Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Ebirungo by’olusaayisaayi omuli Sereniyamu, Kkopa ne Zinki mu kiseera ky’olubuto byekuusa ku katyabaga k’okuzaala omwana atannatuuka: Okunoonyereza okwakolebwa mu ggwanga lya Malawi

This is a Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.04.14.20064717

Published onJul 22, 2023
Ebirungo by’olusaayisaayi omuli Sereniyamu, Kkopa ne Zinki mu kiseera ky’olubuto byekuusa ku katyabaga k’okuzaala omwana atannatuuka: Okunoonyereza okwakolebwa mu ggwanga lya Malawi
·

Ebirungo by’olusaayisaayi omuli Sereniyamu, Kkopa ne Zinki mu kiseera ky’olubuto byekuusa ku katyabaga k’okuzaala omwana atannatuuka: Okunoonyereza okwakolebwa mu ggwanga lya Malawi

Abstract

Okuzaala omwana atannatuuka kubaawo nga wiiki 37 tezinnawera.

Okunoonyereza kwakolebwa okwekenneenya akakwate wakati wa seleniyamu, ekikomo, ne zinki, n’okuzaala abaana abatannatuuka.

Okunoonyereza kuno kwalimu abakazi 181, nga 90/181 (49.7%) baazaala abaana abatuuse ate nga 91/181 (50.3%) baazaala abaana abatannatuuka.

Omuwendo gwa sleniyamu ogwali mu musaayi gwali 77.0; SD 19.4µg/L, ekikomo gwali 2.50; SD 0.52 mg/L ne zinki gwali 0.77; SD 0.20 mg/L ng’emiwendo egigeraageranyizibwako giri 47-142µg/L, 0.76-1.59mg/L ne 0.59-1.11 mg/L, mu kuddiriŋŋana okwo.

Mu baazaala abaana abatannatuuka, omuwendo gwa eleniyamu gwali 79.7; SD 21.6µg/L, ekikomo 2.61; SD 0.57 mg/L, ne zinki 0.81; SD 0.20 mg/L bw’ogeraageranya n’egy’abaazaala abaana abatuuse: seleniyamu (74.2; SD 16.5µg/L; p=0.058), ekikomo (2.39; SD 0.43 mg/L; p = 0.004), ne zinki (0.73; SD 0.19 mg/L; p = 0.006) mu kuddiriŋŋana okwo.

Mu kwekenneenya okukyusakyusiddwa, buli katundu ka seleniyamu akeeyongeramu kaaleetawo okweyongera kw’emikisa gy’okuzaala omwana atannatuuka OR 1.01 (95% CI: 0.99; 1.03), p=0.234, ekikomo OR 1.62 (95% CI: 0.80; 3.32); p = 0.184, zinki OR 6.88 (95% CI: 1.25; 43.67); p=0.032.

Ebyavaamu biraga nti tewaaliwo kubulwa seleniyamu, ne zinki; n’omuwendo gw’ekikomo omungi mu musaayi mu bakazi abali embuto.

Okuzaala abaana abatannatuuka kyakwanyizibwa n’okubeera n’ekipimo ky’ekikomo ne zinki ekingi mu bamaama.

Summary title

Zinki, ekikomo ne seleniyamu ebikwanyizibwa n’okuzaala abaana abatannatuuka

Abanoonyereza baazuula omuwendo gw’ebiriisa bya seleniyamu, ekikomo, ne zinki mungi mu bakazi abaazaala abaana abatannatuuka, naye era tebannamanya oba ng’ebiriisa bino ebingi biva mu mmere gye balya.

Okuzaala omwana atannatuuka kibaawo ng’omukazi azadde ng’olubuto terunnaweza wiiki 37.

Okuzaala omwana atannatuuka kiviiramu omwana okuba n’embeera z’obulamu embi omuli okuzaalibwa n’obulemu awamu n’okufa.

Okuzaala omwana atannatuuka kiyinza okuleetebwa ebintu eby’enjawulo, naye eky’ebiriisa ebingi ebisangibwa mu mmere n’ebyetoolodde omuntu tekimanyiddwa bulungi.

Ebiriisa bino bya mugaso mu kukula kw’omwana, naye abanoonyereza baagala okumanya kiki ekibaawo singa biba bingi nnyo.

Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza baagenderera okupima obungi bwa seleniyamu, ekikomo, ne zinki mu bakazi abaazaala abaana abatannatuuka, bazuule oba ng’okuzaala omwana atannatuuka kyaleetebwa buli kimu ku biriisa bino okuba nga kyali kingi nnyo.

Abanoonyereza baakuŋŋaanya sampolo z’omusaayi okuva ku bakazi 181 nga baakazaala mu malwaliro abiri mu Lilongwe, ekibuga ekikulu ekya Malawi, wakati w’Ogwomukaaga 2016 n’Ogwokusatu 2017.

Baaweereza sampolo z’omusaayi mu ggezeserezo mu Norway gye gwakenenulwamu seramu, nga guno gwe musaayi gwennyini, ne bapima obungi bwa seleniyamu, ekikomo ne zinki.

Ekitundu nga kimu kyakubiri ku bakazi 181 abaali mu kunoonyereza baali bazadde abaana abatannatuuka, era abanoonyereza baasanga omuwendo gwa seleniyamu, ekikomo ne zinki mungi nnyo.

Awo ate baakyusaamu ku bibalo byabwe okwetegereza ensonga endala nnyingi ng’obukulu, embeera y’obulamu, n’ebyafaayo by’embuto okukakasa eky’okuba nti ebiriisa bino biviirako okuzaala abaana abatannatuuka.

Baakomekkereza nti omuwendo omungi ogwa seleniyamu n’ekikomo tegwalina kya maanyi kye gwakola mu kuleetera okuzaala abaana abatannatuuka, naye nti omuwendo gwa zinki omungi gwayongera ku mikisa gy’okuzaala abaana abatannatuuka emirundi egisukka 6.

Wabula omuwendo gw’ekikomo omungi gwalowoozebwako nnyo abanoonyereza, olw’obuzibu bw’obutwa obumanyiddwa.

Okubeera n’abakazi 181 bokka abeetaba mu kunoonyereza kwalemesa abanoonyereza okuzuula obulungi obuzibu obukwanyizibwa n’omuwendo gwa seleniyamu omungi, olw’okuba ng’omuwendo ogwandisinze okwetaagibwa guli 600.

Emmere abeetabi gye balya buli lunaku teyeekenneenyezebwa okuzuula ebiriisa bino ebisatu mwe biyinza okuba nga biva, era n’obuwanvu n’obuzito tebwafunibwa.

Kuno kwe kunoonyereza okusoose okupima ebiva ku seleniyamu, ekikomo ne zinki mu bakazi ab’embuto mu Malawi.

Africa y’erimu ensi ezisinga okubaamu abakazi abazaala abaana abatannatuuka – ebitundu 18% n’okusingawo bw’ogeraageranya ensi z’Ebugwanjuba ku bitundu 5%, noolwekyo abanoonyereza baagala okumanya oba ng’endya erina ky’ekola ku kino.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?