Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2020.06.01.127423
Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.06.01.127423
Omusujja Plasmodium vivax ndwadde ey’omu bitundu eby’ebbugumu ogutafiibwako nnyo mu Afirika olw’okuba nti si mungi n’olw’obutakeberwa kutegeerekeka bulungi.
Emabegako awo, wabaddewo okweyongera kwa P. vivax mu Afirika Buvanjuba (East Afirika) era nga gugambibwa okuba nti gusaasaanira mu mawanga ag’ebugwanjuba.
Okunoonyereza kuno kwanoonyereza ku kifo ekisibukamu wamu n’enjawulo eri mu P. vivax mu Sudan nga bakozesa ebirambi microsatellite 14.
Sampolo za P. vivax 113 zaakuŋŋaanyizibwa okuva mu Disitulikiti bbiri, New Halfa ne Khartoum mu Sudan.
Mu ngeri y’emu, obubaka okuva mu sampolo z’omu bitundu eby’enjawulo 841 ezaggyibwa mu kkuŋŋaanyizo ly’obubaka olw’okwekebejja ttwalirawamu zaateekebwa mu kwekebejja okwongera ku kwekaliriza nkolagana y’endagabutonde mu P. vivax isolates ku kigero ky’ekitundu n’ensi yonna.
Ku kigero ky’ekitundu, twekaliriza sampolo 91 ez’enjawulo ne haplotypes 8 ezigabanibwa mu sampolo z’omu Sudan.
Enjawulo eyo eyamaanyi mu ndagabutonde egeraageranyizibwa ku geographical isolates esobozesa ekiteeberezo nti P. vivax yava mu Afirika.
Ku kigero ky’ensi yonna, nga bwe twakiraze edda, twekaliriza emminjawaza y’endagabutonde eya P. vivax isolates okuva mu Afirika, South America, ne Asia (omwonga mwe muli Papua New Guinea ne Solomon Island) omwo nga mwe muli obutabule bw’ebika ebisatu.
Okwekaliriza okwassibwako essira n’omuti ogwoleka ebika eby’enjawulo (phylogenetic tree) gwalaga emminjawaza ey’engeri emu era ne gulaga African isolates bye zikola ku njawulo eri mu ndagabutonde eyeekaliriziddwa mu nsi yonna.
P. vivax ey’omu Afirika yalaga enfaanana eri wakati wa Asian isolates ezimu era nga kino kyalaga ebiggya ebyakabaawo.
Ebyavaamu biraga enjawulo yamaanyi mu ndagabutonde ejjira okumu ne multi-locus linkage disequilibrium, nga kiraga obulungi bw’okukozesa ebirambi bya microsatellite okukola ku ngeri ennungi eziyamba mu kutangira.
Abanoonyereza baalamba ku maapu endagabutonde z’ekimu ku biyonkerezi ebireeta omusujja gw’ensiri okusobola okulondoola engeri ebika byabyo eby’enjawulo gye bisaasaanamu mu nsi yonna.
Bagamba nti ekiyonkerezi, Plasmodium vivax, kirabika okuva nga kyava mu Afirika.
Abanoonyereza baasooka kulowooza nti ekigero ky’omusujja ekireetebwa ekiyonkerezi kino kitono.
Wabula, omusujja ogwo gweyongerera ddala mu Afirika Buvanjuba n’ebitundu by’ensi ebirala.
Omusujja gw’ensiri ogwa Plasmodium vivax (PV) tegutera kuba gwamaanyi, naye okunoonyereza okw’emabegako awo kulaga nti PV gusobola okwekweka mu bantu ne gubakosa olutatadde, ne gubalemesa n’okukola emirimu.
Kino bw’okigatta ku bwetaavu bw’okujjanjabwa buli kiseera kiziŋŋamya ebyenfuna.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baayagala okwekaliriza ebiyonkerezi bya PV ebyakengebwa mu bifo ebyenjawulo mu nsi yonna.
Obubaka buno obw’endagabutonde wamu n’obwebitundu eby’enjawulo busobola okuyamba aboobuyinza ku byobulamu okuziyiza ensaasaana ya PV n’okujjanjaba obulungi omusujja gw’ensiri.
Abanoonyereza baggya DNA nga bakozesa sampolo z’omusaayi gw’oku ngalo z’abalwadde abalina omusujja gwa PV mu New Halfa ne Khartoum, ebisangibwa mu Sudan.
Era baakozesa n’obubaka bwe baakuŋŋaanya okuva mu bitundu bya Afirika ebirala, South Amerika ne Asia.
Baageraageranya sampolo okuzuula ebifaanagana n’ebyawukana mu bitundu eby’enjawulo.
Abanoonyereza baakizuula nti endagabutonde eza sampolo za PV okutwaliza awamu zaali zifaanagana ne sampolo endala okuva ku ssemazinga y’omu.
Kino kitegeeza nti baali basobola okumanya sampolo w’eva okusinziira ku ndagabutonde ya sampolo.
Ekyewuunyisa, baalaba nti sampolo eziggyibwa mu Afirika zaali zirimu enjawulo mu ndagabutonde okusinga ku sampolo ez’oku ssemazinga endala.
Kwe kugamba, bw’otwala sampolo ezaakuŋŋaanyizibwa mu Asia ng’ekyokulabirako, zaali zifaanagana nnyo ne sampolo endala ez’omu Asia okusinga ku sampolo z’omu Afirika ez’omu bitundu eby’enjawulo.
Enjawulo mu ndagabutonde ez’omu Afirika eraga nti PV yava mu Afirika.
Era baalaba nti sampolo z’omu Afirika zaali zifaanaganamu ne sampolo z’omu Asia okusinga ku ezo ez’omu South Amerika.
Kino kitegeeza nti abantu oba ebisolo ebikosebwa ne PV byandiba nga byasengukako okuva mu Afirika ne bidda mu Asia.
Okulamba endagabutonde z’ekiyonkerezi ku maapu mu ngeri eyo kiwa bannassaayansi ebirowoozo ku ngeri pathogen gye zisaasaana mu bitundu eby’enjawulo.
Abanoonyereza bagamba nti okunoonyereza okw’omu maaso kuyinza okukozesa obubaka buno okufuna obubonero obw’enjawulo nga ebitundu by’omu nsozi, ebyawulo enjawulo za PV ez’enjawulo.
Abanoonyereza abaakola okunoonyereza kuno baali bava mu Sudan, Eritrea, France, ne USA.
Amharic translation of DOI: 10.1101/2020.06.01.127423
Hausa translation of DOI: 10.1101/2020.06.01.127423
Northern Sotho (Sepedi) translation of DOI: 10.1101/2020.06.01.127423
Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.06.01.127423
Zulu translation of DOI: 10.1101/2020.06.01.127423