Description
This is a lay summary of the article published under the DOI: 10.1101/2020.11.28.20240267
Luganda translation of DOI: 10.1101/2020.11.28.20240267
Nawookeera w’obulwadde bwa coronavirus 19 (COVID-19) asaasaanidde ku misinde okwetooloola ensi n’aviirako abantu bangi okulwala n’okufa.
Okubeera n’endwadde endala awamu ne COVID-19 byogeddwa nnyo ng’ebireetawo obuzibu mu kuteebereza enkola y’eddagala.
Mu kunoonyereza kuno tuluubirira okwekenneenya ebireetebwa endwadde endala mu balwadde ba COVID-19 ku ekyo ekivaamu tuzuule ebyo ebisalawo okulwa mu ddwaliro, ebisalawo okutwalibwa mu kasenge k’abayi oba okufa.
Abalwadde abakulu ebikumi bina mu asatu abaweereddwa ebitanda mu Gwomukaaga n’Ogwomusanvu 2020 mu malwaliro g’e Assiut ne Aswan University baateekebwa mu kunoonyereza kuno.
Abeetabi bonna baazuulibwamu COVID-19 okusinziira ku biragiro bya Minisitule y’Ebyobulamu eya Egypt ng’abakakasibwa oba abasuubirwa okuba abalwadde.
Okukenga SARS-CoV-2 RNA kwakolebwa nga tukozesa (TaqMan™ 2019-nCoV Control Kit v1 (Cat. No. A47532) ekolebwa QIAGEN, Germany ku Applied Biosystem 7500 Fast RT PCR System, USA.
Abalwadde abalina endwadde endala baali ebitundu 61.7% ku balwadde bonna.
Obubonero naddala okulumwa ennyingo n’obubonero bw’omussizo ogwa wansi nga okubaka omukka bwali waggulu nnyo mu balwadde abalina endwadde endala (P < 0.05).
Mu balwadde abalina endwadde endala ebirabirwako abalwadde mu ggezeserezo byali bya maanyi nnyo.
Okutwalibwa mu busenge bw’abayi kyali kingi nnyo mu balwadde abalina endwadde endala (35.8%).
Mu balina endwadde ez’enjawulo ebitundu 45.4% eby’abalwadde ba CVD baaweebwa ICU ne baddirirwa abalina DM (40.8%).
Ekirala, abalwadde abalina endwadde endala baali beetaaga ebyuma ebissizibwako okusinga ku abo abataalina ndwadde ndala (31 vs.10.7%, P<0.001).
Okuwona kwali wansi nnyo mu balwadde ba COVID-19 abaalina endwadde endala (59% vs.81%, P<0.001) era n’omuwendo gw’abafa gwali waggulu nnyo mu balwadde abaalina endwadde endala (P< 0.001).
Omuwendo gw’abawona mu balwadde abaasangibwa ne CVD n’endwadde z’obwongo gwali wansi bw’ogeraageranya n’abo abataazirina (P<0.002 ne 0.001 mu busengeke obwo).
Okukwanaganya endwadde z’omutima omuli puleesa oba endwadde z’obwongo ne COVID-19 kyongera ku mikisa gy’okufa.
Wabula, endwadde endala nga sukaali, endwadde z’amawuggwe oba ez’ensigo nazo ziyinza okwongera ku bunyiinyiitivu bwa COVID-19.
Okunoonyereza kuno kwategeeza nti abalwadde ba COVID-19 abaalina endwadde endala nga puleesa, sukaali, endwadde z’amawuggwe, ensigo n’omutima baalina obulabe bungiko obw’okulwala ennyo, era abalwadde bano baali beetaaga obujjanjabi obw’enjawulo mu malwaliro.
Okutwaliza awamu, kizibu era kya buseere okujjanjaba n’okulabirira abalwadde abalina endwadde oba embeera esukka mu emu.
Endwadde oba embeera zino endala era ze zoogerwako ng’okubeera n’endwadde endala.
Abasawo bagamba nti n’obulwadde bwa COVID-19 bweyongera mu balwadde abalina endwadde endala.
