Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Okukozesa ekintabuli kya nnakavundira n’ebyandayanda kuyinza okutumbula omutindo gw’ettaka ly’oluyinjayinja erisangibwa okumpi n’olubalama lw’ennyanja?

Luganda translation of DOI: 10.1016/j.heliyon.2021.e07089

Published onApr 04, 2023
Okukozesa ekintabuli kya nnakavundira n’ebyandayanda kuyinza okutumbula omutindo gw’ettaka ly’oluyinjayinja erisangibwa okumpi n’olubalama lw’ennyanja?
·

Okukozesa ekintabuli kya nnakavundira n’ebyandayanda kuyinza okutumbula omutindo gw’ettaka ly’oluyinjayinja erisangibwa okumpi n’olubalama lw’ennyanja?

Okusereba kw’obugimu bw’ettaka muziziko gwa maanyi eri obulimi mu Afrika ey’omu ddungu lya Sahara.

Abawandiisi bangi boolese ebirungi ebiva mu kukozesa ebyandayanda ne nnakavundira mu kugimusa ettaka.

Mu kunoonyereza kuno, okugeseza okwalimu okubikka ebirobozo okumala ennaku 30 kwakolebwa nga buli kirondobe kirimu 120 g, ebyandayanda by’ebikongoliro, ebyandayanda by’obukuta bw’omuceere, ebyandayanda by’obukuta bw’ebinazi (coco300 ne coco700) oba nnakavundira akoleddwa mu bubi bw’ebinyonyi; ne nnakavundira w’ebyandayanda by’obukuta bw’omuceere oba nnakavundira w’ebyandayanda by’ebikongoliro nga buli kimu kiteereddwamu obungi bwa kitundu (cococomp) 1% n’eky’ettaka.

Ebirala ebyakolebwako mu kunoonyereza ye nnakavundira akolebwa mu bubi bw’ebinyonyi n’byandayanda by’ebikongoliro oba ebyandayanda by’obukuta bw’omuceere (1% ekya nnakavundira+1% eky’ebyandayanda: 1% eky’ettaka) okusobola okwekaliriza engeri gye bikosaamu okussa kw’ettaka, pH y’ettaka; kaboni w’ettaka ava mu buwuka, omugatte gw’omukka gwa nitrogen n’ensaasaana ya nitrogen eriwo.

Ebyandayanda ne nnakavundira nga buli kimu kikozeseddwa kyokka oba nga bikozeseddwa wamu ne nnakavundira w’ebyandayanda byatumbula pH y’ettaka okuva ku bitundu 0.28-2.29 bw’ogeraageranya n’eddala eritali litabule.

Okussa okusookerwako okuva mu nnakavundira yekka/nnakavundira w’obukuta bw’omuceere/ebyandayanda by’ebikongoliro oba ekintabule ky’ebyandayanda ne nnakavundira kwali waggulu okusinga ebitali bitabule, okufaanana n’okwo okwava mu byandayanda byokka.

Ensaasaana ya kaboni mu mu nnakavundira n’ekintabule ky’ebyandayanda ne nnakavundira yayambuka n’etuuka ku bitundu 37% n’ebitundu 117% okusinga eritaatabulwamu kintu kyonna.

Okutabika ebyandayanda by’obukuta bw’omuceere ne nnakavundira kwatumbula ensaasaana y’obuwuka bw’omu ttaka n’ebitundu 132% ate ng’okutabikamu nnakavundira yekka kwatumbula ensaasaana yaabwo n’ebitundu 247% bw’ogeraageranya n’eritaatabulwamu kintu kyonna.

Mu kuwunzika, okunoonyereza kwalaga nti okutabika nnakavundira n’ebyandayanda oba nnakavundira w’ebyandayanda mu ttaka nga buli kimu kiteereddwamu kyokka oba ne bigattibwa kwatumbula ebintu ebyoleka omutindo gw’ettaka gamba nga pH y’ettaka n’ensaasaana y’obuwuka bw’omu ttaka era ne kutumbula entebenkera ya kaboni mu ttaka okuyita mu kutumbula ensaasaana ya kaboni n’okukendeeza ku kufiirwa kwa kaboni w’omu ttaka okubeerawo okusinziira ku bungi bwa carbon dioxide afulumizibwa mu ttaka.


Ebyandayanda ne nnakavundira bitumbula omutindo gw’ettaka eririmwako ebimera

Okunoonyereza kuno kwanoonyereza ku ngeri ebyandayanda, ebikolebwa mu bimera era nga birina ekirungo kya kaboni gye biyinza okukozesebwa okutumbula omutindo gw’ettaka mu Afrika esangibwa mu ddungu lya Sahara.

Okunoonyereza kwazuula nti ebyandayanda bitumbula omutindo gw’ettaka mu ngeri y’emu ng’enkola endala ezisobola okukozesebwa (ez’ebbeeyi ennyo ate nga si nnyangu za kufuna) bwe zikola.

