeka obujjanjabi bw’entunnunsi mu bwa HIV.
Wabula, guno gwe mulundi ogwasooka akakodyo k’ekinassaayansi ak’olugerero akamenyeddwa waggulu, akamanyiddwa nga Consolidated Framework for Implementation Research (CFIR), okukozesebwa okutunuulira ebirina okukolebwa okugonjoola ekizibu.
Wabula abanoonyereza baalabula nti mu kunoonyereza kwabwe, abalwadde bangi baali tebawulirangako ku bujjanjabi bwa HIV nga butobekeddwamu obw’entunnunsi, kubanga baali tebakiwulirangako.
Kino kyategeeza nti bangi tebaasobola kuddamu bulungi bibuuzo by’okubuuzibwa.
Noolwekyo baateesa nti okunoonyereza okunaakolebwa mu biseera ebijja kusaanye kutunuulire endowooza z’abalwadde.
Baagattako ne bagamba nti okunoonyereza okulala kwetaagibwa okugeraageranya ebisale n’emiganyulo egiri mu kutobeka obujjanjabi bw’entunnunsi mu bwa HIV.
Abeebyobulamu okuva mu Uganda n’abo okuva mu mawanga ga Afrika amalala basobola okukozesa ebiri mu kunoonyereza kuno okuteekateeka obujjanjabi bw’entunnunsi obutobeke ne HIV.
N’okwenyingiramu okw’engeri eyo, tusobola okumalawo okufa okuva ku ntunnunsi okusobola okwewalibwa, engeri gye kiri nti kujja kukeberebwa nga bukyali era kujjanjabwe ng’abalwadde bagenze okufuna obujjanjabi bwa HIV.
Amharic translation of DOI: 10.1186/s43058-020-00033-5
Hausa translation of DOI: 10.1186/s43058-020-00033-5
Northern Sotho translation of DOI: 10.1186/s43058-020-00033-5
Yoruba translation of DOI: 10.1186/s43058-020-00033-5
Zulu translation of DOI: 10.1186/s43058-020-00033-5