Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Okukozesa eddagala eritta obuwuka, Ebisigalira, Okuwakanya n’Ebyobufuzi mu bitongole by’Emmere n’Obulimi mu Tanzania

This is Luganda translation of DOI: https://www.mdpi.com/2079-6382/10/4/454#

Published onJul 24, 2023
Okukozesa eddagala eritta obuwuka, Ebisigalira, Okuwakanya n’Ebyobufuzi mu bitongole by’Emmere n’Obulimi mu Tanzania
·

Okukozesa eddagala eritta obuwuka, Ebisigalira, Okuwakanya n’Ebyobufuzi mu bitongole by’Emmere n’Obulimi mu Tanzania

Abstract

Obulwadde bwonna busobola okuvumulwa kasita kiba nti obuwuka obubuleeta tebukwatagana na ddagala eritta obuwuka.

Okweyongera mu butakola bw’eddagala eritta obuwuka kwa katyabaga eri obulamu mu nsi yonna okuleetawo okweraliikiriza, okuyinza okuviirako okuggya eddagala eritta obuwuka ery’omugaso mu katale eriyambako okutangira endwadde.

Okweyongera mu bwetaavu bw’ebiriibwa ebiva mu nsolo, gamba ng’amagi, ennyama n’amata kuleeseewo obungi bwabyo wamu n’emiyungo egikola ebintu eby’okutunda egiyinza okweyolekeramu okukozesa eddagala eritta obuwuka ekisukkiridde wamu n’okulijaajaamya.

Eddagala eritta obuwuka erikozesebwa abalunzi n’abantu abalabirira ensolo abataafuna kusoma kutongole lisobola okukozesebwa mu bipimo ebitali bituufu, okujaajaamizibwa, okukubwa mu kifo ekikyamu wamu n’obutagoberera kiseera mwe lirina okukoma okukozesebwa.

Okunoonyereza kuno kwakolebwa okwekaliriza emigaso gy’amateeka n’enkwata y’eddagala eritta obuwuka, okuzuula omuluko gw’enkozesa yaalyo, okwekaliriza ebisigalira by’eddagala eritta obuwuka n’okugeraageranya ebizuulo bino n’empenda eziriwo ez’okufufuggaza obutakola bw’eddagala eritta obuwuka mu Tanzania.

Enkola ey’okukozesa obukodyo obusukka mu kamu (okwekaliriza ebiwandiiko, okwekaliriza ekifo n’okubuuza) yakozesebwa.

Ebifo eby’omugaso nabyo byalambulwa.

Obutakola bw’eddagala lya penicillin G, chloramphenicol, streptomycin ne oxytetracycline kuzuuliddwa nga kwa waggulu naddala ku buwuka bwa Actinobacteria, Staphylococcus hyicus, Staphylococcus intermedius ne Staphylococcus aureus mu nte z’amata ezirina obulwadde bw’amabeere ne mu bantu.

Ensonga ze zimu zaazuulibwa mu binyonyi oluvannyuma lw’amagi n’ennyama okuba nga galimu eddagala lya Escherichia coli.

Okweyongera kw’eddagala lya E. coli, Klebsiella pneumonia, Staphylococcus aureus ne Salmonella nakwo kwazuulwa mu nsolo eziriibwa.

Okweyongera kw’akawuka ka Staphlococcus aureus (MRSA) akatafa na ddagala lya metiisiriini kazuuliddwa mu Tanzania mu kitongole ky’obulunzi.

Obuwuka obuleeta endwadde mu nsolo bwali tebufa ddagala lya ampicillin, augmentin, gentamicin, co-trimoxazole, tetracline, amoxicillin, streptomycin, nalidixic acid, azithromycin, chloramphenicol, tylosin, erythromycin, cefuroxime, norfloxacin ne ciprofloxacin.

Okukozesa ennyo eddagala eritta obuwuka erya prophylaxis n’eddagala eritta obuwuka obuleeta endwadde wamu n’okutumbula obulunzi bw’ensolo, ebitonde eby’omu mazzi n’obulimi kwazuulibwa.

Enkola emu ey’Ebyobulamu ekubirizibwa okukozesebwa okukomya obutakola bw’eddagala eritta obuwuka mu kitongole ky’emmere n’eky’obulimi mu Tanzania.