Ekimu ku bizibu eby’amaanyi ennyo mu bulimi mu Afrika ey’omu ddungu lya Sahara kwe kusereba mu bugimu bw’ettaka.

Omutindo gw’ettaka omulungi ennyo guyinza okuviirako okufuna ebirime ebirungi, ekiyinza okukendeeza ku bwavu mu byalo n’okukomya okwonoona obutonde bw’ensi.

Okunoonyereza kulaze nti ebyandayanda, ebirimu ekiriisa kya kaboni bisobola okukozesebwa okutumbula obugimu bw’ettaka.

Ebyandayanda biva mu kwokya ebintu ebirimu ekiriisa kya kaboni oba ebimera nga mulimu omukka gwa oxygen mutono oba obutabeereramu ddala.

Ebyandayanda biragiddwa okuba nga byongeza ku bugazi bw’ettaka ery’oku ngulu, byongeza amazzi n’empewo era nga bukoleeza obuwuka bw’omu ttaka.

Okunoonyereza kuno kwagezesa engeri okukozesa ebyandayanda ne nnakavundira gye kukosaamu omutindo gw’ettaka. Obubonero gamba nga okussa kw’ettaka, pH y’ettaka, okubaawo kw’obuwuka, obungi bwa kaboni n’obungi bw’omukka gwa nitrogen oguliwo bwakozesebwa.

Abanoonyereza baakola ebyandayanda okuva mu bikongoliro, ebinazi n’obukuta bw’omuceere nga babyokyera ewantu ewatali mukka gwa oxygen ku bbugumu lya 450 C mu kyokero.

Abanoonyereza baakola ebyandayanda okuva mu bukuta bw’ebinazi nga babwokyera ku bbugumu lya 300 C ne 700 C.

Abanoonyereza oluvannyuma baabikka ettaka eryalondobwa nga ligattiddwamu ebyandayanda okumala 30 amakumi asatu.

Buli kirondobe kyalimu ettaka ery’enjawulo eryagattibwamu ebintabule by’ebyandayanda eby’enjawulo ebikoleddwa mu bikongoliro, obukuta bw’omuceere oba mu bukuta bw’ebinazi wamu ne nnakavundira akoleddwa mu bubi bw’ebinyonyi.

Ebirondobe ebirala byalimu ettaka nga ligattiddwamu nnakavundira akoleddwa mu bubi bw’ebisolo, ebyandayanda ebikoleddwa mu bukuta bw’omuceere n’ebyo ebikoleddwa mu bikongoliro.

Buli kirondobe kyalimu ekitundu 1% ekya nnakavundira n’ekitundu 1% ekya buli byandayanda kisobozese abanoonyereza okunoonyereza engeri buli kintabule gye kikosaamu obugimu bw’ettaka.

Abanoonyereza baazuula nti okugatta ebyandayanda ne nnakavundira mu ttaka nga buli kimu kiteereddwamu kyokka oba nga biteereddwamu wamu, kyayongeza pH y’ettaka okuva ku 0.28-2.29 pH bw’ogeraageranya n’ettaka eritali litabike.

Okweyongera mu pH y’ettaka kitegeeza nti olwo ettaka lyali lirimu asidi mutono.

Okunoonyereza kwazuula nti obungi bw’omukka gwa carbon dioxide obusookerwako obufulumizibwa mu ttaka bweyongerako nga nnakavundira yekka agattiddwamu oba nga nnakavundira agattiddwamu ebyandayanda by’obukuta bw’omuceere/ebyandayanda ebikoleddwa mu bikongoliro oba ng’agattiddwa mu kintabule ky’ebyandayanda byombi.

Ebirondobe by’ettaka byayoleka okweyongera kwa kaboni kwa bitundu 37% nga nnakavundira yekka akozeseddwa n’okweyongera kwa kaboni kwa bitundu 117% ebyandayanda ebikoleddwa mu bikongoliro bwe byagattibwa mu nnakavundira.

Omuwendo gw’obuwuka bw’omu ttaka gweyongera n’ebitundu 132% ng’ettaka lirimu ekintabule kya nnakavundira n’ebyandayanda ebikoleddwa mu bukuta bw’omuceere bw’ogeraageranya n’okulinnya kwa bitundu 247% mu birondobe by’ettaka ebyalimu nnakavundira yekka.

Ebyava mu kunoonyereza kuno biraga nti kisoboka okukendeeza asidi mu ttaka ng’okozesa ebyandayanda ebifunika mangu ate nga bya layisi.

Kino kikontana n’enkola endala ey’okuteeka layimu mu ttaka, ey’ebbeeyi ate nga tefunika mangu eri abalimi abalima ekitono mu Afrika ey’omu ddungu lya Sahara.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?