Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Okwekaliriza eddagala erivumula akawuka akaleeta obulwadde bwa hepatitis B n’enkyukakyuka mu butaffaali ezireetawo okwebalama eddagala mu Afrika

This is Luganda translation of DOI: 10.1371/journal.pntd.0006629

Published onJul 24, 2023
Okwekaliriza eddagala erivumula akawuka akaleeta obulwadde bwa hepatitis B n’enkyukakyuka mu butaffaali ezireetawo okwebalama eddagala mu Afrika
·

Okwekaliriza eddagala erivumula akawuka akaleeta obulwadde bwa hepatitis B n’enkyukakyuka mu butaffaali ezireetawo okwebalama eddagala mu Afrika

Wasaanye wabeewo ekikolebwa mu bwangu

Abstract

Ebigendererwa by’ensi yonna eby’enkulaakulana ey’ensibo mu kumalawo akawuka hepatitis omwaka gwa 2030 we gunaatuukira byoleka obwetaavu obw’amaanyi mu kutumbula obukodyo bw’okukeewala, okukakebera n’okukajjanjaba.

Enkyukakyuka z’obutaffaali eziremesa eddagala okuba nga terikola ezirondebwa/ezisaasaanyizibwa n’enkyukakyuka z’obutaffaali eziviirako okwebalama eddagala ly’akawuka ka hepatitis B ziyinza okukendeeza ku kukola kw’obujjanjabi n’obukodyo bw’okukatangira obuliwo.

Ensonga zino nkulu nnyo mu bitundu bingi mu Afrika omuli ennyo akawuka ka hepatitis B n’aka mukeenenya mu kiseera kimu naye nga tewaliiwo bubaka bwa muggundu obukwata ku nzijanjaba yaabwo wamu n’obuyigirize obutono, okukebera n’obujjanjabi.

Okubeerawo, ensaasaana n’engeri enkyukakyuka z’obutaffaali eziremesa eddagala okukola wamu n’enkyukakyuka z’obutaffaali eziviirako okwebalama eddagala mu bantu bano tezifiibwako mu biwandiiko ebiriwo.

Awo nno twagenderera okukwanaganya obubaka bwa Afrika esangibwa mu ddungu lya Sahara nga twekaliriza bulungi ebiwandiiko n’okusengejja obubaka obufulumiziddwa era bino oluvannyuma tubiteeke mu kkuŋŋaanyizo ery’oku mutimbagano (https://livedataoxford.shinyapps.io/1510659619-3Xkoe2NKkKJ7Drg/).

Obubaka obusinga bwaggyibwa mu bantu abalina akawuka ka mukeenenya ng’ate balina n’aka hepatitis B.

Enkyukakyuka y’obutaffaali eyasinga okweyoleka yali ya rtM204I/V, eyeeyoleka yokka oba ng’eri n’enyukakyuka z’obutaffaali endala mu bantu abakulu abatafunanga ku bujjanjabi n’abo abaali bafunye ku bujjanjabi.

Twazuula n’ekibinja ky’enkyukakyuka z’obutaffaali ekikolebwa rtM204V/I, rtL180M ne rtV173L ekyekuusa ku kwebalama eddagala mu bantu abawerera ddala ekitundu 1/3.

Newankubadde ng’eddagala lya tenofovir likugira okuwakanya eddagala okw’ensikirano, kisaana obubaka obugenda bufunika busonge ku bikulabingi ebiyinza okuba nga byekuusa ku kuwakanya newankubadde ng’engeri bino gye bikosaamu obujjanjabi temanyiddwa.

Okutwaliza awamu, waliwo obwetaavu bw’okukebera okulongooseddwa, okwekaliriza akawuka ka hepatitis B mu kisenge omukeberebwa endwadde nga tewannabaawo bujjanjabi bukolebwa ne mu kiseera ky’obujjanjabi n’okuva ku ddagala lya tenofovir okusigala ku ddagala lya lamivudine lyokka.

Obubaka obulala bwetaagibwa okusobola okunnyonnyola enkola ezeeyambisibwa abantu okukebera akawuka aka hepatitis B, okulondoola n’okujjanjaba mu bitundu bino ebiri mu bwetaavu.

Summary title

Akawuka ka hepatitis B okuba nga tekawulira ddagala wamu n’okulyebalama, nsonga eyeetaaga okwanguyira mu Afrika.

Afrika erimu akawuka ka hepatitis B akatawulira ddagala, ekireetawo akatyabaga ak’amaanyi eri obulamu ku lukalu olulimu abantu abawera abalina akawuka ka mukeenenya.

Abanoonyereza bagamba nti Afrika eteekwa okuteeka ensimbi mu kukebera akawuka ka hepatitis B ne mu nzijanjaba yaako.

Ekiruubirirwa ky’Enkulaakulana ey’Ensibo ey’ekitongole ky’Amawanga Amagatte eky’okusatu (SDG 3) kikubiriza okumalawo akawuka ka hepatitis omwaka gwa 2030 we gunaatuukira.

Kino kitegeeza okurongoosa ku ngeri akawuka ka hepatitis gye keewalibwamu, gye kakeberebwamu n’engeri gye kajjanjabwamu.