Nawookeera wa COVID-19, eyatandika mu 2020, yatta abantu bangi okwetooloola ensi era amalwaliro gaggweebwako ebitanda by’abayi eby’abalwadde abali obubi ennyo.
Olw’ensonga eno, abasawo baali banoonya engeri y’okuzuulamu amangu abalwadde abandyetaaze okussibwa mu busenge bw’abayi.
Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza beetegereza engeri okubeera n’endwadde ezisukka mu emu gye kyakosaamu abalwadde ba COVID-19.
Era baatunula mu nsonga endala eziyinza okuviirako abalwadde okulwa ennyo mu ddwaliro, okussibwa mu busenge bw’abayi, oba okufa olwa COVID-19.
Abanoonyereza beetegereza abantu abakulu abalina COVID-19 abaaweebwa ebitanda mu malwaliro 2 agasinga obunene mu Egypt, ne bakebera ebiwandiiko byabwe eby’ekisawo okumanya ebibakwatako, ebyava mu kubakebera mu magezeserezo n’ebyava mu kubakuba ebifaananyi mu kifuba.
Era baawandiika oba omulwadde yawonera ddala, yassibwa mu kasenge k’abayi, oba yafa.
Abanoonyereza baageraageranya ebyavaamu eby’abalwadde abaalina endwadde endala n’eby’abo abataalina.
Okunoonyereza kwakizuula nti abalwadde abasukka mu kimu kyakubiri baalina endwadde endala, ng’endwadde z’omutima ne sukaali ze zaali zisinga.
Abalwadde abalina endwadde endala baafuna ebiva mu kukeberwa ebibi, era baali tebasuubirwa kuwona COVID-19.
Ekirala, abalwadde abaalina endwadde endala, naddala endwadde z’omutima oba sukaali, baalina emikisa mingi egy’okussibwa mu busenge bw’abayi era baali beetaaga obuyambi mu kussa.
Ebyavaamu era byalaga nti abakadde baalina emikisa mingi egy’okufa COVID-19.
Ku ndwadde zonna endala ezaanoonyerezebwako, abanoonyereza bakizuula nti endwadde y’omutima, puleesa ne sukaali ze zaali zisinga okuba ez’obulabe, era nga kino baakikwanaganya na bukadde.
Abanoonyereza tebaalabawo kakwate konna wakati wa sukaali n’okufa kw’abalwadde ba COVID-19.
Okunoonyereza okw’emabega kwali kwalaga ebiyinza okuleetebwa endwadde omuntu z’asangiddwa nazo, era okunoonyereza kuno kwakakasa nti mu butuufu okubeera n’endwadde endala kyongera ku bulabe bw’obulwadde bwa COVID-19 era ziviirako obuzibu obw’amaanyi.
Abanoonyereza bagamba nti ebyava mu kunoonyereza kuno biyinza okuba nga tebituukiridde kubanga abalwadde batono abaalina endwadde endala ez’ekibumba, ensigo, endwadde ezeekuusa ku mmere, ez’obwongo, ezeekuusa ku homoni, n’ez’obusibage okulwanyisa obutaffaali obulamu.
Baagamba nti waliwo ebitakwatagana bye baalaba mu biwandiiko by’eddwaliro, enzijanjaba n’enkola y’okuwa abalwadde ebitanda mu kiseera ky’okunoonyereza, ekiyinza okuba nga kyakosa bye baazuula.
Abanoonyereza era baagamba nti okunoonyereza kwakomekkerezebwa ng’ebivaamu by’abalwadde abamu tebinnatangaala.
Abanoonyereza baateesa nti gye bujja wabeewo okunoonyereza okulimu abalwadde abangiko, abalwadde abalina endwadde endala nga za njawulo, n’ebiseera by’okunoonyereza ebiwanvuko.
Zulu translation of DOI: DOI: 10.1101/2020.11.28.20240267
Yoruba translation of DOI: 10.1101/2020.11.28.20240267
Northern Sotho translation of DOI: 10.1101/2020.11.28.20240267