Ebisobole okukolebwa mulimu: (a) okwekaliriza amateeka wamu n’okugateeka mu nkola; (b) okukozesa eddagala eritta obuwuka wamu n’okumanyisa abeenyigira mu bulunzi ku bisigalira by’eddagala eritta obuwuka; (c) okunyweza okunoonyereza n’okulondoola enteekateeka z’okukozesa eddagala eritta obuwuka, obutakola bw’eddagala eritta obuwuka n’ebisigalira by’eddagala eritta obuwuka; (d) okutumbula wamu n’okukozesa okukebera okw’amangu okw’omulembe wamu n’okutumbula enkola z’okutangira esaasaana y’obuwuka obulumba ebisolo; ne (e) ennunda ennungi.

Okukozesa obubaka buno okutumbula amateeka g’ebyobulamu n’okukendeeza ekizibu ky’obutakola bw’eddagala eritta obuwuka kujja kuba kwa mugaso.

Summary title

Enkola ennungi zisobola okukendeeza ku butakola bw’eddagala eritta obuwuka mu Tanzania

Obutakola bw’eddagala eritta obuwuka buli waggulu mu ggwanga lya Tanzania, ekitegeeza nti abantu era tebalina nkyukakyuka yonna gye bafuna mu kukozesa eddagala erirwanyisa endwadde ezireetebwa obuwuka bwa bakitiiriya.

Abanoonyereza bekkaanya ebintu ebiyinza okuba nga bye biviirako eddagala eritta obuwuka okuba nga terikola ne bazuula nti enkola embi mu bitongole by’emmere n’obulimi ziteekwa okutereezebwa okusobola okukendeeza ku butakola bw’eddagala eritta obuwuka.

Eddagala eritta obuwuka likozesebwa nnyo mu biriibwa ebiva mu nsolo era nga likubiriziddwa nnyo okukozesebwa mu by’obulamu, ekirifuula okuba nga terikola bulungi.

Obutakola bw’eddagala eritta obuwuka kwa bulabe eri obulamu mu nsi yonna.

Okukozesa eddagala eritta obuwuka mu bisolo ekisukkiridde kuyinza okuba nga kwekuusa ku balimi n’abantu abalala abakolera ku bisolo abatalina bisaanyizo bikuba ddagala lino eritta obuwuka mu ngeri entuufu olw’enjigiriza embi.

Okunoonyereza kwaluubirira okunoonyereza engeri amateeka ga gavumenti ku nkozesa y’eddagala eritta obuwuka gye gakolamu mu Tanzania.

Abanoonyereza era baali baagala okulaba obungi bw’eddagala eritta obuwuka erijaajaamizibwa nga banoonya ebisigalira byalyo mu nsolo ne mu balimi b’ebirime.

Ekigendererwa kyabwe kyali kya kuwa bukodyo obw’okuvumula ekizibu ky’eddagala eritta obuwuka okuba nga terikyakola mu ggwanga.

Abanoonyereza beekaliriza ebiwandiiko era ne bagenda mu bifo eddagala eritta obuwuka mwe lyakozesebwa.

Baasobola n’okwekkaanya era ne babuuza abantu 32 wamu n’okukubaganya ebirowoozo n’ekibinja ky’abalunzi b’enkoko 83.

Okunoonyereza kwazuula obutakola bwa waggulu nnyo mu ddagala eritta obuwuka ery’ekika kya penicillin G, chloramphenicol, streptomycin ne oxytetracycline.

Eddagala lino eritta obuwuka likozesebwa okutangira obuwuka obuleeta endwadde gamba ng’akawuka ka Staphylococcus aureus akaleeta obulwadde bw’amabeere obuviirako abantu n’ente okufuna okulumizibwa mu mabeere.

Baazuula ebintu ebirala ebyennyamiza mu kitongole ky’obulunzi mu Tanzania, gamba ng’eddagala lya Escherichia coli (E. coli) eriyinza okuleeta obulwadde bw’omuyitiro.

Abanoonyereza balabula nti eddagala eritta obuwuka erikozesebwa abalunzi lingi nnyo gamba ng’eddagala erikozesebwa okugema endwadde wamu n’okuyamba ebisolo ebirundibwa okukula amangu.

Abanoonyereza bakubiriza ekitongole ky’emmere n’eky’obulimi mu Tanzania okukozesa enkola y’ebyobulamu emu efa ku bitundu ebyetoolodde, ensolo n’abantu abeenyigira mu ngeri endwadde gy’esaasaanyizibwamu, okukomya obutakola bw’eddagala eritta obuwuka.

Abanoonyereza basaba enkola z’obulunzi ennungi zikozesebwe era bakolenga okukebera okw’amangu okukakasa nti ensolo zaabwe ze balunda ziri mu mbeera nnungi okusobola okukendeeza ku nkozesa yaabwe ey’eddagala eritta obuwuka lye bateetegekedde.

Connections
1 of 5
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?