Wabula, enkyukakyuka mu butaffaali bwa hepatitis B ezimu zinafuya kaweefube w’okukeewala n’okukawonya.

Ensonga zino ziri mu Afrika omusangibwa omuwendo omunene ogw’abantu abalina akawuka ka hepatitis B mu kiseera ky’ekimu nga balina n’akawuka akaleeta mukeenenya.

Waliwo era obubaka butono obukwata ku nkyukakyuka mu butaffaali bw’akawuka ka hepatitis B ne bikafuula okuba ng’eddagala erimu terikakolako oba ne kiba ng’omubiri tegusobola kukalwanyisa.

Mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza beekaliriza obubaka obutono obuliwo obukwata ku Afrika esangibwa mu ddungu lya Sahara ne babufuula okuba nga bufunika mu kkuŋŋaanyizo limu erisangibwa ku mutimbagano.

Ekkuŋŋaanyizo linnyonnyola emirundi gy’obweyolesi, obubaawo n’okubeerana kw’enkyukakyuka z’obutaffaali ezeekuusa ku nkyukakyuka z’obutaffaali ezireetera akawuka ka hepatitis B okuba nga tekawulira ddagala wamu n’enkyukakyuka z’obutaffaali eziviirako okwebalama eddagala mu Afrika.

Abanoonyereza baanoonya ebiwandiiko ebifulumiziddwa mu journal ezifulumiramu okunoonyereza okukwata ku nsonga z’ekinassaayansi gamba nga MEDLINE, SCOPUS ne EMBASE ezaafuluma wakati w’omwezi Ogwekkumi mu 2017 n’Ogwolubereberye gwa 2018.

Baawandiika omwaka mwe byafulumizibwa, omusono gw’okunoonyereza, omuwendo gw’abeetabi, abantu abaggyibwamu obubaka, obujjanjabi bw’akawuka n’obubaka obulala obw’omugaso obwali bweyolekera mu buli kiwandiiko.

Baazuula nti enkyukakyuka y’obutaffaali esinga okuba mu Afrika eyitibwa rtM204I/v, eyeeyolekera mu bantu abakulu abafunye obujjanjabi n’abo abatabufunye.

Okunoonyereza kwazuula enkyukakyuka mu butaffaali eza rtM204V/I, rtL180M ne rtV173L ezeekuusa ku kwebalama eddagala ezaazuulwa mu kitundu kimu ku bisatu eby’ebibinja by’abantu abaanoonyerezebwako mu kunoonyereza okw’enjawulo.

Abanoonyereza baazuula nti eddagala lya tenofovir lirina obubonero obw’amangu nti nabwo buyinza okuba nga buviirako obuzibu bw’okuba ng’eddagala terikola, newankubadde nga libuusibwabuusibwa okuba nga likosa eddagala lino n’okutuusa kaakano.

Ebizuuliddwa biraga okubaawo kw’enkyukakyuka z’obutaffaali zino mu bantu abamu ab’omu Afrika esangibwa mu ddungu ly’omu Sahara.

Obutaba na bikozesebwa ebimala kuviiriddeko obutaba na kukebera kawuka ka hepatitis B, obutagaba bulungi ddagala n’obutalondoola bulungi bujjanjabi ebiviirako eddagala okuba nga terikola.

Kuno kwe kwekaliriza okusoose okwekebejja enkyukakyuka z’obutaffaali eziviirako eddagala okuba nga terikola n’enkyukakyuka z’obutaffaali ezireetawo okwebalama eddagala mu kawuka ka hepatitis B mu Afrika.

Omuwendo ogwa waggulu ogw’abantu abalina akawuka ka hepatitis B mu balwadde b’akawuka ka mukeenenya mu bitundu ebimu omuli Cameroon ne South Africa kuyinza okwoleka nti akawuka ka hepatitis B kanoonyerezeddwako kitono gye buvuddeko, ekiyinza okuba nga kisibuka ku butabaawo kukebera okuteeketeeke, obutamanya bulungi, encukwe, ebisale ebya waggulu n’obutaba na bifo omujjanjabibwa ebimala.

Okukebera akawuka ka hepatitis B tetukolebwa mu bitundu bya Afrika bingi era ne kiba ng’okubeerawo kwako okutuufu n’enkalira zaako tebimanyiddwa.

Abanoonyereza baasobola okuzuula ebiwandiiko ebitono ennyo ebyawandiikibwa ku balwadde abaalina akawuka ka hepatitis B ak’ensikirano.

Kino kyoleka ekizibu eky’amaanyi eky’obutafaayo ku kawuka ka hepatitis B mu Afrika n’obunafu obwekuusa ku bubaka obukwata ku nsengeka nabuzaale.

Nga bakozesa ebyazuulibwa mu kunoonyereza kuno, abanoonyereza bakubiriza okusiga ensimbi ziyambeko mu kusaasaanya eddagala wamu n’okuyambako mu kukebera obulwadden’okuzuula obutakola bw’eddagala.

Obubaka obulala bwetaagibwa okunnyonnyola enkola ezikozesebwa abantu mu kukebera akawuka ka hepatitis B, okulondoola n’okukajjanjaba mu bitundu by’omu Afrika esangibwa mu ddungu lya Sahara.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?